Ggulu
Ggulu kivvuunulwa ggulu mu lulimi Olubantu Luganda .
Olugero
[kyusa | kolera mu edit source]Mu lugero, bawala ba Ggulu babiri bazuula Kintu, omuntu ey'asooka ku nsi okusinzira ku nfumo z'Abaganda. Kintu bw'agaana okugoberera abawala mu ggulu, bategeeza Ggulu n'agambirawo mutabani we okubba ente ya Kintu mweyali ajja ekyokulya. Kintu bwaleetebwa mu ggulu, Ggulu amugezesa nga amulagira okuya essowani z'emmere mutwalo okukakasa nti musajja. Kintu asuula emmere eno mu mpuku mu nkukutu era Ggulu naddamu n'amugesa. Kintu bwayita mu kugezesabwa okw'okubiri okw'okusala amayinja nga akozesa embazzi ey'obufuusa ey'ekikomo, Ggulu alagira Kintu okumukimira ekibbo ky'omusulo ogw'okunsiko anyweko. Kintu yasobola okikola kubanga ekibbo kirina amaanyi g'obufuusa. Ggulu olwo agezesa Kintu omulundi gumu ogusembayo ng'alunda ebisibo bisatu eby'ente mutwalo mu maaso ge. Omulimu gwa Kintu kwe kweddiza ente ye era ekisibo ekyokusatu bwekisibwawo, ennumba eyobufuusa emuyamba okwawula ente ye n'ennyana bbiri ezaazaalibwa ng'ali mu buwambe
Nga ayise mu kugezesebwa kwonna okwa Ggulu, Ggulu awa Kintu muwala we Nambi, amutwale ku nsi. Era abawa ebimera by'enva endiirwa ebingi, enkoko n'obumu kubulo.Abalabula okwanguwa okudda kunsi okwewala okufaayo kwa Walumbe (kitegeeza "obulwadde oba okufa"), muganda wa Nambi. Abagamba obutadda olw'ekintu kyonna, naye Kintu weyerabira obulo bw'enkoko ye akomawo okubukima. Walumbe ategeera embeera era neyeyoleka Kintu ne Nambi. Oluvanyuma lw'okuteesa ennyo, Kintu ne Nambi bakkiriza Walumbe okubeera nabo ku nsi okumala akaseera. Walumbe watandika okutta abaana ku nsi, Kintu akomawo ewa Ggulu. Ggulu asindika mutabani we Kayikuuzi, okuyambako mu kuzza Walumbe mu ggulu. Lwaddaaki, abantu bayonoona enteekateeka ya Kayikuuzi ey'okuwamba Walumbe awo naddayo mu ggulu era Ggulu n'akiriza Walumbe okusigala ku nsi.