Gaster Nsereko
Gaster Nsereko (yazaalibwa 5 Ogwomusanvu 1965) mulabirizi mu kkanisa ya Uganda mu Uganda . Ye Mulabirizi ow’omusanvu era mu kiseera kino mu Bulabirizi bwa West Buganda mu Kkanisa ya Uganda .[1] Yatukuzibwa era n'atuzibwa ku ntebe nga 30 Ogwokusatu 2025 mu Lutikko ya St Paul, Kako . [2] [3]
Obuto bwe n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Nsereko yazaalibwa nga 5 ogwomusanvu 1965 e Bbira Naakuwadde mu Busiro mu Disitulikiti y’e Wakiso mu Uganda.
Alina Dipulooma mu by’enjigiriza ebya pulayimale okuva mu Institute of Teacher Education Kyambogo (kati Kyambogo University ) ne Bachelor of Divinity okuva mu Uganda Christian University (UCU).[1]
Obuweereza bwe mu kkanisa
[kyusa | kolera mu edit source]Nsereko yatandika obuweereza bwe ku nkomerero y’emyaka gya 1980. Yatuuzibwa ku bwadyankoni nga 9 ogwekuminebiri 1989 ate nga wayise omwaka gumu, nga 10 ogwekuminebiri 1990, yakyusibwa nazzibwa mu Lutikko ya St. Andrew e Namukozi.
Mu myaka gye egy’obuweereza, yaweereza mu bifo eby’enjawulo ku maddaala agenjawulo mu kkanisa, omuli:
- Vicar w'ekkanisa ya St. John, Kakoma.[1]
- Ssaabadinkoni wa Kakoma Ssaabadinkoni [2]
- Ssaabadinkoni w’e Masaka Ssaabadinkoni (atudde ku kkanisa ya St. John, Kijjabwemi).[2]
- Provost wa Lutikko ya St Paul, Kako .[1]
Obulabirizi
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 16 ogwokubiri 2025, Ennyumba y’Abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda, yalonda Nsereko ng’omulabirizi ow’omusanvu mu bulabirizi bwa West Buganda. [1] Yalondebwa okusikira Rt. Rev. Henry Katumba Tamale, eyali atuuse ku myaka egy'okuwummula obuweereza mu butongole era nga gy'emyaka 65.[1][2]
Nsereko yatukuzibwa era n’atuzibwa ku ntebe nga 30 Ogwokusatu 2025 Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stephen Kaziimba Mugalu . [4] Omukolo guno gwali ku kitebe ky’obulabirizi, Lutikko ya St. Paul, Kako, mu kibuga Masaka . [2][4]
Mu kiseera we yalondebwa, Nsereko yalina emyaka 60, ekitegeeza nti asuubirwa okuweereza ekisanja kya myaka etaano nga tannatuuka ku myaka Ekkanisa ya Uganda gy’eyakkaanyako okuwummulirako.[1]
Obulamu bw’omuntu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nsereko mufumbo ne Sarah Nsereko. Bombi balina abaana basatu.[1]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 Independent, The (2025-02-17). "Canon Nsereko is 7th Bishop of West Buganda Diocese". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2025-12-13. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - 1 2 3 4 5 "Canon Nsereko Installed As Seventh Bishop of West Buganda Diocese". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-12-13. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content. - ↑ Senoga, Kefa (2025-04-04). "New West Buganda Diocese Bishop installed - Uganda Christian University" (in American English). Retrieved 2025-12-13.
- 1 2 "New West Buganda bishop starts journey of hope after consecration". Monitor (in Lungereza). 2025-03-31. Retrieved 2025-12-13.