Jump to content

George Wilberforce Kakoma

Bisangiddwa ku Wikipedia

George Wilberforce Kakoma (yazaalibwa nga 27 Ogwomusanvu 1923 – 8 Ogwokuna 2012) yali muyimbi Munnayuganda eyayiiya era n'awandiika oluyimba lwe ggwanga Uganda "Oh Uganda, Land of Beauty". Oluyimba lwe lwasooka okukubibwa mu lujjudde Bandi ya Poliisi nga ekulemberwa Omwami Moon mu Gwekkumi nga 9, 1962 ku bijaguzo by'olunaku lw'ameefuga ga Uganda. Yawebwa akasiimo nga omuntu ka shs. 2,000 okuva ewa Ssaabaminisita Milton Obote olw'omulimu gwe.[1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kakoma yazaalibwa mu 1923 mu maka ga Semu Kyasooka Kakoma, Katikkiro w'e Gombolola ne Solome Mboolanyi Kakoma[1] mu kitundu kati ekiyitibwa Disitulikiti y'e Wakiso era town council y'e Mengo mu Uganda.[2] Yasomera ku ssomero lya Mengo Primary School n'oluvannyuma ku King's College Budo, gye yali mukoddomi wa Sir Edward Mutesa II. Yali mmemba wa kkwaaya omujjumbize era nga muzannyi wa mizannyo nnyo mu biseera bye eby’okusoma. Yasoma eby'okuyimba ku Royal Conservatory of Music e Nairobi n'oluvannyuma ku Royal College of Music e London, nga tannagenda mu maaso n'okusoma mu University of Durham mu Northern England.[1] Yatikkirwa ku ttendekero ly'ennyimba erya Trinity College of Music ne Durham University.

George Wilberforce Kakoma yaleka abaana, abazzukulu n’abazzukulu b'abazzukulu.

The Ugandan national anthem, which Kakoma wrote and composed.

Nga Uganda tennafuna bwetwaze, obukiiko obutono busatu bwatandikibwawo okukola ku kutondawo obubonero bw'eggwanga lya Uganda. Akakiiko akatono ak’okutondawo oluyimba lw’eggwanga kakubirizza Bannayuganda okuleeta ebiteeso byabwe.

"Oluyimba lwalina okuba nga lumpi, teruyimbibwangako, lwamulembe, lw'akitiibwa, nga lutendereza n'okwesunga ebiseera eby'omu maaso. Lwalina okuwandikibwako amaloboozi ana aga bulijjoo -soprano, alto, tenor ne bass," Kakoma bwe yategeeza mu mboozi ey'akafubo.[3]

Mu Gwomusanvu 1962, akakiiko kaalonda oluyimba lwa Kakoma. Kyamutwalira olunaku lumu okuyiiya oluyimba n'okuwandiika ebigambo by'alwo "Oh Uganda, Land of Beauty".

Kakoma yakola nga omusomesa w'eby'okuyimba mu Disitulikiti y'e Masaka . [4]

Kakoma yafuna engule nnyingi, omuli n’omudaali gw’Ameefuga g’Eggwanga mu 2010. Ng’oggyeeko oluyimba lw’eggwanga, yayambako mu kuyiiya oluyimba lwa East African Community mu 2005. Yayiiya n’oluyimba lw’ekitongole ky’ebisolo by’omu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority.[1]

Obulamu bw'oluvannyuma n’okufa kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kakoma yafa ku Paasika nga 8 Ogwokuna, 2012[1] e Kampala mu bitundu by’e Kololo, ng’alina emyaka 89.[5]

Ebitabo ebifulumizibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • George W. Kakoma, Songs from Buganda, Univ. of London Press, London 1969, Template:ISBN

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 Uganda: Building of a Nation. Kampala: Vision Group. 2012. p. 281. ISBN 9789970447008.
  2. "Professor George Wilberforce Kakoma and the Uganda National Anthem".
  3. "Archived copy". newvision.co.ug. Archived from the original on 27 September 2007. Retrieved 12 January 2022.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Daily Monitor". mobile.monitor.co.ug. Archived from the original on 2019-05-26. Retrieved 2019-05-26.
  5. "Anthem composer George William Kakoma passes on". New Vision. 8 April 2012. Retrieved 8 April 2012.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]