Jump to content

George Mukasa

Bisangiddwa ku Wikipedia
George Mukasa
Omutendesi w'omupiira gw'ebigere munnayuganda eyawummula Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeYuganda Kyusa Wikidata

George Mukasa era amanyiddwa nga George Wagaba Mukasa (yazaalibwa mu mwaka gwa 1949) mutendesi wa mupiira mu bibiina bya Uganda eyawummula era nga muzannyi wa mupiira mu bibiina eyawummula era Munnayuganda. Yatendeka Ttiimu y'eGgwanga wakati wa 1984 -1985.[1] era ne SC Villa okuva mu mwaka gwa 1982 okutuuka mu mwaka gwa 1985. Yali mukwasi wa ggoolo mu kiraabu z'omupiira ez'ebibiina omuli: KCCA FC, SC Villa, Express FC, Coffee United SC.[2] Yawummula omupiira gw'ebibiina mu mwaka gwa 1978.[3]

George Wagaba Mukasa yazaalibwa mu mwaka gwa 1949 e Mengo Kisenyi mu disitulikiti y’e Kampala.[2]

Omulimu gw'omupiira

[kyusa | kolera mu edit source]

Mukasa yeegatta ku KCCA FC okuva mu Express FC mu mwaka gwa 1971 ng'omukwasi wa ggoolo . Yakuuma clean sheets ttaano mu kampeyini eno era yazannya emipiira 16. Mukasa yawummula okusamba omupiira mu mwaka gwa 1978 n’adda mu butendesi, ng’akwata kiraabu nga SC Villa, Express FC, Coffee United SC ne Nsambya FC n’ekiraabu endala.[4]

Omulimu gw’obutendesi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mukasa yawangula ekikopo kya liigi kimu ne SC Villa mu mwaka gwa 1982, Era yawangula ekikopo kya Uganda emirundi ebiri mu mwaka gwa 1983 ne SC Villa ate ne mu mwaka gwa 1985 ne Express FC.

Nga 13th omwezi Ogwomunaana mu mwaka gwa 1983, SC Villa yazannya ne Millers FC mu liigi y’omupiira mu kisaawe e Nakivubo, mu mupiira ogwo George Mukasa mwe yalagirwa okuva mu kisaawe olw’okweyisa obubi oluvannyuma lw’omu ku bazannyi be (Rogers Nsubuga) okufuna obuvune obutonotono ng’ebula akaseera katono ekitundu ekisooka okuggwa, oluvannyuma lw’okusaba enfunda eziwera referee Dick Nsubuga, bonna ne befula abatawulira.[5] Kino kyawalirizza Dick Nsubuga okusaba George Mukasa ave ku touchline nga ekitundu ekyokubiri tekinnatandika. Omupiira guno okukkakkana nga guwedde ggoolo 1-1.[5]

Ebikolwa bya George Mukasa byanyiiza abakungu ba SC Villa okuli ne Pulezidenti wa kiraabu mu kiseera ekyo (Patrick Kawooya),kino kyamuviirako okuyimirizibwa okumala omwezi gumu era nga tannadda, FUFA nayo yamuwa ekibonerezo kya mwaka gumu olw’ebyo bye bimu ku Millers. oluvannyuma envumbo yaggyibwawo nga ekkiriza George Mukasa okuddamu okukola emirimu gye.

Mu mwezi Ogwomwenda nga 14, mu mwaka gwa 1984,yaddayo mu Villa Park kyokka nga kiraabu eno yali yagwa dda okuva mu kitiibwa kyayo era nga KCCA FC yali erangiriddwa ng’ewangudde liigi.

Ttiimu y'eGgwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

George Mukasa yatendeka Ttiimu y'eGgwanga mu mwaka gwa 1984, n’alung’amya ttiimu eno okutuuka ku kikopo kya semi ya Cecafa, era yazannyira ttiimu y’eggwanga okuva mu mwaka gwa 1971 okutuuka mu mwaka gwa 1976. [6] Mukasa yatendeka Ttiimu y'eGgwanga wakati wa 1984 -1985.[1]

George Mukasa yaleeta omusono gw’okuzannya Kawowo ku ttiimu y’eggwanga wakati wa 1984 ne 1985. Wadde kino kyali kya kusanyusa, tekyavaamu kivaamu Ttiimu y'eGgwanga kuba yakubwa Malawi mu mipiira gya CECAF semi fayinolo egyali mu kisaawe kya Cranes, kino kyamuviirako okugobwa mu mwaka gwa 1985.[7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Second; 1978, Uganda NicknameThe Cranes Association Federation of Uganda Football Associations Sub-confederation CECAFAConfederation CAFHead coach Milutin Sredojević Captain Andrew Mwesigwa Home stadium Mandela National Stadium FIFA code UGA FIFA ranking 71 1Highest FIFA ranking 63Lowest FIFA ranking 121Elo ranking 79Highest Elo ranking 40Lowest Elo ranking 129First international Kenya 1–1 UgandaBiggest win Uganda 13–1 KenyaBiggest defeat Egypt 6–0 UgandaTunisia 6–0 UgandaAfrica Cup of Nations Appearances 5Best result (2015-05-11). "THE UGANDA CRANES| DETAILED INFORMATION". SportsEye.ug (in Lungereza). Retrieved 2024-11-08.{{cite web}}: CS1 maint: multiple names: authors list (link)
  2. 1 2 Strack-Zimmermann, Benjamin. "George Mukasa (Coach)". www.national-football-teams.com (in Lungereza). Retrieved 2024-11-07.
  3. Zziwa, Hassan Badru (2021-12-11). "KCCA team of 1976: Where are they now?". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-21.
  4. Zziwa, Hassan Badru (2021-12-11). "KCCA team of 1976: Where are they now?". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-07.
  5. 1 2 Zziwa, Hassan Badru (2024-10-09). "Recalling Villa's standoff with coach Mukasa in 1983". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2024-11-08.
  6. "george wagaba mukasa at national team - Google Search". www.google.com. Retrieved 2024-11-07.
  7. "The tacticians who have taken charge of Crane". Monitor (in Lungereza). 2021-01-10. Retrieved 2024-11-08.