Jump to content

Frederick Kayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Frederick Ian Bantubano Kayanja (yazaalibwa 4 Ogwomunaana 1938) Munnayuganda omusawo w'ebisolo, munnabyanjigiriza, era omuddukanya w'eby'ensoma. Abadde chancellor wa Gulu University, ettendekero lya gavumenti erya waggulu, okuva mu Gwekkumi 2014, ng’adda mu bigere bya Martin Aliker . [1] Yaliko omumyuka wa chancellor wa Mbarara University of Science and Technology . [2] Ekifo ekyo yakituulamu mu 1989, ate naakivaamu mu Gwekkumi 2014. [3] Bwe yali tannatuukayo eyo, yaweerezaako ng'omumyuka w'omumyuka wa Chancellor owa yunivasite ya Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda . [4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kayanja alina diguli esooka eya Bachelor of Science, eyamuweebwa University of London mu 1963. Diguli eyookubiri eya Master of Science, yagifuna mu 1965, ne diguli esooka eya Bachelor of Veterinary Medicine, gye yafuna mu 1967, nga zombi zaamuweebwa yunivasite yeemu. Mu 1969, yagenda mu maaso n’okufuna Doctor of Philosophy okuva mu University of East Africa, Kenya, eyafuuka University of Nairobi. [5]

Ebyafaayo by’emirimu gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu myaka gya 1960, Kayanja yakola nga Assistant Lecturer mu University of London, okuva mu 1965 okutuuka mu 1966. Oluvannyuma yaweereza ng’omusomesa mu yunivasite y’emu okuva mu 1966 okutuuka mu 1968. Oluvannyuma yakola nga omusomesa mu University of Nairobi, mu Kenya, okuva mu 1968 okutuuka mu 1970, bwe yakuzibwa n’afuuka Senior Lecturer, n’aweereza mu kifo ekyo okuva mu 1970 okutuuka mu 1972. Mu 1972, yakuzibwa n’afuulibwa Associate Professor era n’aweererezayo okutuuka mu 1973. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (July 2019)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Mu 1974 Kayanja yapangisibwa Yunivasite y’e Makerere nga Pulofeesa, n’aweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 1982. Era yaweerezaako nga Fellow and Visiting Professor mu Wolfson College eya University Cambridge mu Bungereza okuva mu 1982 okutuuka mu 1984. [6]

Kayanja akoleddeko mu matendekero agawerako munda n’ebweru wa Uganda; omuli: (a) Omusomesa mu Yunivasite y’e London mu Bungereza (b) Omusomesa omuyambi mu Yunivasite of Nairobi (c) Pulofeesa era omukulu mu Yunivasite y’e Makerere (d) Ssentebe w’ekitongole kya Uganda National Agricultural Research Organization (e) Ssentebe w’olukiiko lwa Uganda National Council for Higher Education . [7]

Obuvunaanyizibwa bwe obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ye muwandiisi omukulu mu lupapula lwa African Journal of Ecology . Era munnattendekero lya African Academy of Sciences n’ettendekero lya Uganda National Academy of Sciences. [8] Kaawonawo w'endwadde Ebola hemorrhagic fever . [9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Frederick+Kayanja#:~:text=View-,Red%20Pepper%20Reporter%20(27%20October%202014).,-Issues
  2. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Frederick+Kayanja#:~:text=View-,Cecilia%20Okoth%20(28%20November%202013).,-Issues
  3. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Frederick+Kayanja#:~:text=View-,Amos%20Barya%20(20%20October%202014).,-Issues
  4. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Frederick+Kayanja#:~:text=View-,Webadmin%20(3%20October%202019).,-Issues
  5. https://aasciences.africa/fellows-all?region=All&discipline=All&year=All&gender=All&name-starts-with=&type=All&page=11
  6. http://erepository.uonbi.ac.ke/
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1103364/uphold-quality-universities-told
  8. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Frederick+Kayanja#:~:text=View-,UNAS,-.
  9. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Frederick+Kayanja#:~:text=View-,Athumani%2C%20Halima%20(7%20October%202011).,-Provide%20feedback