Gayaza High School
| Inception | 1905 |
|---|---|
| Egwanga | Yuganda |
| Located in the administrative territorial entity | Gayaza |
| Coordinate location | 0°27′27″N 32°36′39″E |
| Official website | https://www.gayazahs.sc.ug/ |


Gayaza High School ly'essomero erisinga obukadde mu Uganda nga ly'abaana bawala bokka nga b'akisulo okuva ku Siniya esooka okutuuka ku Siniya eyoomukaaga. Essomero lino liri ju musingi gw'ekkanisa, liyambibwako gavumenti era nga lyakkirizibwa okukola minisitule y’ebyenjigiriza, ssaayansi, tekinologiya n’emizannyo . [1]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Essomero lino lisangibwa mu kabuga Gayaza, Gayaza Zooni B Local Council One (LC1), Kasangati town council,essaza Kyadondo, mu disityulikiti y'e Wakiso, kkiromita 19 (mailo 12) obukiikakkono bw'obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. [2]
Essomero lya Gayaza High School liweza yiika 104.76 ku lusozi oluwanvu nga luliko ekikko era nga liri ku buwanvu bwa ffuuti 3,800 waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja. Mu bukiikakkono, lirina ensalo n’ekitongole ekinoonyereza ku by’obulimi ekya Makerere University Agricultural Research Institute ne Kabanyolo (University Farm), ate mu bugwanjuba lirina ensalo n’ekyalo Makenke, ekyawuddwamu oluguudo lwa Gayaza – Zirobwe .
Ekitundu ekiri ebuvanjuba wakati wa ffaamu y’essomero n’oluguudo oluva e Kampala okutuuka e Kalagi, Mukono kye kyalo Kyetume. Mu bukiikaddyo essomero lino liri ku nsalo n’essomero lya Gayaza Junior School, ekkanisa y’ekigo n’ekitundu kya Gayaza Trading Centre. Mu kifo kino, oluguudo olukulu oluva e Kampala luyitamu, oluguudo olumu olugenda e Kalagi mu Disitulikiti y’e Mukono ate olulala ne lugenda ku National Crops Resources Research Institute (NaCRRI) e Namulonge, ne lweyongerayo e Ziroobwe .
Akakuubo akali wakati w’enguudo ebbiri ezigenda ku ssomero lino, nga kayita ku masomero ga pulayimale n’ekkanisa y’ekigo, gu cul de sac, nga kino kye kivaako obukuumi bw’essomero mu biseera by’obuzibu.
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Abaminsani abakulisitaayo ab’ekibiina kya Church Missionary Society of England baatandikawo essomero lya Gayaza High School ku ttaka eryaweebwayo eri ekkanisa Kabaka Daudi Cwa II (Kabaka wa Buganda) mu Gwoluberyeberye 1905 n’abayizi bana abaali abasooka, era n'erifuuka essomero ly’abawala ery'ekisulo eryasooka mu Uganda.
Ekigendererwa ky’okutandikawo essomero lino kyali kya kutendeka bawala naddala abawala b’abaami b’Obwakabaka bwa Buganda, mu bukugu obwo obwandibafudde abakyala abalungi naye ng’olukusa lulina kuva mu bakulembeze b’ennono ab’omu kiseera ekyo. [ <span title="The text near this tag may need clarification or removal of jargon. (March 2026)">clarification needed</span> ] Kyokka abatandisi baalina ekigendererwa eky’enjawulo: okusomesa abawala nga basinziira ku musingi ogw’Ekikristaayo ogw’amaanyi. Baakitegeera nti engeri esinga obulungi ey’okusimba amakanda mu Bukristaayo kwe kuba ne bamaama Abakristaayo abaana be baamalangako emyaka gyabwe egy’okukula.
Mu ntandikwa, ensoma y'essomero lino yalimu ebyobulimi, okukola emirimu gy'emikono, okulabirira abaana n'okutunga, wamu ebyawandiikibwa, okusoma, okuwandiika, okubala n'ensomansi . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (September 2019)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Essomero lya Gayaza High School lyazimbibwa ku ttaka eriweza yiika 140, nga lirimu amayumba asatu: Kikko, Kyawakati ne Manga. Omubala gwayo gwali "Banno" (emikwano). Abawala baasooka kwambala ssuuka (bed-sheet) nga yunifoomu y’essomero, wadde nga eno yakyusibwa ne bagifuula yunifoomu nga kuliko n’olugoye olw’omulembe gwa Victoria, olufaananako n’olugoye lw’ekinnansi olw’Abaganda oluliwo kati bodingi ( gomesi ). Oluvannyuma, Alfreda Allen (omukulu w’essomero eyatandikawo) yakola dizayini ya yunifoomu empya ng’erina ensingo eneetooloovu, ng’erina emikono emimpi egya Magyar, akabonero akatungiddwako ne langi ez’enjawulo ezikozesebwa okwawula ebibiina.
Mu 1939, ekitundu kya siniya ey’oku ntikko ekitali kitongole kyatandika. Mu 1962, essomero lya siniya lyayawulwa ku lya Pulayimale. Essomero lya Gayaza Junior School lyasigaza ekifo ekikadde ku ludda olw’ebuvanjuba, ate essomero lya siniya, ly'asigaza erinnya eryasooka erya Gayaza High School, n'erifuna amaka ku ludda olw’ebugwanjuba. Bwe baayawukana, essomero lya Gayaza Junior School lyakyusa omubala okuva ku "Banno" ne litandika okugabana omubala gwa Gayaza High School: "Never Give Up". N’ekyavaamu, okuva mu 1963, Hill yafuuka omukulu w’essomero lya Junior School ate Joan Cox ye yali omukulu w’essomero lya siniya.
Okuva ku bawala bana, amasomero gano ag’abalongo gagenze mu maaso ne gafuuka ga nnantamegwa mu by'ensoma mu masomero ga Uganda, nga bw'egongera okuwandiisa abayizi abasoba mu 1,000.

Embeera eriwo kati
[kyusa | kolera mu edit source]GHS eri ku musingi gw'ekkanisa nga ssomero lya siniya ery’abawala ab'ekisulo era nga liyambibwako gavumenti nga lisomesa Arts ne Sayansi n’ebyokwewumuzaamu omuli emizannyo. [3]
Essomero lino lirina emitendera gy’ebyenjigiriza egya O n’egya A-level nga essira liri ku nkulaakulana ey’enjawulo ey’omuntu yenna. Egoberera ensoma y’eggwanga eyeekenneenyezebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB). [3]
Enfuga n’enzirukanya y’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Enfuga
[kyusa | kolera mu edit source]
Olukiiko olufuzi lwe lukiiko olufuga essomero era lutondebwawo nga bwe kirambikiddwa mu biragiro by’olukiiko lw’abafuzi b’ebyenjigiriza, akatundu 59 ekitundu (ii) ak’etteeka ly’ebyenjigiriza, 2008. [4] Lulimu abantu nga 15 abakiikirira bonna abantu abakwatibwako: olukiiko olufuzi, abazadde, abasomesa, abakozi abatali basomesa, gavumenti z’ebitundu n’abayizi abaaliwo.
Enzirukanya y'emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Enzirukanya y’essomero eya buli lunaku ekulemberwa akulembera abasomesa (omukulu w’essomero) ng’ayambibwako abamyuka babiri ne dayirekita w’eby’enjigiriza. Waliwo abakulu basatu: akwatibwako ku Lower School (Siniya 1 ne 2), akwatibwako ku Middle School (Siniya 3 ne 4), akwatibwako ku Upper school (Siniya 5 ne 6). Omukyala avunaanyizibwa ku mbeera z'abawala, omusajja avunaanyizibwa ku mbeera z'abalenzi ne house mistress abayambako abakulu ab'okuntikko ku nzirukanya y’essomero. [4]
Abakulu b’essomero
[kyusa | kolera mu edit source]Alfreda Allen (omukulu w’essomero eyasooka 1905–1930)
[kyusa | kolera mu edit source]Alfreda Allen ye yali omukulu w’essomero lya Gayaza eyasooka mu 1905. Yasindikibwa ekibiina kya Church Mission Society (CMS) okwanguya okusoma kw’abawala mu ggwanga, yatuuka mu Buganda ne Janet Smith, oluvannyuma n’addirirwa Dorothy Allan, Nancy Corby ne Irene Steintz okutandika essomero lino. Mu 1904, ku mulembe gwa Kabaka Daudi Cwa II, Sir Apollo Kaggwa, omkungu mu Buganda, yasaba ekibiina kya Church Mission Society ekisangibwa e Bungereza okuggulawo essomero ly’abawala e Gayaza. Kino kyasooka kuwakanyizibwa, kubanga abaami b’omu kiseera ekyo tebaali beetegefu kusasulira kusoma kwa bawala. Okutya kuno, wabula ,kwaggyibwawo olukiiko lw’abakyala olwa CMS, olwatuula mu Bungereza, bwe lwasalawo nti essomero ly’abawala litandikibwe okumpi n’ettaka ly’obuminsani e Gayaza, eryaweebwayo kabaka. Kino nga tekinnabaawo, waaliwo amasomero g’abalenzi matono, olwo ng’abawala baali bakoma kusomesebwa ku by’ekkanisa mu byawandiikibwa ne katekisimu nga beetegekera okubatizibwa. Mu kusiima emirimu gye egy'ekitiibwa, yabbulwamu ekkanisa y’essomero (Alfreda Allen Chapel).
Joan Cox (1950-1972) Omuwandiisi w’ebitabo.
[kyusa | kolera mu edit source]
Joan Cox yajja mu Gayaza High School mu 1938 ng’akulemberwa Church Mission Society era n’aweereza ng’omukulu w’essomero lya Gayaza High School okumala emyaka 22. Yakola kinene okulaba Gayaza High School ekulaakulana n’okukola obulungi. Mu kiseera kye mwe mwazimbibwa chapel, etterekero ly'ebitabo ne kizimbe ky'okuddukanya emirimu. Obukulembeze bwe obw’amagezi era bwavaako okutandikawo ffaamu y’essomero n’obuwanguzi bw’enteekateeka y’emmere y’oku faamu. Ekimu ku bisulo (Cox) mu ssomero lino lyatuumibwa erinnya lye. Obukulembeze bwe bwatuuka ku buli nsonda za Uganda zonna era bwakyusa eby’enjigiriza by’omwana omuwala mu Uganda. Yawangaala okutuuka ku myaka 100 era yafa nga 14 Ogwokuna 2012.
Sheelagh Warren (1972-1990)
[kyusa | kolera mu edit source]Sheelagh Warren yali omukulu w’essomero lya Gayaza High School okumala emyaka 18. Yatandikira Cox we yakoma ng'agenze, yalabirira enkulaakulana y’essomero lya siniya okutuuka ku ddaala lya O’ ne A’, okuzimba ebizimbe ebisinga eby’enkalakkalira n’okussaawo erinnya ly’essomero ery'ekitiibwa nga basoma obulungi. Warren yalung’amya essomero lino okuyita mu biseera bya Uganda ebyasinga okubeera eby’akatabanguko - okuyita mu lutalo olwaliwo mu 1979 olwasuula Idi Amin, olutalo lw’abayeekera olwa National Resistance Army olwamala emyaka etaano olwaleeta NRM mu buyinza mu 1986. Wadde ng’ebiseera ebyo byali tebirina bukuumi n’ebbula, essomero lyagenda mu maaso n’okutambula obulungi. Warren yaweza emyaka 90 mu Gwekuminogumu 2017, era ekifo kya Warren Computer Center/Laboratory e Gayaza kyabbulwa mu linnya lye.
Ruth Nvumetta Kavuma (1990–2002)
[kyusa | kolera mu edit source]"Okubeera omukulu w'essomero lya Gayaza High School Omufirika eyasooka n'okumalayo emyaka 11 oboolyawo kye kyasinga okuntuukako", Ruth Kavuma bw'awandiika mu kimu ku bitabo bye eby'ebijjukizo. "Enkyukakyuka mu bukulembeze yakolebwa bulungi nnyo. mukyala Warren yali awandiise buli kikolenwa mu kitabo kye yankwasa, ng'ampa okulungamya ku byonna ebikwata ku bikolebwa mu myezi ki egy'omwaka. Kyannyamba nnyo mu nsonga z'okubeera n'obukulembeze obulungi kw'otadde n'okukuuma omutindo gw'essomero." Kavuma bwe yava e Gayaza, yeegatta ku byobufuzi era n’aweereza ng’omubaka wa Palamenti okumala emyaka egiwerako . [3]
Joy Male (2002–2006)
[kyusa | kolera mu edit source]Joy Male yafuuka omukulu w’essomero lya Gayaza High School mu Gwomunaana 2002 oluvannyuma lwa Kavuma okugenda n’asigalayo okutuusa mu Gwokuna 2006, bwe yawummulaemirimu gya gavumenti ng’awezezza emyaka 60 egy’obukulu. Yalina omukululo ww'okukulira essomero lya Nakasero Secondary School, Mengo Senior School ne Makerere College School nga tannaba kwegatta ku Gayaza. Ekimu ku kyamusoomooza kwe kubeera omukozi omupya, ate ng’oli mukulu w'essomero. Mu bukulembeze bwe, okuzimba ekisulo kya Rhoda Nsibambi kwaggwa, okuzimba bbulooka y’ekibiina kya Ruth Nvumetta Kavuma ne kutandika era ye yalabirira pulojekiti eziwerako ez’okuddaabiriza ebizimbe by’essomero. [3]
Victoria Kisarale (2009–2019)
[kyusa | kolera mu edit source]Victoria Sserunkuuma Kisarale amanyiddwa ennyo nga Kisa, yajja ku ssomero lya Gayaza High School mu 1998 ng’omumyuka w’omukulu w'essomero wansi wa Kavuma n’oluvannyuma Joy Male. Mu 2009 yafuulibwa omukulu w'essomero omujjuvu, era n’aweereza okumala emyaka 10 okutuusa lwe yawummula mu Gwomunaana 2019. Yakola kinene okusiga empisa mu bayizi ng’essira aliteeka ku bukugu Obw'ekyasa kya 21.
Mu kiseera kye, ekikomera ky’essomero kyaddabirizibwa, eddiiro ne ligaziwa, ekibangirizi ky’ekidiba ekiwugirwamu ne kizimbibwa era bbulooka empya ey’okuddukanya emirimu yatandikibwawo abawala abaasomerayo ko. Era yalaba ffaamu y’essomero ng’ekulaakulana mu kiseera kye. Yakwata nnyo ku kusomesa omwana omuwala era n’asikkiriza bangi.
Kizito Robinah Katongole (2019–na kati)
[kyusa | kolera mu edit source]Robinah, omukulu w'essomero mu kiseera kino, yayingira ofiisi nga 10 Ogwekkumi 2019. Olw’okuba yali yasomerawo ko, teyali mupya ku Gayaza High School. Yaliko omusomesa wa Litulica okumala emyaka nga 17 nga tannakola ng’omumyuka w’omukulu w'essomero wansi wa Kisarale.
Ebisulo by'abayizi
[kyusa | kolera mu edit source]Gayaza High School erina ebisulo by’abayizi 8 nga bino byatuumibwa amannya ga Bannayuganda abatutumufu, bannabyabufuzi oba abaddukanya essomero lino. Mulimu:
- Corby House
- Cox House
- Ham & Apollo House
- Hutchinson House
- Kennedy House
- Kivebulaya House
- Rhoda Nsibambi House
- Sherborne (Mary Stuart) House
Ekisulo kya Corby
[kyusa | kolera mu edit source]
Corby House, ky'ekimu ku bisulo ebisinga obukadde mu Gayaza High School, yatuumibwa erinnya ly’omukulu w’essomero Nancy Corby, eyasooka Joan Cox mu 1963. Ye yasembayo okubeera akulira essomero lya Junior School. Emabegako, Gayaza Junior ne Gayaza High School zaali ssomero limu, okutuusa mu 1962, ekitundu kya siniya lwe kyatandikibwawo nga Cox ye yasooka okukikulira.
Ennyumba eno erina bbulooko zombi eza junior ne senior. Junior block erina ebisenge munaana nga bibiri ku byo bisenge by'abakulembeze b'abayizi, ate senior block erina ebisenge 12 nga ekimu kya lukiiko lw'abakulembeze b'abayizi. Abayizi mu nnyumba eno bamanyiddwa nga "Corbians", nga bbululu ye langi yaabwe. Omubala gwa Corby guli "Forward Ever, Backward Never".
Ekisulo kya Cox
[kyusa | kolera mu edit source]Ekisulo kino kyatuumibwa erinnya lya Joan Cox, eyali omukulu w’essomero lya Gayaza High School okumala emyaka 22. Emyaka gya 1970 we gyatandikira, ebizimbe ebisinga eby’omulembe byali byongeddwa ku ssomero lino mu kiseera ky’obukulembeze bwe. Cox house (eyali Tulip Tree) ne Kivebulaya (eyali Canna Lily) zazimbibwa n'ensimbi okuva mu Banka y'ensi yonna nga mu mwaka gwa 1970. Olw'ebbula ly'ebifo, abayizi okuva mu bisulo bya Cox ne Kivebulaya mu buwangwa bwabwe babadde bagabibwa mu bisulo ebirala nga bakomyewo ku A-level. Leero abayizi mu kisulo kino bamanyiddwa nga "Coxites" era langi y'ekisulo kyabwe ya maroon.
Ekisulo kya Ham & Apollo
[kyusa | kolera mu edit source]
Ham & Apollo House (era emanyiddwa nga "Ham") yatuumibwa erinnya ly'abaami ba Buganda babiri okuli Sir Apollo Kaggwa ne Ham Mukasa, abaali abatandisi b'ebyobufuzi era nga batumbula ebyenjigiriza mu Uganda. Kaggwa yali Katikkiro wa Buganda (1865–1927). Ku mulembe gwa Kabaka Daudi Cwa II, mu 1904, yasaba ekibiina kya Church Mission Society okuggulawo essomero ly’abawala e Gayaza. Mukasa (1870–1956) yaweereza nga omuwandiisi wa Katikkiro wa Buganda . Yayambako mu kuzza Uganda ku mulembe ng’ayita mu kuleeta ebyenjigiriza eby’omulembe, ebyobulamu, eby’obulimi n’Obukristaayo. Abayizi mu kisulo kino bayitibwa "Abahamite" era langi yaabwe ya kiragala.
Ekisulo kya Hutchinson
[kyusa | kolera mu edit source]
"Hutch", nga bwe kitera okuyitibwa abayizi, esangibwa wakati mu ssomero. Lyatuumibwa erinnya lya Sir Joseph Hutchinson ne Lena Hutchinson, abaali abakozi mu Namulonge Cotton Research Station, esangibwa mu kiromita ntono okuva ku ssomero lino. Ba Hutchinson baakola butaweera ne Pamela Goode, mu kiseera ekyo eyali omusomesa ku ssomero lino, okutandikawo ffaamu y’essomero mu 1954. Olw’okutandikawo kino, essomero lyatandika enteekateeka y’emmere y’oku faamu mu 1955. Hutchinson ye nnyumba ey’okubiri mu bunene oluvannyuma lwa Rhoda Nsibambi. Leero, bammemba b'ennyumba eno bayitibwa "Hutchites" era langi yaabwe ya kakobe.
Ekisulo kya Kennedy
[kyusa | kolera mu edit source]
Kennedy House yaggulwawo mu 1964 era n’etuumibwa erinnya lya pulezidenti wa Amerika, John F. Kennedy, eyatemulwa mu 1963 era nga yali alwanirira nnyo eddembe ly’Abafirika-Amerika . Mu kuzimba ekisulo kino, abawala ba Gayaza baali baagala okumussaamu ekitiibwa. Wadde nga teyalina kakwate konna na Uganda, America yali yakola dda omulimu ogutegeerekeka mu Uganda, ng’abasomesa bannakyewa n’ensimbi eziweebwayo mu by’enjigiriza ng’eyita mu USAID .
Omubala gwa Kennedy House guwandiikiddwa mu Luswayiri, "Kua Mfano", ekitegeeza "Beera ekyokulabirako". Akabonero k'ekisulo kino y'empungu eraga abayizi abalina ebirowoozo ebyogi ("Kennedians"). Langi emmyufu y'eraga ekisulo kino ng'etegeeza engeri gy'eyimiridde ku buvumu n’amaanyi.
Ekisulo kya Kivebulaya
[kyusa | kolera mu edit source]"Kivites" ekisulo kyabwe baakituuma erinnya lya Apolo Kivebulaya (1864–1933) eyali omuminsani era omubuulizi w'enjiri ow'enjawulo mu kyasa eky'ekkumi n'omwenda. Yabatizibwa mu 1895 era n’afuuka katekisimu eri abaminsani b’Abangereza. Mu 1896 yasindikibwa e Boga, mu kiseera kino Obuvanjuba bwa Democratic Republic of the Congo, ng’omuminsani, omwami w'eyo bwe yasaba omusomesa Omukristaayo. Olw'obugumiikiriza mu kusoomozebwa , n'obujulizi bwe, bwawangula abantu b’e Boga, era okukkakkana ng’omwami akyuse. Kivebulaya yagaziya obuweereza bwe n’assaamu okusomesa n’okuwandiika. Yatuuzibwa ku bwadyankoni mu 1900 ate nga Faaza mu 1903. Mu 1922, yatuumibwa erinnya lya canon, mu kusiima omulimu gwe ogwafuuka omusingi gw’ekyo mu 1972 ekyafuuka obulabirizi obw’enjawulo, kati ekitundu ku Church of Christ – Province of the Anglican Church mu Congo. Kivebulaya yafa nga 30,Ogwokutaano 1933. Ekisulo kya Kivebulaya (era ekimanyiddwa nga "Kiv" leero) yali emanyiddwa nga "Canna Lily", era langi yaayo njeru.
Ekisulo kya Rhoda Nsibambi
[kyusa | kolera mu edit source]
"Rhoda", amaka ga "Rhodesians", kye kisulo ekipya ku ttendekero lya Gayaza High School. Kyaggulwawo ng’essomero lino liwezezza emyaka 100 mu 2005. Lyatuumibwa erinnya lya Rhoda Nsibambi eyali mukyala wa Katikkiro wa Uganda eyaliwo, Apolo Nsibambi . Yali muwala akulira abayizi mu 1958, mu kiseera ekyo yali muwala mukulu ow’amaanyi eyaweereza n’obunyiikivu mu by’enjigiriza ne ku lwa Gayaza High School nga ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa abazadde, era nga mmemba ku lukiiko olufuzi olw’essomero lino. Yafa mu Gwekkuminebiri 2001. Langi y'ekisulo kino nzirugavu.
Ekisulo kya Sherborne (Mary Stuart).
[kyusa | kolera mu edit source]Sherborne House yatuumibwa erinnya ly’essomero lya Sherborne School for Girls e Dorset, Bungereza, eryawa Gayaza High School ensimbi n’obuweereza okumala emyaka mingi emabega. Omukulu w’essomero lya Sherborne mu kiseera ekyo yatuuka n’okumanya nti abawala b’e Gayaza ab’omu kiseera ekyo baali tebalya kyankya. Yakung’aanya ssente olw’omulimu guno. Sherborne yayongera okuwaayo ssente okugula ebyuma, ebikozesebwa mu nnyumba ne bbasale z’abawala e Gayaza. Kirabikirawo nti ekifo omuzannyirwa ttena w’oku mmeeza (eby’okwesanyusaamu) nakyo kyazimbibwa ne ssente ezaakung’aanyizibwa okujjukira omuwala eyali akulira abayizi, eyafiira mu kabenje. Abawala ababeera mu kisulo kya Sherborne bamanyiddwa nga "Sherbonites" era langi yaabwe ya kyenvu.
Mary Stuart, nga kino kye kitundu ky’abali mu Siniya mu kisulo kya Sherborne, kye kyasooka okuteekebwamu tile, era kyatuumibwa erinnya lya mukyala wa Cyril Stuart, eyali omulabirizi wa Uganda okuva mu 1932 okutuuka mu 1952. Yali mulwanirizi nnyo w’okusomesa abawala n’abakyala. Mary Stuart House yasooka kuba kisulo ky'abali mu Siniya, n’oluvannyuma akulira abakulembeze b'abayizi saako n’abakulembeze b'abayizi(okuggyako abakulembeze b'ebisulo), nga tennafuuka HSC block ya Sherborne House. Mary Stuart yawangaala okutuuka ku myaka 99 n’ennaku 364. Yafa mu mwaka gwa 2000. [3]
Etterekero ly’ebitabo erya Mehta
[kyusa | kolera mu edit source]
Mu 1962, Mehta Library yaggulwawo Mehta JB Lirimu magazini, empapula z’amawulire, ebitabo ebisomesebwamu, n’ebitabo ebisomebwa. Abayizi bakozesa etterekero lino okusoma ku bwabwe, enkiiko z’okunoonyereza, n’emisomo.
Ekitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2009, Gayaza High School yakwata ekifo kya 68 mu masomero ga Siniya mu Afrika yonna.
Abayizi abaaliwo abamanyiddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Barbara Allimadi – munnabyabufuzi, omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu
- Omumbejja Elizabeth Bagaaya – omumbejja, munnamateeka, munnamawulire, munnabyabufuzi, model
- Nana Kagga – munnakatemba, pulodyusa, dayirekita, yinginiya w’amafuta
- Allen Kagina – omuddukanya w'emirimu era omusuubuzi; kaminsona w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku musolo mu Uganda 2004–2014
- Maggie Kigozi – omusawo, omusuubuzi, munnabyamizannyo era omulimi; mu kiseera kino ye muwi w'amagezi ku nzirukanya y'emirimu mu UNIDO ; eyali akulira ekitongole kya Uganda Investment Authority
- Bertha Kingori – omu ku bakyala abaasooka okulondebwa ku lukiiko lw’ababaka ba Palamenti olwa Tanganyika
- Maria Kiwanuka – omukugu mu by’enfuna, omusuubuzi era munnabyabufuzi; eyali Minisita w’ebyensimbi mu Uganda (2011–2015) [5]
- Philippa Ngaju Makobore – Munnayuganda yinginiya w’amasannyalaze, akulira ekitongole ekikola ku byuma mu Uganda Industrial Research Institute [6]
- Margaret Mungherera (25 Ogwekkumi 1957 – 4 Ogwokubiri 2017) – eyali omusawo w’eby’omutwe omukulu omukugu mu kubuulirira, Mulago National Referral Hospital, eyali pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo mu Uganda, eyali pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo mu nsi yonna (2013–2014) [7]
- Proscovia Margaret Njuki – Yinginiya w’amasannyalaze mu Uganda, ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Uganda Electricity Generation Company Limited [8]
- Monica Azuba Ntege – yinginiya w’eby’okuzimba era munnabyabufuzi; Kabineti Minisita w'emirimu n'entambula mu kabineti ya Uganda, okuva mu 2016 [9]
- Grania Rubomboras – yinginiya w’amasannyalaze era omukungu w’ekitongole; maneja wa pulojekiti mu kitundu mu nteekateeka ya Nile Equatorial Lakes Subsidiary Action Program (NELSAP), Pulojekiti y’okuyunga emikutu gy’amasannyalaze, esangibwa mu Kigali, Rwanda [10]
- Julia Sebutinde – omulamuzi omukulu, kkooti y’ensi yonna ey’emisango, The Hague, Netherlands
- Jean Namayega Sseninde – omuzannyi w’omupiira ow’ekikugu mu ttiimu y’abakyala eya London Phoenix, mu liigi ya Bungereza ey’okubiri [11]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Musasizi, Simon (1 June 2011). "Cover Story: Gayaza Old Girls Colourfully Honour Their Mentor". Daily Monitor. Retrieved 21 July 2014.
- ↑ Globefeed.com (31 December 2017). "Distance between Post Office Building, Kampala Road, Kampala, Uganda and Gayaza High School, Gayaza - Zirobwe Road, Kabanyoro, Central Region, Uganda". Globefeed.com. Retrieved 31 December 2017.
- 1 2 3 4 5 "Gayaza High School". www.gayazahs.sc.ug (in American English). Retrieved 2017-12-31. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - 1 2 "Education (Pre-Primary, Primary and Post-Primary) Act, 2008, 2008 | Uganda Legal Information Institute". ulii.org (in Lungereza). Archived from the original on 31 December 2017. Retrieved 2017-12-31.
- ↑ Newvision Staff (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments And Dropped Ministers". New Vision via Facebook.com. Retrieved 25 September 2017.
- ↑ Kafeero, Stephen (22 July 2017). "Uganda's Philippa Ngaju wins innovation prize". Retrieved 19 December 2017.
- ↑ Kenganzi, Grace (27 October 2012). "Dr. Margaret Mungherera: Influence Beyond Borders". Retrieved 26 April 2015.
- ↑ Muhame, Giles (24 November 2016). "Eng Njuki Appointed UEGCL Board Chairperson". Chimpreports Uganda. Retrieved 19 December 2017.
- ↑ State House Uganda (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 25 September 2017.
- ↑ "The Nile Basin Initiative (NBI), The Nile Equatorial Lakes Subsidiary Action Program (NELSAP) & The NELSAP Interconnection of Electric Grids Project". The Nile Equatorial Lakes Subsidiary Action Program (NELSAP). 26 October 2015. Archived from the original on 14 May 2019. Retrieved 25 September 2017.
- ↑ Byamukama, Aloysius (11 December 2014). "Seninde eyes Cranes team". Retrieved 29 December 2017.
Okusoma ebisingawo
[kyusa | kolera mu edit source]- Kalemera, Alex M., Essomero lya Gayaza High School Mu byafaayo, 1905–1962 (Kampala, Ekitongole ky’amawulire ekya Yunivasite y’e Makerere, 1975)
- Gayaza High School Emyaka Kyenda egyasooka (1905–1995) eyasengekebwa Joan Cox, Brenda Richards ne Sheelagh Warren (eyasangibwa mu tterekero ly’ebitabo ery’essomero lya Gayaza High School)