Jump to content

George William Kyeyune

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Professor George William Kyeyune (yazaalibwa 1962) mukubi wa bifaananyi era pulofeesa mu yunivasite y'e Makerere, Kampala, Uganda. [1] [2] Asomesa okukola ebifaananyi okuva mu miti oba mu mbaawo, okubumba n’ebyafaayo by’ebifaananyi bya Afirika mu bbanguliro ly'obwayinginiya, okuwunda , ne tekinologiya erya– yunivasite y'e Makerere , ng’ayagala nnyo okunoonyereza ku nkuba y'ebifaananyi eri ku mulembe ne tekinologiya w’okukola ebibumbe mu byuma . [2] N'era ye vviika wa Lutikko y'e Namirembe ow'ekkanisa ya Uganda.

Prof. George Kyeyune yazaalibwa mu 1962 mu maka Uganda ag'ekyalo agatambulira ku nnono e Masaka, mu ggombolola y'e Kyanamukaaka mu masekkati ga Uganda . [1] Ku myaka emito, yatandika okulaga obubonero bw’omuyiiya akuba ebifaananyi ng’akozesa ettaka nga akatiba ke kwakubira . Kino oluvannyuma kyamufuukira omulimu mu kukuba ebifaananyi (okusiiga ebifaananyi okukola ebifananyi okuva mu miti oba mu mbaawo n’okubumba). [1]

Prof. George Kyeyune yali muyizi wa bbanguliro lya Margaret Trowell School of Fine Arts mu kiseera ekyo (kati Margaret Trowell School of Industrial and Fine Arts), gye yatikkirwa ne ddiguli esooka mu kukola, okukuba n'okusiiga ebifaananyi mu 1985. [1] Era oluvannyuma yafuna dipulooma mu by’enjigiriza omwaka ogwaddako. Prof. George Kyeyune yafuna ddiguli eyokubiri mu kukulo, okukuba n'okusiiga ebifaananyi okuva mu yunivasite y'e Maharaja Sayajirao eya Baroda e Buyindi nga yasinga kukuguka mu kukola bifananyi okuva mu mbaawo oba emiti nokukola ebibumbe okuva mu bbumba ne mu byuma. [1] Mu 1999, Prof. George Kyeyune yafuna sikaala okuva mu kakiiko ka sikaala ak'omukago ogugatta ensi ezaaliko amatwale ga Bungereza okusoma ddiguli ye eyokusatu (PhD) mu byafaayo by'okukuba ebifaananyi ku bbanguliro lya School of Oriental and African Studies (SOAS), mu yunivasite y'e London. [3] [1]

Prof. George Kyeyune yakomawo okuva e Buyindi natwala ekifo ky’obusomesa mu by’okubumba mu ssomero lye gye yasomerako. [1] Mu kiseera musomesa ali ku ddaala eriddirira okufuuka pulofeesa mu bbanguliro ly'obwayingiiniya, okuwunda ne tekinologiya – ku yunivasite y'e Makerere N'era akola en’bifaanayi mu miti n'embaawo n'okubumba okuva mu bbumba ne mu byuma n’okusiiga ebifaananyi eby’emyoleso. [4] Egimu ku mirimu gye mulimu : Kampala gye Nja Kuddayo Bulijjo (2011); Ku Saluuni (2011); Olugambo I & II (2011); Okukuba essimu (2011); Omutunzi ku mabbali g’enguudo (2011); Boodaboda I, II & III (2011); En Route okuva e Mbale (1983) ne J esus Okuwandiika mu musenyu (1983) n’ebirala. [5]

Obulamu bwe ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Prof. George Kyeyune taata w’omuyimbi munnayuganda Ragga Dee (yazaalibwa Daniel Kazibwe). [6] [7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 start (15 December 2010). "The Perceptive Observer: An interview with George Kyeyune". Start Journal. Retrieved 9 June 2019. Cite error: Invalid <ref> tag; name "auto" defined multiple times with different content
  2. 1 2 "George Kyeyune". The College of Engineering, Design, Art and Technology. Archived from the original on 9 June 2019. Retrieved 9 June 2019.
  3. "Lot 6 – 2019". East African Art Auction. Retrieved 9 June 2019.
  4. "The Perceptive Observer: An interview with George Kyeyune – Start Journal". startjournal.org. Retrieved 9 June 2019.
  5. start (29 November 2011). "Kyeyune's The Kampala I Will Always Come Back To: Sanitised Economic Injustices and the Risk of Propaganda". Start Journal. Retrieved 9 June 2019.
  6. Iragaba, Apollo (2022-09-19). "9 Things You Didn't know about Ragga Dee". Hard Rock Media (in American English). Retrieved 2023-01-22.
  7. Nyanchama, Venic (2021-06-25). "Ragga Dee bio: family, house, cars, net worth, songs, facts". Tuko.co.ke - Kenya news. (in Lungereza). Retrieved 2023-01-22.

start (15 December 2010). "The Perceptive Observer: An interview with George Kyeyune". Start Journal. Retrieved 9 June 2019.

  1. "George Kyeyune". The College of Engineering, Design, Art and Technology. Archived from the original on 9 June 2019. Retrieved 9 June 2019.
  2. NTVUganda (30 May 2019), Church of Uganda mourns the death of Prof Apolo Nsibambi, retrieved 9 June 2019
  3. "Lot 6 – 2019". East African Art Auction. Retrieved 9 June 2019.
  4. "The Perceptive Observer: An interview with George Kyeyune – Start Journal". startjournal.org. Retrieved 9 June 2019.
  5. start (29 November 2011). "Kyeyune's The Kampala I Will Always Come Back To: Sanitised Economic Injustices and the Risk of Propaganda". Start Journal. Retrieved 9 June 2019.
  6. Iragaba, Apollo (2022-09-19). "9 Things You Didn't know about Ragga Dee". Hard Rock Media (in American English). Retrieved 2023-01-22.
  7. Nyanchama, Venic (2021-06-25). "Ragga Dee bio: family, house, cars, net worth, songs, facts". Tuko.co.ke - Kenya news. (in Lungereza). Retrieved 2023-01-22.