Jump to content

Gerald Nangoli

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Gerald Nangoli munnayuganda era mmemba wa paalamenti ow'essaza lya Elgon ey'obukiika kkono mu Disitulikiti y'e Bulambuli mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu . [1] [2] [3] [4] Yeegattira mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) . [2] Mu paalamenti ey'ekkumi n'emu, Nangoli aweereza ku kakiiko k'ebyensimbi, okuteekateeka n'enkulaakulana y'ebyenfuna. [5]

Emirimu gy’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Teyavuganyizibwa mu kamyuufu ak'okusuunsulamu anaakwata bendera , okuvuganya nga mmemba wa paalamenti ow'essaza lya Elgon ey'obukiika kkono. [6] [7] Nangoli yawangula akalulu ka 2021 era n'afuuka omubaka wa paalamenti ow'essaza lya Elgon ey'obukiika kkono mu disitulikiti y'e Bulambuli n'omuwendo gw'obululu ogusinga obungi. [4] [8] Nangoli atuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by’ensimbi, okuteekateeka n’enkulaakulana mu by’enfuna mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu nga kakubirizibwa Dr. Keefa Kiwanuka. [2]

Emirimu emirala

[kyusa | kolera mu edit source]

Nangoli bulijjo abadde alwanyisa obuli bw’enguzi, okukozesa obubi ofiisi n’okubulankanya ssente za gavumenti mu ssaza lya Elgon ey'obukiika kkono. [9] Yasaba abakwatibwako ssente z'emyooga okwongera ku kumanyisa abantu basobole okufuna okumanya okusingawo ku ngeri y’okuziganyulwamu. [10] Yeetaba mu kutongoza okukola oluguudo lwa kaserem-kapchorwa. [11] Nangoli yagenda ku kulambula okw'okulondoola amasomero mu Disitulikiti y’e Bulambuli okukebera embeera gye gaalimu era naakizuula nti amasomero agasinga tegaddaabirizibwa olw’ebbula ly’ensimbi. [12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Endowooza z'ababaka ku kifo kya sipiika". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2022-03-31.
  2. 1 2 3 "Committee on Finance, Planning and Economic Development – Parliament Watch" (in American English). Retrieved 2022-03-31."Committee on Finance, Planning and Economic Development – Parliament Watch". Retrieved 2022-03-31. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. "Muloni, Kitutu disagree over govt appointments in Bugisu". Monitor (in Lungereza). 2021-08-31. Retrieved 2022-03-31.
  4. 1 2 "NRM Dominates Bugisu Region's Parliamentary Polls". ChimpReports (in American English). 2021-01-20. Retrieved 2022-03-31."NRM Dominates Bugisu Region's Parliamentary Polls". ChimpReports. 2021-01-20. Retrieved 2022-03-31. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  5. "Committee on Finance, Planning and Economic Development – Parliament Watch" (in American English). Retrieved 2023-02-08.
  6. "NRM Primaries: 33 MPS go through unopposed". The Independent Uganda (in American English). 2020-09-04. Retrieved 2022-03-31.
  7. "NRM Primaries: List of Winners, Losers in Bugisu Sub Region". ChimpReports (in American English). 2020-09-16. Retrieved 2022-03-31.
  8. "Nangoli Gerald - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-08.
  9. "Bulambuli CAO detained for alleged abuse of office". The Independent Uganda (in American English). 2021-12-09. Retrieved 2022-03-31.
  10. "Legislators, Entrepreneurs Push for More Sensitization on 'Emyooga' Initiative". ChimpReports (in American English). 2022-02-01. Retrieved 2022-03-31.
  11. "Kaserem-Kapchorwa Road to Stimulate Trade in Sebei". ChimpReports (in American English). 2022-01-29. Retrieved 2022-03-31.
  12. "Schools in Bulambuli Yet to Receive Funds for Renovation". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2022-03-31.