Jump to content

Geoffrey Wasswa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Geoffrey Wasswa
Munnayuganda omusambi w'omupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waGeofrey Kyusa Wikidata
Erinnya lya famireWasswa Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga16 Gusooka 1999, 23 Gwamunaana(Muwakanya) 1996 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waLugazi, Buikwe Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimuomusambi w′omupiira Kyusa Wikidata
Ekifo ky'a­zan­nya/ obumanyicentre-back Kyusa Wikidata
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata
Height1.85 metre Kyusa Wikidata

Geofrey Wasswa Munnayuganda omuzannyi w'omupiira ogw'ekikugu era azannya ng'omuzibizi wa kiraabu ya Ethiopian Coffee eya Premier League ne ttiimu y'eggwanga eya Uganda.[1][2]

Emirimu gye egy'ekivubuka

[kyusa | kolera mu edit source]

Wasswa omupiira yagutandika ng’akyali mwana muto mu Haka Academy gye yeeyongerayo mu mupiira gw’amasomero bwe yeegatta ku siniya ku St Mary’s Kitende yalondebwa ng’omuzannyi w’obuvanjuba asinga mu mpaka z’omupiira eza Airtel Raising Stars. Mu biseera bye eby’okusoma ku St Marys Kitende, Wasswa yawangula empaka za Copa Coca-Cola eziwerako ku lw’essomero n’amasomero ga East Africa.

Emirimu gya kiraabu

[kyusa | kolera mu edit source]

Yeegatta ku Vipers SC mu 2015 ngalina emyaka 16. Yazannya emipiira 72 n’ateeba ggoolo 8, mu 2015–16 Wasswa yali mu ttiimu ya Junior era nga yali azannyirane mu ttiimu ya Senior. Wasswa yazannya mu bujjuvu mu ttiimu ya Vipers SC Senior mu 2016 nga battunka ne Bul FC mu kisaawe e Nakivubo mu mupiira Vipers SC gwe yawangula ggoolo 1-0[3]

Awangudde engule eziwerako ne Vipers Vipers SC 2018 Uganda Premier League.[4]

Mu sizoni ya 2016–17, yawangula ekikopo kya Uganda Cup mu Vipers sc era yasunsulwa ng’omuzannyi wa Uganda asinga okusuubiza okuva eri Azam, abavujjirizi ba liigi.[5] Yazannya emipiira 18.

Wasswa Geoffrey azannye mu Vipers SC ku mutendera gwa ssemazinga era azannye emipiira egiwerako mu CAF Confederations Cup ne CAF Champions League nga attunka ne El Merrichk owa Sudan ne CS Constantaine owa Algeria awaka ne ku bugenyi.[6]

Wasswa yegatta ku SC Villa mu January wa 2021. Ku mupiira gwe ogwasooka ne Ndejje University FC, yateeba okuva mu kifo kino n’ayamba kiraabu ye empya okulinnya lawundi y’ekikopo kya Uganda Cup.

Emirimu ku ddaal ly'ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Ku myaka 18, Wasswa Geoffrey yatandika okuzannyira ttiimu z’Abali wansi w’emyaka mu biti ebiwerako, COSAFA U-20 Zambia ne Uganda, Lesthoso ne Uganda, Zimbabwe ne Uganda ne Uganda ne Egypt.

Wasswa Geoffrey afunye okuyitibwa mu ttiimu y’eggwanga eya Uganda okuva ew’omutendesi Sébastien Desabre mu Gwokusatu 2018 mu luwummula lw’ensi yonna kyokka teyakola kusala ku ttiimu esembayo wabula n’alondoolebwa ttiimu y’ebyekikugu eya Cranes.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Home - FUFA: Federation of Uganda Football Associations". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2018-06-30.
  2. ↑ "Wasswa is Captain Fantastic as Vipers Go Five Points Clear". 2 February 2020. Archived from the original on 30 March 2023. Retrieved 4 June 2026.
  3. ↑ "Vipers FC Star Wasswa Returns After 7 Months Due to Injury". 23 October 2019.
  4. ↑ "Uganda Premier League". Uganda Premier League (in American English). Retrieved 2018-06-30.
  5. ↑ "Uganda Premier League". Uganda Premier League (in American English). Retrieved 2018-06-30.
  6. ↑ "Vipers bow out of Champions League". 23 December 2018.