Jump to content

Geoffrey Macho

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Geoffrey Mangen Macho, yazaalibwa mu Gwakumi nga 12, 1973, nga Munnayuganda omusomesa, munnabyabufuzi era omubaka mu paalamenti akiikirira Munisipaali y'e Busia nga munnabyabufuzi atalina kibiina.[1][2][3]

Ye ssentebe w’olukiiko lwa paalamenti oluvunaanyizibwa ku by'obulamu by'omu obwongo.[4]

Emiri gy'eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Macho yalondebwa okugenda mu paalamenti ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement oluvannyuma lw’okuwangula eyatandikawo era omubaka eyali mu kifo Kevinah Taaka ow’ekibiina kya FDC mu 2016. Yaweereza ku bukiiko bwa Paalamenti obwa Sayaansi ne Tekinologoya, Obusuubuzi n'Obulambuzi wamu n'Omwenkano nkano mu paalamenti eye 10. Ono y’omu ku babaka ba NRM 20 abaakuba akalulu okusigaza ekomo ku myaka gya pulezidenti mu semateeka nga bawakanya ekiragiro ky’ekibiina okulonda okuggya ekomo ku myaka gya Pulezidenti okukkiriza Pulezidenti Yoweri Museveni okugenda mu maaso ng'ali mu ofiisi.[5][6] Mu Gwomwenda 2020, yafiirwa tikiti ya NRM okuddamu okulondebwa mu paalamenti ng'afunye obubenro 2,389 ku Hassan Kamba eyalina 3,005. Oluvannyuma Macho yeesimbawo ku bwannamunigina ng’awagirwa ekiwayi kya FDC ekyali kigamba nti kyali kirekeddwa ebbali mu kulonda kw’ekibiina kyabwe, bwekyali mu kusunsula baani bekyali kigenda okukwasa tikiti y'ekibiina. Macho yawangula ng'alina obuwagizi bwa bamemba ba FDC n’okumannyikakwe okweyongera oluvannyuma lw’akalulu ke akaali kawakanya okuggyibwaawo kw'ekomo ku myaka gya Pulezidenti gy'aba alina okufugirako eggwanga mu semateeka.[7]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "MP Macho's bodyguard shot dead". Daily Monitor (in Lungereza). 16 November 2020. Retrieved 2021-09-06.
  2. "Flying Squad Commander held for killing MP's body guard in Busia". The Independent (Uganda) (in American English). 2020-11-15. Retrieved 2021-09-06.
  3. "Macho Geoffrey - 2016 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-08.
  4. "Macho wants MPs to take a mental test before contesting". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-02-08.
  5. "Hon. Macho Geoffrey". MPScan Uganda (in American English). Retrieved 2021-09-06.
  6. Joshua, Walakira (9 August 2020). "Justice Ogoola, Aggrey Awori Eye MP Seats As Busia Incumbent MPs Struggle to Keep Their Positions". mulengeranews.com (in American English). Archived from the original on 2024-12-10. Retrieved 2021-09-06.
  7. "Busia Municipality MP Geoffrey Macho Loses NRM Flag to Kamba Hassan". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2021-09-06.