Geoffrey Onegi Obel
Geoffrey Alan Onegi Obel Munnayuganda akola ku by'okusiga ensimbi mu bya bbanka . Ye mutandisi w’ekitongole kya Uganda Securities Exchange ne UAP Old Mutual Financial Services Uganda Limited, kkampuni eri wansi w’ekitongole ekitwala ebirala ekikola ku by'ensimbi ekiri mu Nairobi ekya UAP Old Mutual Holdings . Okuva mu 2001 okutuuka mu 2005, yaliko Ssentebe wa NSSF Uganda . [1]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Uganda, nga mu 1955. Kitaawe ye munnayuganda omututumufu mu by’enfuna era Munnabyabufuzi eyali ayitibwa Onegi Obel (1932–2008), eyaweereza ng’omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda okuva mu 1968 okutuuka mu 1973 era nga Gavana wa Bank of Uganda okuva mu 1973 okutuuka mu 1978. [2] Eby'enfuna Yabisomera mu yunivasite era naafuna diguli bbiri okuli eya Diguli esooka mu By'enfuna ne Diguli eyookubiri mu by'enfuna .
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2001, yalondebwa okuba Ssentebe w’ekitongole kya Uganda eky'ea Kittavvu Ky'abakozi ekya (NSSF). Mu 2003 yayogera ku "engeri ssente enkalu gyeziri ekirungo ekibula mu nkola y'okukulaakulanya ebyenfuna by'eggwanga" . Okusinziira ku byenfuna bya Uganda okwesigama ku nsimbi z'abagabi b'obuyambi n'emisolo egiva mu bintu ebiyingizibwa mu ggwanga. Wansi wa NSSF, Obel yagezaako okusonda ssente okuva mu mawanga ag'ebweru amalala n’okutwala mu maaso amateeka ga Bank of Uganda okutumbula entereka y’eggwanga. [1] Kaweefube gwe yakola okutumbula ebyenfuna n’enteekateeka ya Uganda n’ebintu by’amakampuni atera okuvaako obutakkaanya era mu 2006, okugeza, yeenyigira mu lutalo lw’amateeka olw’okuzimba olutindo ogwassa mu matigga obulamu bw’abalimi b’omu kitundu.
Oluvannyuma lw’okuva mu NSSF, yafuuka dayirekita wa UAP Financial Services Uganda Limited, kkampuni eri wansi w'eya UAP Holdings, ng’emigabo gyayo gisuubulibwa ku counter, nga bwe balindirira okuwandiisibwa ku katale k’emigabo e Nairobi . [3]
Ebimwogerwako
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2003, ng’akyali Ssentebe wa NSSF Uganda, yateekawo kkampuni ey’enjawulo eyitibwa Premier Developments Limited, kkampuni ya 50–50 eyali egabanibwa wakati wa NSSF Uganda ne Mugoya Estates Limited. NSSF yawaayo yiika 400 (160 ha) z’ettaka. Pulojekiti eno gavumenti yagisazaamu era Geoffrey Onegi Obel n’abalala ne baggulwako emisango. Omusango gwagobwa, kyokka abawaabi ba gavumenti ne baddamu okuguggulawo omulundi ogw’okubiri. [4] Yaggyibwako emisango gyonna kubanga yasobola okukakasa mu kkooti nti yagoberera emitendera gyonna, omuli n’okufuna olukusa okuva ewa Minisita w’ebyensimbi, nga bwe kyetaagisa mu mateeka. Ettaka eryagulibwa mu 2004, bwe bwatuukira mu mwaka gwa 2014, lyali likubisaamu emirundi ebiri omuwendo okutuuka ku buwumbi bwa Uganda:16. [5]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- UAP Given Green Light On Unit Trust Management Archived 2 April 2015 at the
- 1 2 http://news.bbc.co.uk/2/hi/business/2814257.stm
- ↑ https://web.archive.org/web/20180106063659/https://www.bou.or.ug/bou/services/museum/Governors_of_the_Bank.html
- ↑ Gichane, Charles (9 January 2013). "UAP Begins Trading of New Shares". 98.4 Capital FM. Retrieved 8 March 2015.
- ↑ https://web.archive.org/web/20150402113120/http://www.monitor.co.ug/News/National/Onegi-Obel-charged-afresh--remanded-to-Luzira-Prison/-/688334/2206624/-/vmjk0p/-/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/662296-onegi-obel-cleared-of-fraud-in-nssf-sh8b-case.html