Gift Fred
Gift Fred (yazaalibwa 21 Ogw'omusanvu 1998) muzannyi wa mupiira wa Uganda ow'ekikugu era azannyira mu kiraabu ya Ethiopia eya Premier League Saint George ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda.[1]
Emirimu mu kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu August wa 2021, Gift yakola endagaano ya myaka esatu ne kiraabu ya Uganda Premier League SC Villa . Nga tannagula Villa, yazannyirako ttiimu ya Booma FC mu kibinja eky’okusatu. Yakola nga kapiteeni wa SC Villa mu sizoni ya 2022/2023.
Mu August wa 2023, Gift Fred yeegatta ku Young Africans ku bwereere okuva mu SC Villa n’akola endagaano ya myaka esatu.[2][3]
Mu Ogw'omwenda 2024 yasazaamu endagaano ye mu butongole n’agenda mu Saint George ku kontulakiti ya myaka ebiri.[4]
Emirimu mu nsi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Ogw'ekkumin'ebiri 2022, omutendesi Milutin Sedrojevic yamuyita mu ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ( The Uganda Cranes ) mu mpaka za African Nations Championship eza 2022 ezaali mu Algeria.[5] Yasooka kuzannya mu mupiira ogw'omukwano wakati wa Uganda ne Mali ogwaggweera mu maliri 0-0 e Tunisia.[6][7] Yasooka mu butongole mu mpaka za African Nations Championship eza 2022 Uganda bwe yali ekuba amaliri ne Democratic Republic of Congo nga 14 January 2023 mu kisaawe kya Annaba mu Algeria.[8]
Ebibalo by’emirimu gy’ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]| Ttiimu y'eggwanga lya Uganda | ||
|---|---|---|
| Omwaka | Apps | Goolo |
| 2023. 2023 | 5. 5. | 0. |
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "int.soccerway.com/players/fred-gift/887337/". int.soccerway.com. Retrieved 19 January 2023.
- ↑ "Villa announce defender Gift Fred as 4th signing". Sports Ocean Uganda. 16 August 2021. Archived from the original on 19 January 2023. Retrieved 19 January 2023.
- ↑ "Transfers: Fred Gift Joins Sports Club Villa". ChimpReports. 16 August 2021. Retrieved 19 January 2023.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Saint_George_SC
- ↑ "CHAN 2022: Micho names Uganda Cranes provisional squad". sports.mtn.co.ug. 20 December 2022. Retrieved 19 January 2023.
- ↑ "Uganda Cranes CHAN Squad: No Kayiwa, Yunus, Senkatuka - Live from ground". the-sportsnation.com. 20 December 2022. Archived from the original on 19 January 2023. Retrieved 19 January 2023.
- ↑ "Uganda Cranes final squad for CHAN 2022". fufa.co.ug. 9 January 2023. Retrieved 19 January 2023.
- ↑ "Fred Gift, Latest News & Player Profile". Goal.com. Retrieved 19 January 2023.
Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Gift Fred at National-Football-Teams.com
- "Fred Gift (Villa) - Career Stats". Flashscore.com. Retrieved 19 January 2023.
- "CHAN 2022: Micho in a pickle as Uganda Cranes face Senegal". kawowo.com. 18 January 2023. Retrieved 19 January 2023.