Jump to content

Gagawala Wambuzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nelson Gagawala Wambuzi Munnayuganda, munnabyabufuzi. Yali Minisita omubeezi ow'ebyobusuubuzi n'ebintu eby'edda mu kabineeti ya Uganda, okuva nga 1 Ogwomukaaga 2006 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011. [1] Mu nkyukakyuka ezaliwo mu kabineti nga 27 Ogwokutaano 2011, yasuulibwa okuva mu kabineti n'asikizibwa David Wakinona . [2]

Era yaweereza nga omubaka mu Paalamenti (MP) omulonde ng'akiikirira "Essaza ly'e Bulamogi", mu Disitulikiti y'e Kaliro, okumala emyaka kkumi n'etaano (15) egy'omuddiring'anwa, okuva mu 1996 okutuuka mu 2011. Mu 2011, yafiirwa ekifo kye mu Paalamenti eri Kenneth Lubogo, munnabyabufuzi atalina kibiina nga kati ye mubaka akiikirira kitundu kino. [3] Mu bbanga lya wiiki nga kkumi (10), Gagawala Wambuzi yafiirwa ekifo kye mu Paalamenti nga 18 Ogwokusatu 2011 n’ekifo kye eky’obwaminisita nga 27 Ogwokutaano 2011.

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]