Gad Gasatura
Gad Gasatura munnayuganda omuvuzi w'ennyonyi za kkampuni ya Uganda ey'entambula y'ennyonyi eyaweerezaako nga ssentebe wa kkampuni ya Uganda ey'eggwanga ey'ennyonyi, kkampuni ya Uganda esaabaza ekutte bendera y'eggwanga, mu 2018 ne 2019. [1] Okuva mu mwezi ogwokubiri 2023, ye ssentebe w’ekitongole ky'ennyonyi za Uganda ezisaabaza emigugu ekitongole kya gavumenti era nga kiddukanyizibwa minisitule ya Uganda ey'ebyokwerinda. [2]
Obuvo bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Gasatura yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Ntungamo, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda. Yasomera mu Kings College Budo ku misomo gye egya siniya, ku ntandikwa y’emyaka gya 1970. [3] Muvuzi wa nnyonyi omutendeke alina ebisaanyizo. N'era alina ddiguli eyokubiri mu by'okuddukanya entambula okuva mu yunivasite ya City University eya London. [1] [4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Gasatura yali mmemba w'olukiiko lw'eggwanga olwakola ssemateeka wa 1995. Ajjukirwa olw'okutiisatiisa okwekutula ku Uganda singa Abanyarwanda tebakkirizibwa nga eggwanga lya Uganda. Oluvannyuma , yaweereza ng'omumyuka w'omukulembeze wa police mu kitongole kya poliisi ya Uganda. N'era aweerezzaako nga omuvuzi w'ennyonyi ow'ekitongole ekikulisitaayo ekibuusa obunyoyi obutono mu nsozi, ebibira, entobazi n'amalungu nga kitwala obuyambi bw'obujanjabi, n'obwebigwa tebiraze ki Mission Aviation Fellowship
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Gad Gasatura aweerezzaako ku lukiiko olufuzi ku bbanka ya Barclays, Bbanka enkulu eya Uganda , Bbanka ya Diamond Trust (Uganda) ne ku kitongole kya Uganda ekiddukanya entambula z'ennyonyi. [1]
Mu 2005, Captain Gasatura yalondebwa ng’akulira ekibinja y'ababuuliriza ku kabenje k’ennyonyi Antonov An-12 eyawandiisibwa mu Democratic Republic of the Congo nga 9Q-CIH, eyagwa, amangu ddala nga yaakasimbula okuva ku kisaawe ky'ennyonyi eky'Entebe, ku Lwomukaaga nga 8 Omwezi ogusooka 2005 n’etta abakozi bonna omukaaga. [5] Ekyaleeta akabenje kano kyazuulibwa nti "kulemererwa kwa yingini n'okutikka ennyo". [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 The Indian Ocean Newsletter (13 July 2018). "Gad Gasatura, a military appointment for Uganda Airlines". AfricaIntelligence.com Quoting The Indian Ocean Newsletter. Retrieved 24 April 2019. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "1R" defined multiple times with different content - ↑ Prossy Nandudu (2 February 2023). "New Air Cargo Board Asked To Revive Corporation". New Vision. Retrieved 12 June 2024.
- ↑ Makeri, Emmanuel (12 September 2010). "A man for all seasons". Retrieved 24 April 2019.
- ↑ 256BN (2 May 2018). "Gad Gasatura Tapped for Uganda Airlines Chief As Carrier Pays for Aircraft". 256businessnews.com (256BN). Retrieved 24 April 2019.
- ↑ Nyanzi, Peter (18 January 2005). "Uganda: Gasatura Heads Airbase Probe Team". Retrieved 24 April 2019.
- ↑ Aviation Safety Network (8 January 2005). "Accident Database for Antonov An-12 (9Q-CIH) Operated by Services Air On 8 January 2005". Aviation Safety Network. Retrieved 24 April 2019.
- The Indian Ocean Newsletter (13 July 2018). "Gad Gasatura, a military appointment for Uganda Airlines". AfricaIntelligence.com Quoting The Indian Ocean Newsletter. Paris, France. Retrieved 24 April 2019.
- Prossy Nandudu (2 February 2023). "New Air Cargo Board Asked To Revive Corporation". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 12 June 2024.
- Makeri, Emmanuel (12 September 2010). "A man for all seasons". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 24 April 2019.
- 256BN (2 May 2018). "Gad Gasatura Tapped for Uganda Airlines Chief As Carrier Pays for Aircraft". 256businessnews.com (256BN). Kampala, Uganda. Retrieved 24 April 2019.
- Nyanzi, Peter (18 January 2005). "Uganda: Gasatura Heads Airbase Probe Team". Daily Monitor via AllAfrica.com. Kampala. Retrieved 24 April 2019.
- Aviation Safety Network (8 January 2005). "Accident Database for Antonov An-12 (9Q-CIH) Operated by Services Air On 8 January 2005". Aviation Safety Network. Retrieved 24 April 2019.