Gavin Kizito
Gavin Mugweri Kizito ( yazaalibwa 14 January 2002 ) munnayuganda omuzannyi wo mupiira era azannyira nga musambi wa ddyo mu KCCA FC ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda .
Omulimu mu kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Kizito yazaalibwa mu Kampala, yasomera ku St. Mary's Secondary School gye yawangula empaka z'omupiira gw'abavubuka mu mizannyo gya FEASSSA mu 2019.[1] Oluvannyuma lw'okubeera mu ttiimu z'abavubuka eza Vipers SC ne SC Villa, Kizito yeegatta ku Uganda Premier League mu sizoni ya 2019-2020. Mu sizoni esatu, yazannya emipiira 53 mu SC Villa.
Mu October wa 2022, yassa omukono ku ndagaano ya myaka esatu[2] ne ttiimu ya AI Ittihad eya Misiri, wabula oluvannyuma lw'okuzannya emipiira esatu mu liigi ya Misiri mu sizoni ya 2022-23[3], endagaano ye yaggwaako mu July wa 2023.
Kizito yakomawo mu SC Villa ku ndagaano ya myaka esatu mu September, n'azannya emippira 25 n'ateeba omulundi gumu, SC Villa bwe yawangula ekikopo kya Uganda Premier League 2023-24, Kizito yalondebwa okuba kapiteeni wa ttiimu oluvannyuma lw'eyali lw'endagaano ya kapiteeni Kenneth Semakula okuggwaako. Kyokka endagaano ya Kizito nayo yagwaako ku nkomerero y'omwaka ogwo.
Kizito yassa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ne ttiimu endala eya Uganda Premier League, KCCA FC.[4][5]
Omulimu gw’ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Ng'omuzannyi w'ensi yonna ey'abato, Kizito yaweereza nga kapiteeni wa ttiimu ya Uganda ey'abali w'ansi w'emyaka 17 ne 20 era yeetaba mu mpaka za 2021 U-20 Africa Cup Of Nations Uganda gye yamalira mu ky'okubiri. Era yakiikirira ttiimu ya Uganda ey'abali w'ansi w'emyaka 23 . Kizito yatandika okuzannya mu ttiimu y'ensi yonna nga substitute mu mu mupiira Malawi weyawangulwa ne ggooli 1-0 mu march wa 2021.
Enzannya
[kyusa | kolera mu edit source]Kizito asobola okuzannya nga center back ne right back .
Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- SC Villa
- Uganda U20
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/alpha-ssali-and-six-other-youngsters-expected-to-light-up-upl-2023091314200612971
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Al_Ittihad_Alexandria_Club
- ↑ https://int.soccerway.com/players/gavin-mugweri-kizito/606434/
- ↑ https://www.kccafc.co.ug/new-signing-gavin-kizito-completes-move-to-kcca-fc/
- ↑ https://sports.mtn.co.ug/2024/09/20/gavin-kizito-kcca-signs-former-sc-villa-defender/