Jump to content

Gerald Ssendaula

Bisangiddwa ku Wikipedia
Gerald Ssendawula
Munnabyabufuzi Omunnayuganda eyawummula. Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waGerald Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga15 Gwakutaano(Muzigo) 1943 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, banker, Minisita Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda, Finance Minister of Uganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raUniversity of Nairobi Kyusa Wikidata
GyabeeraMasaka Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)1980 Kyusa Wikidata
EdiiniCatholic Church Kyusa Wikidata

 

Gerald Majera Ssendaula (yazaalibwa 15 Ogwokutaano 1943) Munnayuganda eyawummula ebyobufuzi, era mu kiseera kino akola mu bbanka era mulimi. Yaliko Minisita wa Kabineti era omubaka wa Palamenti, akiikirira eggombolola y'e Kingo, eyafuuka Disitulikiti y’e Lwengo .

Ebyafaayo n’obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssendaula yazaalibwa nga 15 Ogwokutaano 1943 ku kyalo Kyabbogo, mu ggombolola ly’e Kingo, mu Disitulikiti y’e Masaka mu kiseera ekyo, bazadde be ye mugenzi Edward Byansi Kalibbala ne Maria Nakanwagi Nakato. Ye mukulu mu baganda be omunaana; ab’oluganda mukaaga ne bannyina babiri. Mu mwaka gwa 2010, eggombolola ly'e Kingo lyaggyibwa ku Disitulikiti y’e Masaka okutondawo Disitulikiti y’e Lwengo .

Okusoma yakutandikira ku Kyoko Primary School, oluvannyuma n’akyuka n’agenda ku Nkoni Primary School. Yagenda mu maaso n’okusomera ku St. Pius Junior Secondary School. Olw’okuba kitaawe yali tayagala nnyo kusomesa baana, maama wa Ssendaula yasaba sikaala ya Gavumenti ya Buganda okutwala omuvubuka Ssendaula mu ssomero ery’ensaamu kyokka n’ekitasoboka.

Oluvannyuma yasisinkana Aga Ssekalala ow’a Ugachick mu kiseera ekyo yali muyizi wa Siniya eyookuna kyokka ng’amanyi abamu ku bakungu b’Obwakabaka bwa Buganda . Oluvannyuma Aga Ssekalala yayanjula Ssendaula mu kitongole ky’e Mengo, ekyaviirako okuddamu okutandika okusaba kwa sikaala mu 1963. Sikaala eya Shs.905 mu biseera ebyo, yamusobozesa okwegatta ku Namilyango College, gye yasomera okuva ku Siniya esooka okutuuka ku Siniya eyoomukaaga. Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite y’e Nairobi mu 1969 gye yatikkirwa diguli ya Bachelor of Commerce. Mu kiseera ekyo mwalimu Bannayuganda abalala nga 30 ku yunivasite y’e Nairobi, okuli Livingstone Okello Okello (Chua County), Cecilia Ogwal owa FDC (omubaka omukyala owa Dokolo), ne Pulofeesa Mondo Kagonyera.

Oluvannyuma lw’okusoma e Kenya, Ssendaula yaddayo mu bbanka ya Barclays mu Uganda, gye yali akoze ng’omuwandiisi mu luwummula lwe olwa S6. Okutendekebwa kwa Barclays Bank London okwamala emyaka ebiri okwamanyibwa nga ‘Day Release’ kwamuteekateeka okukola omulimu gw’okuddukanya emirimu. Yakolera ku ttabi lya bbanka eno e Kabale nga tannatwalibwa Nairobi okusoma aby’omu kitongole. Oluvannyuma yakomawo mu Uganda n’alinnya ku ddaala lya General Manager mu bbanka ya Barclays. Yeegatta ku byobufuzi mu 1980 n’alondebwa okuba omubaka wa Bukoto mu Disitulikiti y’e Masaka, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1985, ku tikiti y’ekibiina kya Democratic Party, okutuusa mu 1985. Yalondebwa ku bwa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Masaka mu 1988 n’aweereza bw’atyo okutuusa mu 1992. Mu 1992, yalondebwa nga omukiise ku National Resistance Council (Paalamenti y’omu kiseera ekyo), ng'akiikirira Bukoto mu Masaka. Mu kiseera kye kimu yaliko ne Ssentebe w’ekibiina ekigatta abalimi b’e Masaka ki Masaka Growers Cooperative Union.

Obulamu bw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1980 Ssendaula yeegatta ku byobufuzi ng’omuwagizi w’ekibiina kya Democratic Party (DP) ng’avuganya ku kifo ky’omubaka wa Palamenti era n’alondebwaokukiikirira Bukoto Central (kati Bukomansimbi ne Munisipaali y’e Masaka). Nga UPC eri mu buyinza ate nga DP eri ku ludda oluvuganya, Ssendaula ye yali omwogezi w’ekisiikirize mu by’amayumba, ate Evaristo Nyanzi n’abeera ku by’ensimbi.

Mu 1982, mukyala wa Ssendula, Rosemary Nanyonga Nalongo yakubwa amasasi mu dduuka lyabwe ery’emmere e Mpererwe, mayiro 5 ku lw’e Gayaza, okwolekera amaka gaabwe. Zaali ssaawa 2 ez'ekiro era Ssendaula yali Masaka ng'akolera ku ffaamu ya kitaawe eya kkaawa e Kinoni. Omusango gwa mukyala we kirabika kwali kuggulawo dduuka lye nga Minisita Samwiri Mugwisa ayogerako mu lukungaana e Kawempe, kyokka ng’ayogera ku bikolwa by’abayeekera mu ggwanga.

Muky. Ssendaula yagezaako okuwakanya abaserikale abaali bamulubye nti olukungaana olwali lukubiddwa e Kawempe lwali wala ne Mpererwe edduuka lye weliri. Tebaamuwuliriza, baamukubirawo amasasi. Oluvannyuma lw'ebirowoozo by'okuttibwa kwa mukyala we, Ssendaula yava mu maka ge e Mpererwe ne yeegatta ku ggye lya National Resistance Army abayeekera bwe baatandika okuwamba mu 1984. Yali Commander Victor Bwana, eyamusikiriza okwegatta ku magye ga Museveni era yasunguwalira gavumenti ya UPC okuziyiza okukemebwa.

Ssendaula yayamba abayeekera okutunda emmwanyi n’amaliba ebweru w'eggwanga basobole okufunamu ensimbi kubanga yali omu ku baddukanya ekibiina ky’obwegassi ekya Masaka Cooperative Union ekyali kigudde. Mu kiseera ekyo mu 1984, aba NRA baali bataddewo gavumenti mu kitundu ekyawambibwa ku luguudo lwa Kampala – Masaka lwali lusaliddwako abayeekera, ng’ekitebe kyabwe kiri Fort Portal. Ssendaula yaweereza mu ‘gavumenti’ eno nga kaminsona, eyenkanankana ne minisita.

NRA bwe yawamba obuyinza, yakolerako ku ggwandiisizo lya National Resistance Movement (NRM), nga bwebamaliriza emirimu gy'obuyeekera nga batunda ebyamaguzi byabwe ebweru w'eggwanga kubanga waaliwo gavumenti egenda okuzilabirira. Mu 1987, yagenda e Masaka, n’avuganya n’alondebwa ku bwa ssentebe bwa disitulikiti, nga ssentebe waayo eyasooka wansi wa NRM. Oluvannyuma yeegatta ku lukiiko lw’ababaka ba Palamenti olwa National Resistance Council (NRC) olwagaziyizibwa mu 1989 ng’omubaka wa Bukoto.

Mu 1990, Pulezidenti Museveni yalonda Ssendaula nga minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi n’obwegassi wansi wa Richard Kaijuka, omukozi wa bbanka omulala. Mu 1996, yakuzibwa n’afuulibwa minisita omujjuvu ow’ebyobugagga eby’omu ttaka.[1] Ku ntandikwa ya 1998, Ssendaula yafuuka Minisita w’ebyensimbi, enteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna, ekifo kye yalimu okutuusa lwe yawummula mu 2005.

Yeegatta ku byobufuzi ng’akiikirira ekibiina kya Democratic Party gye yali omubaka wa Palamenti mu kitundu kya Bukoto mu kiseera ekyo ekyali kisinga obunene mu Uganda okuva mu 1980–1985 ekyayawulwamu, Bukoto Central, Bukoto South, Bukoto Mid West oluvannyuma n’asigala ng’omubaka wa Bukoto South mu Disitulikiti y’e Masaka mu kiseera ekyo.

Yalondeddwa ku tikiti y’ekibiina kya Democratic Party nakyusa n’adda mu mugendo gwa NRM – Movement. Yagenda mu maaso nafuuka Minisita wa Kabineti mu Gavumenti ya Museveni, nga Minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi n’obwegassi, Minisitule ey'akyusibwa n’etuumibwa Minisitule y’ebyobusuubuzi n’amakolero okuva mu 1991–1996. Yafuuka Minisita omujjuvu nga Minisita w’ebyobugagga eby’omu ttaka n’obutonde bw’ensi okuva mu 1996–1998, gye yakyusibwa n’atwalibwa mu Minisitule y’ebyensimbi, enteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna[2] gy'eyakulembera okuva 1998–2005, lwe yawummula ebyobufuzi.

Okuva mu Gwokubiri 2015, yali mulimi omujjuvu ng'abeera mu Masaka. Era muwi w'amagezi eri Pulezidenti Museveni ku nsonga z'ebyensimbi. Akola ng'omuwi w'amagezi mu Banka y'Ensi yonna. Yali ssentebe wa Uganda Revenue Authority, ssentebe wa Board of Directors Tropical Bank, omukulembeze wa Umeme Ltd[3] ne NUCAFE.[4] Yawasa Grace Tereza Nabatanzi Ssendawula, muwala wa Paul Kawanga Ssemogerere, munnabyabufuzi w'ekibiina kya Democratic Party. Yafa mu 2011[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Mobbs, Philip. "The Mineral Industry of Uganda" (PDF). Minerals.usgs.gov. Retrieved 7 February 2015.
  2. ↑ Muhairwe, William T. (2009). Making Public Enterprises Work: From Despair to Promise – A Turn Around Account. London: International Water Association. p. 278. ISBN 978-1-84339-324-5.
  3. ↑ "Ex-finance minister Ssendaula defends NSSF-Umeme deal".
  4. ↑ Muneza, Stephen (3 December 2015). "Uganda Coffee Wins Africa Award". Retrieved 7 February 2015.
  5. ↑ "Grace Teresa Nabatanzi Ssendaula:26 May 1963 – 8 May 2011". Miller Funeral Services & Cremation Society of Texas, Houston Texas, United States (MFS&CST). 2011. Retrieved 7 February 2015.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]