Jump to content

Gabriel Ajedra Aridru

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Gabriel Gadison Ajedra Aridru Munnayuganda, yinginiya w'ebyokuzimba era munnabyabufuzi .Yali Minisita omubeezi ow'ebyensimbi owa guno na guli mu kabineeti ya Uganda okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016 okutuuka nga 3 Ogwokutaano 2021. [1] Nga tannatuuka kwekyo, okuva nga 12 Ogwomunaana 2012, okutuuka nga 6 Ogwomukaaga 2016, yaweerezaako nga minisita w’ebyensimbi ow'okusiga ensimbi. [2] Mu nkyukakyuka za kabineeti eza 24 Ogwokutaano 2013, [3] ne mu kabineeti ya nga 1 Ogwokusatu 2015, [4] yasigaza ekifo kye mu kabineeti. Era yaweereza ng'omubaka wa paalamenti omulonde owa Munisipaali y'e Arua mu Disitulikiti y'e Arua , okutuusa mu Mwezi Gwokutaano 2021. [5]

Obuto bwe n’emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Aridru yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Arua nga 30 Ogwomunaana 1962. Yasomera ku yunivasite y'e Makerere, n'atikkirwa mu 1989 ne ddiguli esooka mu bwayinginiya bw'okuzimba. Yeeyongerayo n'emisomo gye mu Canada, n’afuna ddiguli eyookubiri mu bwa yinginiya bw'okuzimba okuva mu yunivasite y'e New Brunswick mu 1992. Mu 1997, yaweebwa ddiguli eyokusatu mu bwayinginiya bw'okuzimba. [5]

Oluvannyuma lw’emisomo gye mu Canada, yalondebwa okuba Omusomesa mu bwayinginiya bw'okuzimba mu Yunivasite y'e Botswana. Oluvannyuma yaweereza ng’omusomesa mu bwayinginiiya bw’okuzimba ku yunivasite ya Development University of Bahamas. Oluvanyuma yakomawo e Uganda n'akola nga yinginiya mu kitongole ky'eggwanga eky'amazzi ne kazambi . Okumala ekiseera, yaweereza ng’omukwanaganya wa pulojekiti omukulu era omuwabuzi ku bizimbibwa owa gavumenti ya Botswana . [5] Mu 2011, yavuganya bulungi ku kifo kya paalamenti ekya Munisipaali y'Arua, ku tikiti y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . Mu Mwezi Gwomunaana 2012, yalondebwa kubwa Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, avunaanyizibwa ku by’okusiga ensimbi. [2] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa nga Minisita omubeezi ow’okusiga ensimbi. [6]

Ebirala eby'okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Dr. Aridru emabegako yali yawasa Josephine Aridru okuva e Arua. omugoberezi w’enzikiriza y’ekikulisitaayo / ekipolotesitante. Kati mufumbo eri Elizabeth Kamuhanda ow’e Kabale.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 1 August 2021.
  2. "President Yoweri Museveni Reshuffles Cabinet". New Vision. Kampala. 15 August 2012. Retrieved 13 March 2015.
  3. Tugume, John (24 May 2013). "General Katumba Wamala To Head the Uganda Army". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 13 March 2015.
  4. "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Daily Monitor. Kampala. 1 March 2015. Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 13 March 2015.
  5. "Profile of Engineer Doctor Gabriel Gadison Ajedra Aridru, Member of Parliament, for Arua Municipality, Arua District". Parliament of Uganda. 2011. Retrieved 13 March 2015.
  6. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 19 June 2016.

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]