Jump to content

Gerald Kasaato

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gerald Paul Kasato Munnayuganda omubalirizi w'ebitabo, munnamateeka, omukugu mu by'ensimbi, era akulira bizinensi . Ye mumyuka akulira emirimu egikolebwa era omumyuka w’akulira NSSF Uganda, okuva nga 21 Ogwomukaaga 2024. Yakolera mu kifo kye kimu mu buvunaanyizibwa bw’okukola okuva mu August 2023 okutuuka mu June 2024. Nga tannakola ekyo, yali akulira bamusigansimbi (CIO) mu kitongole kye kimu wakati wa 2014 ne August 2023. [1] [2]

Ebyafaayo n’obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Munnayuganda. Diguli esooka mu Sayansi mu kubala ebitabo yafun awaadi mu yunivasite ya Oxford Brookes e Bungereza. Era alina diguli esooka mu mateeka okuva mu Yunivaasite ya Nottingham Trent . Diguli ey'okubiri mu Sayansi mu by'ensimbi n'okusiga ensimbi mu nsi yonna, yamuweebwa yunivasite ya London South Bank . Diguli ey'okubiri mu by'obusuubuzi yagifuna okuva mu yunivaasite y'e Exeter . Era yasoma emisomo egy’omulembe egy’obukulembeze n’okuddukanya emirimu okuva mu Harvard Business School ne mu Wharton School, zombi mu Amerika, [1] [2] ne okuva mu London Business School mu Bungereza. [3]

Kasaato mukenkufu mu by’ensimbi (CFA), ali mu ttendekero lya Chartered Management Institute mu Bungereza, Chartered Certified Accountant mu Bungereza ate nga mubabilirizi omukakafu (CPA) mu Uganda.[1][2]

Ebyafaayo by’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Yakolera mu bitongole eby’enjawulo mu Bungereza nga tannasenguka mu Uganda mu makkati g’emyaka gya 2000. Yakola ne National Housing and Construction Company, nga Finance and Investment Manager ne National Insurance Company Limited, nga Manager Investment and Treasury. [1][2][4]

Yeegatta ku NSSF Uganda mu 2011 nga Portfolio Manager, Equities. Mu 2014 yakuzibwa n’afuulibwa akulira bamusigansimbi. Mu August 2023, yalondebwa ku bwa Acting Deputy Managing Director okudda mu bigere bya Patrick Ayota eyasitulwa n’afuulibwa akulira / Senkulu mu kkampuni eno. Oluvannyuma lw’emyezi kkumi ng’akola ng’olukiiko olufuzi olwa Uganda NSSF lwasemba Kasaato alondebwe ng’omumyuka w’akulira emirimu (substantive CEO).[1][2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 Muhamadi Byemboijana (21 June 2024). "Gerald Paul Kasaato Appointed NSSF Deputy Managing Director". Retrieved 23 June 2024. Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  2. 1 2 3 4 5 Samuel Muhimba (22 June 2024). "Gerald Kasaato Is New NSSF Deputy Managing Director". Nilepost Uganda. Retrieved 23 June 2024. Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  3. Michael Kironde (23 June 2024). "Gerald Kasaato Is The New NSSF Deputy MD". Uganda Bulletin. Retrieved 23 June 2024.
  4. CFANY (2021). "CFA New York: Speaker-Organizer, Gerald Paul Kasaato". CFA Society New York (CFANY). Retrieved 23 June 2024.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]