Geoffrey Lutaaya
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Geoffrey | |
| Ennimi z'amanyi | Luganda, Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, musuubuzi | |
Geoffrey Lutaaya muyimbi MunnaUganda, musuubuzi era munnabyabufuzi, eyaweerezako nga Mmemba wa Paalamenti ow'eSsaza ly'e Kakuuto, Disitulikiti y'e Kyotera, wansi w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu Paalaamenti ya Uganda ey’ekkuminEemu okuva mu 2021 okutuuka mu 2026.[1][2] Ye yatandikawo ekibiina ky’abayimbi ( Band) ekya De Nu Eagles.[3]
Obuto bwe n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Lutaaya yazaalibwa omugenzi Nelson Kaboggoza (Taata).[4] Lutaaya yasomera ku ssomero lya Mitti Ebiri Primary School e Kyotera n’amaliriza pulayimale ye ku Mbuye Primary School e Rakai. Oluvannyuma yagenda mu Kololo High School, kyokka n’avaawo nga tannatuula bigezo bya siniya ey'okuna (Uganda Certificate of Education,O-level) ng’omulimu gwe ogw’okuyimba gutandika okukula. Oluvannyuma yatuula ebigezo by'omutendera` gwa siniya ey'okuna (O-levels ) ku Makerere Day and Evening School for Adults (MAECA).[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ennyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Lutaaya amanyiddwa ng'omu ku bantu abakola ennyimba z'ebibiina mu Uganda. Ye yatandikawo Da Nu Eagles Band.[5] Omulimu gwe mu kisaawe ky'okuyimba gubaddewo okumala ebbanga ddene ng'ayimba mu bifo eby'enjawulo, okukwata ennyimba, n'ebivvulu.
Oluvannyuma lw’okufuuka munnabyabufuzi,yategeeza nti tagenda kulekera awo muziki. Mu Gwokubiri 2025, ye yali munnakatemba omukulu mu kivvulu kya "Love Memories".Ekivvulu ekyategekebwa ku Sheraton Kampala Hotel Gardens gye yakubira ennyimba wamu ne bandi ye okumala ekiseera ekiwanvu”.[6]
Ezimu ku Nnyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]Lutaaya amanyiddwa okuyingira eby'obufuzi eby’okulonda ku kaadi y'ekibiina kya National Unity Platform era n'alondebwa ng’omubaka wa Paalaamenti ow'Essza lye Kakuuto mu kulonda kwa bonna okwa 2021. Mu Paalamenti abadde mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kawuka ka siriimu n’ensonga ezikwatagana nabyo[7]
Mu mwaka gwa 2021, yatonera ESsaza lye Kakuuto ambyulensi empya eyali n'ebikozesebwa mu kujjanjaba okuyambako mu kutambuza abalwadde mu kiseera ky'ekirwadde kya (”COVID-19 ).[6] Oluvannyuma yayongerako ambyulensi ey'okubiri mu kitundu kino okusobola okulongoosa embeera y'eby'obulamu mu kitundu kye.[8]
Mu mboozi ey'akafubo gye yalimu mu 2025, yagamba nti okulondebwa kwe ng’omubaka wa Paalamenti kye kimu ku birooto bye eby’obuto ebyatuukirira, era n’akiteeka ku kuba nti yali amanyi eby'obufuzi ku myaka emito ennyo bwe yali agenda ne kitaawe omuserikale ku nsonga z’okukolagana n’abantu b’omu kitundu.[9]
Obulamu bwe ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Lutaaya ye mwami w'omuyimbi, Irene Namatovu nga naye mmemba omukulu mu kibiina kya Da Nu Eagles Band.[10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "MEMBERS OF THE 11TH PARLIAMENT (2021-2026)In an interview in 2025" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2026-04-16. Retrieved 2026-04-19.
- ↑ "NUP loses 23 Parliamentary Seats". The Independent Uganda (in American English). 2026-01-18. Retrieved 2026-03-04.
- ↑ Nangonzi, Yudaya (2019-09-04). "Artistes have their eyes on political offices come 2021". The Observer (in American English). Retrieved 2025-11-19.
- 1 2 "Geoffrey Lutaya Biography, His Music Profile, Age, Education, Wife, Real Name, Net Worth". Ugmuziki Online Audio Streaming Platform (in Lungereza). 2022-05-08. Retrieved 2025-11-19.
- ↑ Ruby, Josh (2021-03-30). "Geoffrey Lutaaya not ready to 'expire' musically". MBU (in American English). Retrieved 2025-11-19.
- 1 2 "Geoffrey Lutaaya's 'Love Memories' concert leaves fans thrilled". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-02-16. Retrieved 2025-11-19.
- ↑ MEMBERSHIP OF THE COMMITTEE ON HIV/AIDS AND RELATED MA"Geoffrey Lutaaya's 'Love Memories' concert leaves fans thrilled". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-02-16. Retrieved 2025-11-19.TTERS
- ↑ Geoffrey Lutaaya Emulates Ssegirinya, Donates Second Ambulance To Kakuuto Constitue"Geoffrey Lutaaya's 'Love Memories' concert leaves fans thrilled". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-02-16. Retrieved 2025-11-19.ncy
- ↑ Mwesigwa, Solomon (2025-01-25). "Geoffrey Lutaaya reveals his childhood dream of becoming MP came true in 2021 election". MBU (in American English). Retrieved 2025-11-19.
- ↑ "Geoffrey Lutaaya breaks silence on dating rumours with Faridah Nakazibwe". Pulse Uganda (in Lungereza). 2024-09-02. Retrieved 2025-11-19.