Jump to content

Gershom Sizomu

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Capt. Jon Cutler, a chaplain and the religious affairs director for Combined Joint Task Force – Horn of Africa, walks with Rabbi Gershom Sizomu at the Moses Synagogue, Abayudaya
Capt. Jon Cutler, omusosodooti era dayirekita w’ensonga z’eddiini mu kibiina kya Combined Joint Task Force – Horn of Africa, atambula ne Rabbi Gershom Sizomu mu kkuŋŋaaniromu ly'Abayudaaya erya Moses Synagogue,

Gershom Sizomu (yazaalibwa 1969) ye Munayuganda Omurabbi aweereza Abayudaya, mu kitundu ky'Abaganda mu Buvanjuba bwa Uganda okumpi n'ekibuga Mbale abasinza mu nzikiriza y'Ekiyudaaya . Sizomu ye Rabbi omuddugavu eyasooka okuzaalibwa enzaalwa mu mawanga ga Sub-Saharan Africa . [1] Era yali akulira abantu b'enzikiriza y'ekiyudaaya (Chief Rabbi)eyasooka mu Uganda. [2] Sizomu yali mubaka mu Paalamenti ya Uganda .

Sizomu yazaalibwa mu Famire y'Abayudaya, era jjajjaawe ye yali omukulembeze w’ekitundu. [3] Abayudaya bayigganyizibwa mu myaka gy’obukulembeze bwa Idi Amin, mu kaseera bwe kyali ekimenya amateeka okusinziza mu lwatu enzikiriza y’Abayudaaya mu Uganda. Mu buto bwe, taata wa Sizomu yakwatibwa olw’okuzimba sukkah ng’ekimu ku mikolo egikolebwa okujjaguza ebikujjuko by'Abayudaaya ebya Sukkot . Kitaawe yayimbuddwa aba famire ya Sizomu bwe baasasula omuserikale eyamukwata ebbanja lya mbuzi ttaano. [4] Mu mwaka gwa 1979, oluvannyuma lw’okusuula gavumenti ya Amin, eddembe ly’eddiini lyazzibwawo mu Uganda, era famire ya Sizomu yajaguza bwe yakyaza abantu 200 mu kusaba okw'okuyita mu kiro okwa Passover Seder ekyalimu matzoh ne macco omubisi ogusogolebwa mu matooke Uganda nga gulimu omwenge ebitundu 80 ku 100. [3]

Abayudaya baali tebamanyikiddwa gavumenti ya Yisirayiri ng'eya Bayudaaya kubanga abantu baali tebannakyuka kudda mu diini ya Bayudaaya mu butongole. Mu 2003, Sizomu yasaba Yisirayiri okukkiriza Abayudaya bwe yayita Abarabbi bana okuva mu Amerika okukola omukolo gw’okukyusa Abayudaaya 300, kye baakola mu 2003, mu mukolo ogwalimu ekibuuzo, ‘Lwaki oyagala kubeera Omuyudaaya?’, Abayudaya kye baddamu nti: “Nnazaalibwa nga Muyudaaya era nga nandyagadde okusigala ng'Omuyudaaya". Abalala baagaana okubeera ekitundu ku bino nga bagamba nti: "Twafuuka dda Abayudaaya." Sizomu yeeyanjudde mu lwatu nti Mulwanirizi w'eddembe ly'Abayudaaya era lumu mu mboozi ey'akafubo yagamba nti: "Singa ensi y'Abawalabu yalangirira olutalo ku Yisirayiri, twandirwana okufiirawo okugikuuma." [5]

Sizomu yafuna diguli mu by'enjigiriza okuva mu Islamic University mu Uganda . Nga Be’chol Lashon Rabbinic Fellow mu ttendekero ly'Abayudaaya erya Jewish & Community Research, yajja mu Amerika okutuuka mu 2003 okusoma mu pulogulaamu ya diguli ey’emyaka etaano mu Ziegler School of Rabbinic Studies mu American Jewish University e Los Angeles . [6] Yatikkirwa mu 2008 era n'atuuzibwa ku bwa Rabbi wansi w'obukulembeze bw'eddiini y'Ekiyudaaya eya Conservative . [7] [8]

Emirimu gye yakola nga Rabbi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwomusanvu 2008, Sizomu yakomawo mu Uganda n’akola omukolo gw’okukyusa abantu 250 ku kyalo Nabogoya, nga bonna abakyusibwa baali bava ku bifo okwetoloola mu Uganda yonna n’okuva e Kenya, Nigeria ne South Africa . Ku mukolo guno, Sizomu yakkaatirizza obusobozi bw'enzikiriza y'Abayudaaya eri Abafirika ab'omu Bukiikaddyo bwa Sahara bwe yategeezezza nti, "Enkolagana wakati wa Katonda n'Abayudaaya mu Torah elimu abantu abajuzibwa omwoyo bangi. Kikulu nnyo eri Abafirika n'abalala okumanya nti basobola okulonda eddiini y'Ekiyudaaya ng'ekkubo ery'omwoyo era nti tubaggule gye bali." [1]

Emirimu gye egy’obyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Rabbi Sizomu yali yeesimbyewo okukiikirira Disitulikiti ya Uganda eya Bungokho ey'Obukiikakkono mu Paalamenti mu kalulu ka 2011, okwaliwo nga 18 Ogwokubiri 2011. [9] Yawangulwa mu kalulu ako kyokka n’addamu okwesimbawo mu 2016 era n’alondebwa mu Paalamenti mu kuvuganya. [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://www.jpost.com/Jewish-World/Jewish-News/Over-250-Africans-convert-to-Judaism-in-Uganda
  2. https://www.jpost.com/magazine/features/a-new-african-chief
  3. 1 2 https://thecjn.ca/news/evening-rabbi-gershom-sizomu/
  4. https://jewishjournal.com/community/9204/
  5. https://www.theguardian.com/world/2004/mar/07/religion.israel
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2008-11-21. Retrieved 2025-08-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://religionnews.com/2016/09/15/in-uganda-a-new-synagogue-for-a-remote-group-of-jews/
  8. https://web.archive.org/web/20081011231518/http://www.ajula.edu/Content/ContentUnit.asp?CID=1713&u=7296&t=0
  9. https://www.jpost.com/jewish-world/jewish-news/uganda-rabbi-says-defeat-in-election-not-kosher
  10. https://web.archive.org/web/20160225092843/http://forward.com/news/333986/uganda-rabbi-wins-opposition-seat-in-parliament-as-authoritarian-leader-cli/