Jump to content

George Kirya

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

George Barnabas Kirya . Yazaalibwa 1939. Munnayuganda, musawo, musomesa, mukugu mu kunoonyereza ku buwuka obusirikitu obutalabika, munnabyabufuzi, Ambasada wa Uganda. Yakola nga ssentebe w’akakiiko k’ebyobulamu mu Uganda aka Uganda Health Services Commission okuva mu 2007 okutuuka mu 2012. [1] Emabegako, okuva mu 1997 okutuuka mu 2003, yaweerezaako nga Ambasada wa Uganda mu Bungereza. [2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu ddwaliro lya Ngora Hospital mu 1939 eri Joshua Kirya, Mugwere okuva mu Buvanjuba bwa Uganda, [3] ne Miriam Najjemba Muganda okuva mu kitundu ky'Omumasekkati ga Uganda . [4] Kirya yasomera mu Busoga College Mwiri okusoma siniya ey'okuna [5]

Oluvannyuma yakyuka yegatta ku ssomero lya Mbale Secondary School okusoma siniya ey'omukaaga. Mu 1961, yayingira ebbanguliro ly'abasawo e Makerere erya Makerere University School of Medicine, gye yatikkirwa diguli ye mu busawo n'okulongoosa eya Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery mu 1966. Oluvannyuma yafuna diguli e'okubiri mu kunoonyereza ku buwuka obusirikitu obutalabika eya Master of Science in Microbiology mu 1971 okuva mu University of Birmingham mu Bungereza. Dipulooma ye mu Bacteriology yagufunira mu University of Manchester mu 1975. Mu 2001, ng’asiimibwa olw'obuweereza bwe ng’omubaka wa gavumenti, Yunivasite y’e Birmingham yamuwa diguli ey’ekitiibwa eya Doctor of Laws . [6]

Oluvannyuma lw’okutendekebwa mu ddwaaliro e Mulago, Kirya yeegatta ku pulogulaamu ya diguli ey'enyongereza eya Master of Medicine postgraduate program, ng’essira yaliteeka mu kwongera okukuguka mu biwuka obusirikitu. Bwe yatikkirwa mu pulogulaamu ya MMed, yeegatta ku kitongole ekinoonyereza ku buwuka ekya East African Virus Research Institute (EAVRI), ekitongole ky’omukago gwa East African Community, kati ekimankiyiddwa nga Uganda Virus Research Institute . Yakola ng’omukungu akola ku kunoonyereza nga tannafuuka mukungu omukulu mu kunoonyereza ku by’obujjanjabi era akulira okunoonyereza ku buwuka obutambuzibwa ebiwuka ng'ensiri n'ebirala (arbovirology mu EAVRI.

Okuva mu 1970 okutuuka mu 1973, yaweereza ng’omusomesa ow'ekiseera mu dipaatimenti esomesa ku buwuka obusirikitu mu bbanguliro lya Makerere University School of Medicine . Okuva mu 1973 okutuuka mu 1975, yaliko omusomesa omukulu e Makerere, ng’asomesa essomo elikwata ku buwiuka obusirikitu, okwekennenya n’okunoonyereza ne kumutendera gw'abayizi abatannaba kutikkirwa n'abo abasoma diguli ey'ennyongereza. Yaweerezaako nga pulofeesa era akulira ekitongole kya Medical Microbiology e Makerere okuva mu 1978 okutuuka mu 1986.

Okuva mu Gwokuna 1986 okutuuka mu Gwekkuminogumu 1990, yakola nga omumyuka w'Akulira Ssettendekero wa Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obunene mu Uganda. Mu 1997, yalondebwa okubeera Ambasada wa Uganda mu Bungereza, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2003. [7]

Yakomawo mu Uganda mu 2003 n’alondebwa okuba ssentebe w’akakiiko k’ebyobulamu mu Uganda, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2012. [8] Wakati wa 2007 ne 2011, yaweereza nga Omukulu akulira Yunivasite y’e Lugazi .

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Professor George Kirya awandiise nnyo mu bitabo bya babavubuka mu kisaawe ky'okusoma ku buwuka obulwaza omubiri (virology), ng'essira aliteeka ku arbovirology . Awandiika emiko mu mpapula z'amawulire ez’olulimi Olungereza eza Uganda, ezisaasaanyizibwa mu ggwanga lyonna. [9] [10] Ye Ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa THETA, ekitongole ky'obwannakyewa ekya Uganda ekigenderera "okutumbula eby'obulamu n'okufuna obujjanjabi nga kiyita mu kutumbula enkolagana wakati w'enkola y'obujjanjabi bw'eddagala ly'obutonde n'ekozesa y'eddagala erilongooseemu". [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1240877/igg-handle-late-comers-prof-kirya
  2. http://allafrica.com/stories/200110300008.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1304879/uganda-expert-insect-viruses
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.birmingham.ac.uk/Documents/senate/honorary-graduates-since-2000.pdf
  7. https://www.independent.co.uk/arts-entertainment/right-of-reply-george-b-kirya-1186796.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1324275/ddt-save-lives-uganda
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end