Gideon Byamugisha

Reverend Canon Gideon Byamugisha (yazaalibwa mu 1959) Musumba mu Kkanisa y'ab'Angirikaani mu Uganda mu busumba obuli ebweru wa Kampala. Mu 1992, yafuuka munnaddiini eyasooka mu Afirika okulangirira mu lujjudde nti alina akawuka ka siriimu.[1][2] Mu 2009, Byamugisha yafuna ekirabo kya Niwano Peace Prize eky'omulundi ogwa 26 "ng'asiima omulimu gwe yakola okukuuma ekitiibwa n'eddembe ly'obuntu ly'abantu abalina akawuka ka siriimu".[3]
Byamugisha yali omu ku baatandikawo ekibiina kya African Network of Religious Leaders Living with and Personally Affected HIV and Aids ( ANERELA+ ) mu Gwokubiri 2002,[1] era mu 2006 yatandikawo ekifo eky’okulabirira bamulekwa abazadde baabwe abaafa mukenenya.[4] Abeera ne mukyala we n’abaana basatu abatalina siriimu.[4]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Byamugisha ava Kigezi, okumpi n’ensalo ya Uganda ne Rwanda, mukulu mu baana kkumi na bana. Yali musomesa wa byafaayo n’e geography, wamu n’omumyuka w’omukulu w’essomero, nga tannatandika misomo gye egy’eby’eddiini mu myaka gye egy’amakumi abiri. Yasinga kwagala bufirosoofo bwa ddiini.
Mu 1990, mukyala wa Byamugisha eyasooka Kellen yazaala muwala we Patience, era abazadde bombi baali bakkiriziddwa okusoma mu pulogulaamu za diguli mu Bungereza. Enteekateeka zino zakyuka Kellen bwe yafuna obulumi mu kifuba mu Gwokuna 1991, n’afa oluvannyuma lwa wiiki emu. Nga wayise emyezi mukaaga, Byamugisha yakitegeera nti mukyala we yali afudde mukenenya.[4]
Byamugisha tamanyi gye yakwatibwa akawuka kano. Ye ne mukyala we tebaakeberebwa nga tebannafumbiriganwa, era mu 1988 yafuna akabenje ak’amaanyi ku kagaali ekyali kyetaagasa okumukuba empiso n’okuteekebwamu omusaayi mu kiseera ng’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi n’omusaayi tebikeberebwa bulijjo oba birina siriimu oba nedda.[4]
Obulamu bwe n'akawuka
[kyusa | kolera mu edit source]Wadde nga waaliwo okusobola okufiirwa omulimu olw’okuvumwavumwa okwekuusa ku mukenenya, Byamugisha yasalawo okubuulira omukulu w’ettendekero kwe yali akolera n’abakozi abalala embeera gy’alimu. Wadde nga baali bamuwagira, baamusaba aleme kubuulira balala. Yatandika okubuulira abayizi be, n’oluvannyuma abantu abalala mu kkanisa ye. Kino akitwala ng’ekyali eky’akabi, kubanga abantu b’omu kitundu baali batera okweraliikirira nti kino kyali kiyinza okukosa ekifaananyi ky’ekkanisa.[4]
Byamugisha agamba nti teyeesalirako musango olw'embeera ye. "Okwejjusa kyokka kwenina kwe kuba nti saalina kumanya. Nnina obuyigirize buno bwonna-diguli bbiri, emu eya kiraasi esooka-naye nnalemererwa okukeberebwa akawuka ka siriimu." Wabula mu 1996 yalwala n’afiirwa pawundi 40 kubanga yali tasobola kufuna ddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu (ARVs). Bwe yategeezebwa nti agenda kuwangaala emyezi 6 gyokka nga talina ARVs, omulabirizi wa Kampala ng'ayita mu mikutu gw’ekkanisa yafuna abagabi b’obuyambi babiri (Omumerika n’Omu Singapore) abaatandika okumuweereza eddagala lino mu 1997.[4]
ANERELA+
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe yatandika okutambula n’okwogera ku mbeera gy’alimu, Byamugisha yatandika okusisinkana bannaddiini abalala abaali balina akawuka ka siriimu, oba nga bakoseddwa kinnoomu olw’okufa n’okulwala kw'ab’omu maka gaabwe, kyokka nga si beetegefu kwogera ku mbeera zaabwe mu lujjudde. Mu kiseera ekyo, waaliwo amawulire amakyamu mangi agakwata ku mukenenya ne siriimu mu Afirika, era olw’ebisuubizo n’ebiragiro okuva mu bibiina by’Abakristaayo, Abasiraamu n’Abahindu ku lukalu lwa Afirika, okubeera n’omukulembeze w’eddiini eyakwatibwa mukenenya oba n’okukosebwa mu buntu kyali tekiyinza kulowoozebwako.[4]
Mu 1998, Byamugisha yatandika okuwulira obwetaavu bw’okutandika ekibiina ky’abannaddiini nga balina akakwate ku siriimu. Mu 2002, yafuna ssente okutegeka olukiiko lw’abakulembeze b’eddiini abaali bajja gy’ali mu kyama emabega, era abakulembeze 42 ne bamusisinkana mu wooteeri ya Collins, mu Nyanga Hills, nga 300km ebweru wa Harare . Munaana ku beetaba mu lukiiko luno baali balina akawuka ka siriimu, era oluvannyuma ekibinja kino kyafuuka ekibiina kya African Network of Religious Leaders Living with and Personally Affected HIV and Aids (ANERELA+ ),[4] era ne kikula ne kituuka ku bammemba abasoba mu 2000 mu nsi 39 ku nkomerero ya 2006.[1]
Enkola endala ez’okulwanirira abalina akawuka
[kyusa | kolera mu edit source]Byamugisha afuuse wa ttutumu mu nsi yonna mu kibiina ky'abantu abalina siriimu. Yakolako nga omuwabuzi wa World Vision era atambudde mu nsi yonna okwogera ku siriimu,[5] omuli n’olukuŋŋaana olwatuula mu White House ya Amerika mu Gwekkumineebiri 2002.[4] Byamugisha awagira endowooza nti ensonga ezikwata ku siriimu ziraga ebizibu mu bitundu ebirala mu bantu, gamba ng’obwavu, emiwendo gy’abasomyeko, obutalibwenkanya mu bantu, enkolagana y’ekikula ky’abantu, eby’obusuubuzi, n’enkola ya gavumenti. Okutereeza ensonga zino, agamba nti kijja kubaako kinene kye kikola ku kirwadde kya mukenenya mu Afirika.[4]
Ensonga enkulu Byamugisha z’alaba mu bibiina by’abazirakisa mulimu okunywerera ku nkola ezikwatagana n’enteekateeka z’omunda mu bitongole ebigaba obuyambi okusinga okukkiriza ebituufu ebiri mu bantu mu Afrika. Nga Eklezia Katolika n’ebibiina by’eddiini ebirala byali bitaddemu amanyi matono okwogera ku nkozesa ya kondomu n’okusomesa ku mukenenya mu Afirika, ebibiina nga President’s Emergency Plan for AIDS Relief (PEPFAR), ekitongole ekisinga okugaba obuyambi mu Uganda, kyagenda mu maaso n’okukkaatiriza okusomesa abavubuka ku by’okwewala oba okulwawo okwegatta, n’okusomesa abantu ku bwesigwa oba okukendeeza ku baagalana eri abantu abakulu abasinga obungi, ensonga bbiri Byamugisha zabadde avumirira nga "okunyooma" eri abo abatasobola oba abatagenda kwewala oba okuba abeesigwa eri omubeezi omu. Ono era avumiridde PEPFAR okukozesa eddagala lya siriimu eritali lya bulijjo. Mu mwaka ogwasooka ogw’okukola, PEPFAR yakkaatirizza nti eddagala lya siriimu erya eritali lya bulijjo lyokka lye lirina okukozesebwa, wadde nga lya bbeeyi emirundi etaano okusinga ery'abulijjo, era, Byamugisha bwe yalaze nti, lisobola okukozesebwa okujjanjaba abantu abatono emirundi etaano gyokka. Byamugisha yanenya enteekateeka z’obwannannyini ez’amakolero g’eddagala mu Amerika n’abakulembeze b’enjiri abakulembeze b’enjiri mu Amerika olw’enkola ng’ezo ezitakwatagana na nsonga za Aifrika.[4]
Byamugisha era mu 2003 yakolagana n'omukubi w'ebifaananyi Gideon Mendel[6][7] ku kitabo A Broken Landscape: HIV & AIDS in Africa.[8]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Byamugisha abeera ne mukyala we Pamela alina akawuka ka siriimu (addukanya edduuka ly'ebizimbisibwa), ng’alina muwala we omu atalina siriimu okuva mu bufumbo bwe obw’emabega, Patience, n'abawala babiri abatalina siriimu, Love and Gift, be yazaala ne Pamela. Abaagalana bano baasalawo okuzaala Love ne Gift oluvannyuma lw’eddagala eritangira okusiigibwa akawuka okuva ku maama okutuuka ku mwana okutandika okubaawo mu 2000.[4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- 28: Emboozi za mukenenya mu Afrika – Ekitabo ekirimu emboozi ya Byamugisha
- Siriimu mu Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 HIV-positive religious leaders break their silence. Mg.co.za (17 March 2008). Retrieved on 26 November 2012.
- ↑ Canon Gideon Byamugisha Template:Webarchive – ICMDA Worldwide.
- ↑ Why the 26th Niwano Peace Prize is being awarded to The Reverend Canon Gideon Baguma Byamugisha. – Dr. Gunnar Stålsett, Chairman, Niwano Peace Prize Committee
- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 Nolen, Stephanie (2007). 28 Stories of AIDS in Africa (First U.S. ed.). New York: Walker & Company. ISBN 9780802715982.
- ↑ An openly HIV positive Anglican priest visiting Australia to speak against the stigma of AIDS in Africa. Abc.net.au (16 July 2006). Retrieved on 26 November 2012.
- ↑ Mendel's personal homepage. Gideonmendel.com. Retrieved on 26 November 2012.
- ↑ Gideon Mendel Profile – Guardian UK.
- ↑ A Broken Landscape (Book Review) – Highbeam (1 July 2003).