George Shepperson
George "Sam" Albert Shepperson CBE (7 Ogw,oluberyeberye 1922 – 2 Ogw'okunna 2020) [1] yali muzungu omunnabyafaayo era omufirika omuyivu, eyamanyibwa naddala olw'omulimu gwe yakola ku byafaayo bya batuze ba Malawi n'Abafirika-Amerika . Yali William Robertson omukenkufu w’ebyafaayo bya Commonwealth n’ebungereza mu Yunivasite y’e Edinburgh okuva mu 1963 okutuuka mu 1986.[2] Yalondebwa okuba omuddumiizi we biragiro bya matwale nga British mu 1989.
Obulamu obuto n’emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]George "Sam" Shepperson yazaalibwa mu Peterborough, mu kiseera ekyo ekitundu kya Northamptonshire, mu 1922, mutabani makanika (fitter) . Yasomera mu ssomero lya King’s School, Peterborough, era yasoma Ebyafaayo n’Olungereza mu St John’s College, Cambridge . Yamaliriza ebbaluwa ye ey’obuyigirize oluvannyuma lw’okuweereza mu lutalo. Yaweebwa omulimu mu Northamptonshire Regiment mu gw'okubiri 1943, ng’alina ennamba y’obuweereza 264651,[3] era yali kyiyambi mu ggye lya King’s African Rifles okuva mu 1943 okutuuka mu 1946 ng’omuserikale mu kibinja ky'ekkumi n'essatu ( Nyasaland ) Battalion, nga kisinzira mu Kenya, Tanganyika, Ceylon, India ne Burma . Bwe yali asimbiddwa mu East Africa, yafuna okwagala eri ebyafaayo by’obwakabaka bwa Bungereza ne Afirika.
Shepperson yatandika omulimu gw'okusomesa ebyafaayo bya Imperial n'Amerika mu Yunivasite y'e Edinburgh mu 1948 era n'alondebwa ku ntebe ya William Robertson mu 1963, n'awummula mu 1986.[4] Yali abadde pulofeesa omugenyi mu Yunivasite ya Roosevelt ne Yunivasite y'e Chicago, Rhode Island College, kati eyitibwa Makerere University ne Dalhousie University . Yaweebwa diguli ey’ekitiibwa (honorary doctorate) okuva mu Yunivasite y’e York mu 1987 era yali mukenkufu mu yunivasite ya Harvard 1986–87. Mu 1990 Yalondebwa okuba memba ow’ekitiibwa ow’ekitongole ky’eby’enjigiriza mu Scotland.
Shepperson yali munnabyafaayo owamannyi mu African Diaspora, ebyafaayo by'abantu ba Africa n'okusaasaana kwabwe mu nsi yonna era yaweebwa engule ya "Distinguished Africanist" mu 2007 okuva mu kitongole kya African Studies Association mu Bungereza . Obukugu bwe mu kunoonyereza kwali byafaayo bya ku batuze be Malawi, era yawandiika ku byafaayo by’Abafirika mu Amerika (era yali ssentebe w’ekibiina kya Bungereza ekinoonyereza ku Amerika (British Association for American Studies) okuva mu 1971 okutuuka mu 1974) n’ebyafaayo by’abaddugavu aba Bungereza (naddala ebikwata ku kubeerawo kw’abaddugavu mu Scotland . Ebiwandiiko bye bingi, omuli ebikata ku John Chilembwe n’okwegugunga kwa Chilembwe, birabibwa ng’ebintu eby’omugaso. ammefuga ga bafiirika: John Chilembwe and the Origins, Setting and Significance of the Nyasaland Native Rising 1915 (1958) kye kimu ku bitabo by’abayivu ebyasooka ku byafaayo bya Afirika era byasomebwa nnyo amawanga ng’Afirika oluvannyuma lw’okufulumizibwa Shepperson yawa emboozi y’obulamu bwe ng’omuwandiisi w’ebyafaayo ow’Afirika ng’omulimu gwe yawaayo mu kitabo kya The Emergence of African History at British Universities: An Autobiographical Approach (1995, ekyafulumizibwa Anthony Kirk-Greene).[5]
Yaweebwa engule ya CBE mu 1989 nga ssentebe w'akakiiko ka Scotland aka Commonwealth Institute.[6]
Ebitabo ebirondeddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- "Ebyenjigiriza biwagira eddembe—emboozi y'enzaalwa y'afirika John Chilembwe", Negro History Bulletin, v. 15, January 1952.
- "Ethiopianism n'obuwangwa bwa Afirika". Phylon, olunyiriri 14, (1953) .
- "Frederick Douglass ne Scotland", Ekitabo ky'ebyafaayo by'Abafirika Abamerika, 38, 3 (1953).
- Omufirika eyeetongodde: John Chilembwe n’ensibuko, embeera n’amakulu g’okusituka kw’enzaalwa y’e Nyasaland 1915 (ne Thomas Price) (1958; 5th edition 1987)
- "Ebiwandiiko ku nkola y'Abazungu Abamerika ku Kuvaayo kw'Obwannakyewa bwa Afirika", The Journal of African History, 1, 2 (1960).
- "Ensonga ez'ebweru mu nkulaakulana y'eggwanga lya Afirika, naddala nga twesigamye ku Bungereza ey'omu masekkati ga Afrika". Phylon, olunyiriri 22 (1961) .
- "Obufuzi bwa Pan-Africanism ne 'Pan-Africanism': Ebimu ku biwandiiko by'ebyafaayo", Phylon, 23, No. 4 (1962).
- "Omuddugavu n'ensalo empya", The Political Quarterly, 33, 2 (1962).
- "Okuggyawo amateeka n'endowooza y'ebyobufuzi mu Afrika", Transition 12 (1964).
- David Livingstone ne Rovuma: Akatabo akalongoosebwa nga kalimu ennyanjula n’ebiwandiiko ebikwatagana nabyo (1965).
- "Abantu abava mu Afirika: oba Afirika ebweru w'eggwanga", African Forum, 2 (1966)
- Enfumo n'ebituufu mu Malawi (1966) .
- Ensi n'abantu mu maserengeta ga Afrika ekyawandiikibwa Africanus Horton (ed.) (1969)
- "Enyanjula" mu kitabo ky'Omuddugavu abali abazaalibwa mu bugereza ekyawandiikibwa WEB Du Bois (Oxford University Press, 1970)
- "Mungo Park n'omugabo gwa Scotland mu Afrika", Ensonga za b'Afrika, 70, (1971)
- Joseph Booth n'aba Afirika abali mu nsi endala (1972) .
- "Kipling n'olutalo lw'Ababoer" mu John Goss (ed.), Kipling: Omusajja, omulimu gwe n'ensi ye (1972)
- Scotland, Bulaaya, n'enkyukakyuka mu Amerika (yalongoosebwa wamu ne Owen Dudley Edwards ) (1976)
- "America okuyita mu Afirika ne Asia", Journal of American Studies, Vol. 14, No. 1, Ensonga ya Jjubiri ya BAAS (April 1980).
- "Olukungaana olw'okutaano olwa Pan-African, 1945 n'olukiiko lw'abantu bonna mu Afrika, 1958" (ne St. Clair Drake ), Contributions in Black Studies, 8, 5 (1986)
- "Malawi n'ebitontome bya Ssematalo bbiri", The Society of Malawi Journal, 43, 2 (1990).
- "Abantu ababeera mu Afirika: Endowooza n'embeera" mu Global Dimensions of the African Diaspora, ekyasengekebwa Joseph E. Harris (1993).
- "Paul Robeson mu kibuga Edinburgh". Yunivasite y'e Edinburgh Journal . 37–38 (1998) mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
- "Ebijjukizo bya Dr Banda", Ekibiina kya Malawi Journal 51, 1 (1998).
- "Okwogera kw'ebirabo bya diguli", Ekibiina kya Malawi Journal, 56, 1 (2003).
- "Obusiraamu mu masekkati ga Afrika: Ekiwandiiko eky'ebyafaayo", The Society of Malawi Journal, 59, 2 (2006).
- "Ebbaluwa Ennene eya Chilembwe", Ekibiina kya Malawi Journal, 68, 1 (2015).
- "Dr John McCracken: Okusiima okw'obuntu", Ekibiina kya Malawi Journal, 71, 1 (2018).
Ebijjulizidwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "George Shepperson obituary". The Times. 12 May 2020. Retrieved 13 July 2020.
- ↑ "George Albert Shepperson". www.docs.is.ed.ac.uk. Retrieved 2025-07-31.
- ↑ Template:London Gazette
- ↑ "George Albert Shepperson". Edinburgh University Library. Retrieved 2020-04-08.
- ↑ "A Guide to the George Shepperson Collection MS Group 206". University of Florida, Smathers Libraries. Retrieved 2020-04-08.
- ↑ Template:London Gazette
Eby'okusoma ebirala
[kyusa | kolera mu edit source]- Angus Calder, 'Okukola Schwarzer Orpheus : Janheinz Jahn ne George Shepperson',Journal of Commonwealth Literature (1980).
- Cedric Robinson, 'Ebi'Notes toward a "Native" Theory of History', Review (Fernand Braudel Center) 4, 1 (1980).
- 'Ffe nga Abalala: Ebimu ku bigambo ku Cedric Robinson ku George Shepperson', Review (Fernand Braudel Center) 4, 1 (1980).
Ebijjulizidwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Yintaviyu mu Archives ya Imperial War Museum
- Okwogera kwa Shepperson okuggulawo mu "Chilembwe Revisited Symposium" ( Yunivasite y'e Edinburgh, 7 ogw'omusanvu 2015)
- Profile mu tterekero ly’ebitabo erya Yunivasite y’e Edinburgh