Freedom and Unity Front
Freedom and Unity Front kibiina kya byabufuzi mu Uganda ekikulemberwa eyali General David Sejusa . Kizze kiwakanya Pulezidenti Yoweri Museveni nga kimulumiriza okubeera omuli w'enguzi n'okubeera nga buli kimu asika azze wuwe, mungeri y'okukwasa buli kimu ab'enganda zze. Mu butongole kikulirwa Amii Omara-Otunnu.
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Gavumenti ya Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni, ebadde mu buyinza okuva mu 1986, mu kusooka yali yawera ebibiina by’obufuzi ebirala, [1] kyokka mu kalulu akaaliwo mu 2005 k'okusalawo ku kibiina ekimu, ebibiina ebivuganya gavumenti byaddamu okuteekebwa mu mateeka. [2]
Mu Gwokutaano mu 2013, David Sejusa eyali mu bifo ebikulu mu gavumenti y’eggwanga era eyali omulwanyi mu buyeekera obwaleeta Museveni mu buyinza oluvannyuma lw’okugobwa kwa Milton Obote, yayawukana n’enkola y'emirimu mu ganda era n'ayabulira eggwanga n’agenda e Bungereza. Sejusa yakola okulumiriza nti mutabani wa Museveni, Muhoozi Kainerugaba, yali ateekebwa teekebwa okufuulibwa mungeri enyangu ng'adira kitaawe mu bigere nga pulezidenti, munkola eringa ng'ey'obwakaba. [3] Kainerugaba yeegaana byebaali balumirira, ate kitaawe talina byeyayogera byonna mu lujjudde ku nteekateeka ze ez’omu maaso. [4]
Mu Gwekuminoogumu 2013, bwe yali abeera mu buwanganguse e Bungereza, Sejusa yaggyibwa mu kifo kye ng’omubaka wa paalamenti ya Uganda olw’okumala ebanga eddene nga taliiwo. [5] Mu mwezi gwe gumu, Sejusa n’abalala baalangirira okutondebwaawo kw'ekibiina kya Freedom and Unity Front ng’ekibiina ky’eby'obufuzi ekipya mu Uganda. [6] Ekibiina ekipya kyagatta Free Uganda (FU), Citizens in the Defense of the Constitution (CDC) n'ebitongole ebiralal. Ekiwandiiko kya Uhuru eky'Ogwekumimu 2013, ekyatekebwaako omukono Omuwandiise w'Eby'amawulire w'e kibiina Vincent Magombe, kinnyonnyola ekigendererwa kya FUF. [7]
Wiiki eyaddirira eyali General David Sejusa okuva ku mubaka wa Paalamenti akiikirira amagye, yategeezezza nti "tewali muntu yenna alina kulowooza nti Museveni agenda kuggyibwawo mubuyinza nga bayita mu kulonda." Yategeeza Bannayuganda "okuzimba obusobozi obulala" nga balonda omukulembeze omulala. [8] Era yalumirizza Museveni okumenyawo omukago gwa East African Community ng’asuula abakulembeze ba Burundi ne Tanzania ebali ng’atabayita mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Sejusa yalumirizza Museveni obutakoma ku kutandika bujeemu bwa M23 ng'afuula abayeekera bannamagye omuli n'okuwaayo obuyambi bw'ensimbi, wabula okweyisa nga kanawolovu mu bwetaavu bw'okwagala okuleeta emirembe." [6] [4] Sejusa yakungaana Bannayuganda ''okutandika enkola empya ey'okuwonyaamu eggwanga'' era eby'obufuzi bw'okulonda wansi wa Museveni byaali tebiyinza kuleetawo nkyuuka nkyuuka ng'era okuyita mu butabanguko tebuyinza kutandikibwaawo, wabula nga buyinza okukozesebwa '' ng'engeri y'okwerinda'' Mu kitundu eky'okubiri ekya 2013, Museveni yafulumya okusoomooza eri Sejusa okuleeta enkyukakyuka mu gavumenti, kyokka era n’agattako nti tagenda kugumiikiriza ffujjo ng’engeri y’okutuuka ku nsonga z'okukomekereza ebyo. Mu ngeri y'emu, Sejusa yayanukudde ebibuuzo oba anaakozesa amaanyi okuleeta enkyukakyuka n'agamba nti: "Si kinene nnyo nti twagala okukikola. Naye singa agenda mu maaso n'okusumulula entiisa ku bantu eyaffe ejja kuba ya ngeri ya kwerwanako." [4]
Sejusa yanenyezza Museveni n'asaba wabeewo "enkola empya ey'okuwonya eggwanga" era nti ekibiina kyali mu kaweefube wakukola ekyo, mungeri y'okusaawo enfuga ya ssemateeka gye yasaanyaawo." Wabula yeegaana okubeera nga yali yeegwanyiza obwapulezidenti ku lulwe, ng'agamba " kwaali kumala budde" okwesimbawo ng'avuganya Museveni mu nsengeka z'enkola eriwo kati. [4] Mu ngeri y'ekwatagana, eyali yeesimbyeewoko ku bwapulezidenti emirundi esatu Colonel Kizza Besigye naye yagamba nti "oba tuli bumu oba nedda, toyinza kugya Museveni mubuyinza ng'oyita mu kulonda kuba Museveni y'ategeka ababikwanaganya n'ababidukanya," olw'embeera yaayo ey'okubeera nga gavumenti edukanyizibwa magye. Mungeri eno yateesa obujeemu butandikibweewo mu bantu buyinza okubeera obulungi mu kuleeta enkyukakyuka mu gavumenti. [9]
Ensonga
[kyusa | kolera mu edit source]Okusinziira ku kibiina kino, ensonga enkulu ziri: okukola ku bye kiraba nti ng'ensonga ekendeeza mu " eddembe ly'obuntu ," naddala okweyongera mu by'okutemula n'okutta banamateeka; ekigambibwa nti " bannamateeka abalondebwaamu " ku ludda lwa gavumenti; obutaba na byambalirira, buvunaanyizibwa,n’obuli bw’enguzi obuyitiridde; n’okukendeera kw’ebitongole ebigata abantu aboogera enimi ezifaanagana nga balina neneeyisa mu myaka egyayita. [10] Nga 14 Ogwekumineebiri, ekibiina kyatongoza byekyaali kigenda okukolera abantu nga bino byebyaali bisooka. [11]
Obukulembeze
[kyusa | kolera mu edit source]Ssentebe w'ekibiina kino ye Amii Omara-Otunnu. [12] Eyali General David Sejusa naye mukulembeze wa kibiina. [4] Omuwandiisi w’Eby'amawulire ye Vincent Magombe. [7]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Uganda". Freedom in the World 2013. Freedom House. Retrieved 2014-01-26.
- ↑ "Referendum ends 20-year ban on political parties". Irinnews.org. 2005-08-01. Retrieved 2014-01-26.
- ↑ "Uganda's David Sejusa: 'Oppose Museveni's monarchy'". BBC News. 18 June 2013.
- 1 2 3 4 5 "Dissident Ugandan general launches new party". Al Jazeera English. 2013-12-14. Retrieved 2013-12-16.
- ↑ "General Sejusa Loses Parliament Seat". Uganda Radio Network. 20 November 2013.
- 1 2 James Butty (2013-11-20). "Ugandan President Accused of Subverting East African Community". Voice of America. Retrieved 2013-12-16.
- 1 2 "Uganda's Uhuru Declaration: Freedom and Unity Front". Black Star News. 2013-10-08. Archived from the original on 2014-01-08. Retrieved 2014-01-08.
- ↑ "Renegade Ugandan general declares war on Museveni". Sudan Tribune. 2013-11-22. Archived from the original on 20 January 2014. Retrieved 2013-12-16.
- ↑ "Opposition: yes we can't beat Museveni". Observer.ug. 2014-01-09. Retrieved 2014-01-26.
- ↑ "Freedom and Unity Front 'Situation Analysis Report' No2". Pan African Visions. 14 November 2013. Retrieved 2014-01-08.
- ↑ "Uganda: Manifesto Of The Freedom And Unity Front". Black Star News. 2013-12-14. Archived from the original on 2014-01-08. Retrieved 2014-01-08.
- ↑ "Uganda has become a dictatorship under Museveni's Rule". Fuf-uganda.org. Archived from the original on 2013-12-20. Retrieved 2014-01-08.