Jump to content

George Baguma

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

George W. Baguma, Munnayuganda munnabyabizinensi era musuubuzi. Mu kiseera kino ye akulira eby'obusuubuzi era dayirekita w'ebyakitunzi mu kkampuni ya Cipla Quality Chemical Industries Limited . George Baguma ye mutandisi era omuvujirizi wa ssente mu kkampuni ya QCIL era mmemba ku lukiiko olufuzi olwa kkampuni eno. [1]

Alina diguli ne dipuloma okuva mu Ssettendekero wa Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obunene n'obukadde mu Uganda . Era alina diguli ey'okubiri mu ssaayansi n'okusoma ku biwuka eya entomology ne PhD mu by'obuwuka bubeera mu bisolo n'abantu eya parasitology okuva mu Imperial College London . [2]

Ebyafaayo by’emirimu gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 2000 tannatuuka, Baguma yakolera mu minisitule ya Uganda ey’ebyobulimi, amakolero g’ebisolo n’obuvubi, mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’obugagga by’ebisolo, ng’omumyuka wa kaminsona. Okuva mu 2000 okutuuka mu 2005, yaweereza ng’akulira eby’obusuubuzi mukkampuni ya Quality Chemicals Limited . Okuva mu 2005 okutuuka mu 2013, yaweereza ng’akulira eby’obusuubuzi era dayirekita w’ebyakitunzi mu kkampuni ya Quality Chemical Industries Limited . [3] [4] Era musiga nsimbi mu bizinensi eno.

 

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20150402132145/http://www.ciplaqcil.co.ug/about-us/board-of-directors/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2025-08-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://www.newvision.co.ug/news/18250-quality-chemicals-to-manufacture-special-arvs.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-17. Retrieved 2025-08-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]