Jump to content

Glory Emmanuel Edet

Bisangiddwa ku Wikipedia
Glory Emmanuel Edet
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeNigeria Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza, Nigerian Pidgin Kyusa Wikidata
Writing languageLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raUniversity of Uyo Kyusa Wikidata
GyabeeraAkwa ibom state Kyusa Wikidata
Enfaanana y'enviirinzirugavu Kyusa Wikidata
Personal pronounL484 Kyusa Wikidata

Glory Emmanuel Edet listenⓘ muwala wa Kabaka era mulwanirizi w'eddembe ly'abakyala n'abaana. Ye minisita w'ensonga z'abakyala n'obulungi bw'abantu mu ssaza ly'e Akwa Ibom emirundi ebiri.[1]Yalondebwa omulundi ogusooka mu 2013, era n'alondebwa mu kifo kye kimu mu 2015 nga Udom Gabriel Emmanuel. Mu 2015, yatandikawo enteekateeka y'okutumbula abannamwandu nga mu bano mwalimu abantu okuva mu buli disitulikiti 31 ez'essaza. Enteekateeka eno yawa abannamwandu ssente okutandikawo bizinensi zaabwe. Mu kuyamba abaana abatalina mwasirizi mu ssaza ly'e Akwa-Ibom, Glory Emmanuel Edet akolaganye ne United States Agency for International Development (USAID) ne Association for Reproductive and Family Health (ARFH).[2]

Mukugu mu kukungaanya abakyala, era akoze n'obunyiikivu ku nsonga z'ekikula ky'abantu, abatalina mwasirizi n'abo abali mu bwetaavu. Yaweerezaako ng'omusomesa mu kitongole kya Agricultural Economics and Extension, mu yunivasite y'e Uyo, nga tannalondebwa gavumenti y'eggwanga okuba omukungu. Dr Glory Edet mmemba mu bibiina by'ekikugu eby'enjawulo.[3]

Obulamu bwe obw'omu buto n'omulimu gwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Glory mukugu mu by'eddembe ly'abakyala n'abaana mu Nigeria.[1]Yalondebwa emirundi ebiri nga minisita w'ensonga z'abakyala n'obulungi bw'abantu mu ssaza ly'e Akwa Ibom.[4]

Ng'omuntu eyeetengeredde, Dr. Edet yasalibwawo ng'omuyizi eyasinga okutikkirwa mu Ssetendekero wa Uyo, mu kitongole ky'ebyobulimi, mu kiseera ky'okusoma kwe okw'okufuna diguli esooka.

Oluvannyuma lw'okufuna diguli esooka mu 2003, Edet yeeyongerayo ku Ssetendekero wa Ibadan, gye yafunira M.Sc mu byobulimi n'obulunzi ne Doctor of Philosophy (Ph.D) mu by'obugagga n'ebyobutonde, okuva mu Ssetendekero wa Michael Okpara University of Agriculture, Umudike, Abia State.[3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "We have transformed prostitutes into entrepreneurs". The Guardian. Lagos, Nigeria. 11 June 2016. Retrieved 23 February 2022.
  2. ↑ "Betta Edu commissions University of Calabar Holding Bay/Isolation Center". Vanguard. Lagos, Nigeria. 17 March 2021. Retrieved 23 February 2022.
  3. 1 2 "Dr Glory Edet - Akwa Ibom State Government". Akwa Ibom State Government. Archived from the original on 2 July 2019. Retrieved 22 May 2018.
  4. ↑ "Her Excellency Martha Emmanuel And Dr Glory Edet: Synergy That Is Changing The Face Of Women And Social Welfare In Akwa Ibom State". The Nigerian Voice. Retrieved 16 July 2016.