Giles Muhame
Giles Muhame munnamawulire omunnayuganda, musunsuzi w'amawulire eyakola amawulire g’ensi yonna mu mwaka gwa 2010 n'ogwa 2011 olw’okufuba okufulumya ebisiyaga. [1] [2] Y'omu ku baatandikawo kkampuni ya Chimpreports; olupapula lw’amawulire olufulumira mu Kampala mu Uganda buli lunaku. [3]
Obulamu obwasooka n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Muhame yazaalibwa mu mwaka gwa 1988, mu Disitulikiti y’e Ibanda mu maserengeta ga Uganda. [4] Alina diguli esooka mu by'amawulire n'empuliziganya okuva mu yunivasite e Makerere . [1]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gwomunaana gw'omwaka gwa 2010, yatandikawo olupapula lw’amawulire olwa Tabloid Rolling Stone, Mu mwaka gwa 2014, yatandikawo Chimpreports omukutu gw’amawulire ku yintaneeti ogusangibwa mu Uganda. [5] [6] [7] [8] Mmemba ku kakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa ku tekinologiya ow’okuna mu nkyukakyuka mu makolero. [9] [10] [11]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Muhame alina by’ayagala mu by’amawulire, musuubuzi omuyiiya ku yintaneeti, okulima n’okutunda ettaka n’amayumba. [12] [13] Yayogera ku Julian Assange ne Bob Woodward ng’ekyokulabirako kye. Akola nga pulezidenti w'ekibiina ekigatta abafulumya emikutu gy'amawulire ku yintaneeti ekya Uganda Online Media Publishers Association okuva mu mwaka gwa 2016. [14] [15]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Social Media Conference" (PDF). Kas.de. 19 July 2016. Retrieved 8 November 2021.
- ↑ "Ugandan editor willing to "go to jail" to out gays | gaelick". Archived from the original on 13 January 2011. Retrieved 25 July 2021.
- ↑ "About Us". Chimpreports.com. 23 July 2014. Archived from the original on 14 November 2021. Retrieved 27 September 2025.
- ↑ "Biography of Giles Muhame". Biographies.top. Retrieved 8 November 2021.
- ↑ "UNTOLD STORY: How URA's Akol Hunted Shs 6bn Oil Cash Treasure". Chimpreports.com. 5 January 2017.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs namedAtlantic - ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs namedGuard - ↑ "Generals Lakara, Kabango: Fighting an Elusive, Wealthy Enemy In Somalia". Chimpreports.com. 2 October 2019.
- ↑ "Rolling Stone Managing Editor: "The Agents of the Devil will be Defeated."". Africanactivist.org. 4 January 2011. Retrieved 13 May 2011.
- ↑ David McKenzie (27 October 2010). "Ugandan anti-gay measure will be law soon, lawmaker says". CNN.com. Archived from the original on 4 November 2010. Retrieved 11 May 2011.
- ↑ "Uganda's Rolling Stone paper told to stop outing gays". BBC News. 1 November 2010. Retrieved 11 May 2011.
- ↑ "A love brewed in bars". Daily Monitor. 4 January 2021.
- ↑ "Giles Legally Views Agnes' Eclipse". Redpepper.co.ug. 18 May 2015.
- ↑ "Uganda Online Media Publishers elect leaders". 31 October 2016.
- ↑ Adongo, Francisco (31 October 2016). "Online publishers elect executive". Eagle.co.ug.