Gabriel Opio
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Gabriel |
| Yazaalibwa nga | 9 Gwakkuminogumu(Museenene) 1945 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | economist, munnabyabufuzi, Minisita |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere |
| Gyabeera | Kampala |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1983 |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement |
Gabriel Opio (yazaalibwa nga 9 Ogwekkuminogumu 1945) Munnayuganda, mwekennenyi w'ebyenfuna era munnabyabufuzi. Yali Minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu mu kabineeti ya Uganda okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutano 2011. [1]Nga tannaweereza mu minisitule y’ekikula ky’abantu, yaliko Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu okuva mu Ogwomukaaga 2006 okutuuka mu Ogwokubiri 2009. [2] [3]
Obuto bwe n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Opio yazaalibwa nga 9 Ogwekkuminogumu 1945. Alina diguli ya Bachelor of Arts mu by’enfuna okuva mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite esinga obukulu mu Uganda. Diguli ye ey'okubiri mu by'enfuna eya Master of Arts in Economics yajifuna okuva mu Yunivasite y’e Alberta mu Edmonton, Alberta eky'e Canada. Era alina diguli ey'okubiri mu by'ensimbi eya Master of Science in Finance okuva mu yunivasite y’e British Columbia e Vancouver, British Columbia, Canada. [4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Wakati wa 1993 ne 1996, yaweerezaako nga mmemba w’olukiiko lwa National Resistance Council olwa Konsityuwensi y'e Samia-Bugwe mu Disitulikiti y’e Tororo . Mu 1996, yalondebwa ku Paalamenti ya Uganda ng’akiikirira Samia-Bugwe ey'Obukiikaddyo mu Disitulikiti y’e Busia ey'akatondebwawo. Mu 1999, yalondebwa okubera Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, avunaanyizibwa ku nteekateeka n’okusiga ensimbi, [5] nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2001 lwe yafiirwa ekifo kye ekya Paalamenti eri Simon Mayende .
Wakati wa 2002 ne 2006, Opio yaweereza mu bitiibwa eby'enjawulo, omuli nga Dayirekita w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulongoosa n'okubunyisa amazzi mu Uganda ekya National Water and Sewerage Corporation, Dayirekita wa Centenary Bank, ne Kaminsona w’akakiiko ka Uganda AIDS Commission. [6] Yaweerezaako nga Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebya waggulu okuva mu Ogwomukaaga 2006 okutuuka mu Gwokubiri 2009, [2] [3] ne Minisita w'ekikula ky'abantu, abakozi n'enkulaakulana y'embeera z'abantu okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011. [1]
Mu kulonda kw’eggwanga okwa 2011, yafiirwa ekifo kye mu Paalamenti ekya Samia-Bugwe ey'Obukiikaddyo eri Julius Wandera Maganda, eyali yesimbyewo nga talina kibiina. Mu nkyukakyuka eya kabineti eyakolebwa nga 27 Ogwokutano 2011, yagibwa ku kabineeti n’asikizibwa Syda Bbumba . [7]
Ebijjulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Full Cabinet List As of February 2009". New Vision (Kampala). 16 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 11 December 2014.
- 1 2 Mukasa, Henry (2 June 2006). "Ministries Allocated". New Vision (Kampala). Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 11 December 2014.
- 1 2 Hajusu, Egessa (15 April 2007). "Minister Opio Advises On Universal Secondary Education". New Vision (Kampala). Archived from the original on 30 September 2015. Retrieved 11 December 2014.
- ↑ Academic Qualifications of Gabriel Opio
- ↑ Keeton, Claire (12 May 2000). "Uganda: Gabriel Opio ... A Man With A Mission". The Sowetan (Johannesburg) via AllAfrica.com. Retrieved 11 December 2014.
- ↑ Work History of Gabriel Opio
- ↑ "Comprehensive List of New Cabinet Appointments And Dropped Ministers". New Vision. 27 May 2011. Retrieved 11 December 2014 – via Facebook.