Jump to content

Godfrey Kabbyanga

Bisangiddwa ku Wikipedia
Godfrey Kabbyanga
Munnabyabufuzi Munnayuganda Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga5 Gwakutaano(Muzigo) 1974 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waKisinga Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, Omubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda, Minister of State for National Guidance, mayor, Minister of State for National Guidance Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raKisinga Primary School, Saad Memorial Secondary School, Kasese High School, Uganda Martyrs University, Uganda Management Institute, Law Development Centre Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa Wikidata

Godfrey Kabbyanga Baluku (yazaalibwa 5 Ogwokutaano 1974) munnayuganda, munnabyabufuzi era mu kiseera kino akola nga Minisita omubeezi ow'okulungamya eggwanga mu kabineti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo kino nga 8 Ogwomukaaga 2021. [1]

Nga tannalondebwa mu kabineti, Kabbyanga yali mukulembeze wa gavumenti ez’ebitundu omututumufu, yawereza ebisanja bibiri eby’omuddiring’anwa nga Meeya wa Munisipaali y’e Kasese okuva mu 2011 okutuuka mu 2021. [2] Mmemba w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM).

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Godfrey Kabbyanga Baluku yazaalibwa nga 5 Ogwokutaano 1974 mu ssaza ly’e Kisinga mu Disitulikiti y’e Kasese, mu maka g'omwami no'mukyala Modesto Kabbyanga. Yasomera mu Kisinga Primary School, Saadi Memorial Secondary School, n'oluvannyuma Kasese High School okusoma siniya.

Yasomera ku Uganda Martyrs University, gye yatikkirwa diguli mu demokulasiya n’enkulaakulana. Ono era alina Dipulooma mu kuddukanya abakozi okuva mu Uganda Management Institute (UMI) ne Dipuloma mu mateeka okuva mu Law Development Centre (LDC) mu Kampala. [2]

Emirimu egyasooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga tannayingira byabufuzi, Kabbyanga yakola emirimu gy'okuddukanya egy’enjawulo n’okussa essira ku bantu. Yakola nga Community Development Officer mu Kasese Local Government era oluvannyuma n’akola nga Program Officer wa Catholic Relief Services. [2] Era yalina ekiseera nga General Manager wa Radio Maria ey'Obulabirizi bw’Abakatuliki e Kasese.

Meeya wa Munisipaali y’e Kasese (2011–2021)

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2011, Kabbyanga yalondebwa ku bwa Meeya wa Munisipaali y’e Kasese ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Yaddamu okulondebwa mu kisanja ekyokubiri eky’emyaka etaano mu 2016, n’awangula eyali omuvuganya okuva mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), ekibadde n’obuwagizi obw’amaanyi mu disitulikiti eno okuva edda. [3]

Mu myaka kkumi gye yamala nga meeya, obuwereeza bwe bwassa essira ku nkulaakulana omuli okukola enguudo, okukendeeza ku mataba, n’okutumbula empeereza ya munisipaali. [2] Ebbanga lye era lyalimu okusoomoozebwa okw’okuddukanya embeera y’ebyobufuzi e Kasese naddala oluvannyuma lw’okulwanagana okwaliwo mu 2016 e Kasese wakati w’abebyokwerinda by’eggwanga lya Uganda n’abakuumi b’Obwakabaka bwa Rwenzururu.[4]

Mu 2020, Kabbyanga yalangirira nti tagenda kuddamu kwesimbawo mu kisanja kyakusatu ku bwameeya. Mu kifo kyekyo yavuganya mu kamyufu ka k'ekibiina kya NRM ku kifo kya paalamenti ye Munisipaali y’e Kasese kyokka natawangula.[5]

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulungamya eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Wadde teyawangula mu kamyufu ka NRM, Pulezidenti Yoweri Museveni yalonda Kabbyanga ku kabineti ye oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2021. Nga 8 Ogwomukaaga 2021, yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow’okulungamya eggwanga, ekifo ekiri wansi wa minisitule ya tekinologiya, amawulire n’empuliziganya n’okulungamya eggwanga. [1] Akola ne minisita omukulu, Dr. Chris Baryomunsi .

Mu kifo ky’obwaminisita, Kabbyanga avunaanyizibwa ku mpuliziganya za gavumenti, okutumbula mwoyo wa ggwanga, n’okubunyisa amawulire agakwata ku pulogulaamu n’enkola za gavumenti. Abadde yeenyigira nnyo mu kampeyini z’olukale ezikwata ku nteekateeka nga Parish Development Model (PDM) n’okumanyisa enkola ya gavumenti ku nsonga z’eggwanga ez’enjawulo. [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Full cabinet list: Jessica Alupo New Vice President". Daily Monitor. 2021-06-09. Retrieved 2025-06-07. Cite error: Invalid <ref> tag; name "CabinetList2021" defined multiple times with different content.
  2. 1 2 3 4 "PROFILE: Who is Godfrey Kabyanga, the new State Minister for ICT and National Guidance?". Nile Post. 2021-06-15. Retrieved 2025-06-07. Cite error: Invalid <ref> tag; name "KabbyangaProfileNBS" defined multiple times with different content.
  3. ↑ "NRM's Kabyanga retains Kasese mayoral seat". Daily Monitor. 2016-03-03. Retrieved 2025-06-07.
  4. ↑ "Kasese leaders demand for release of Rwenzururu king". NTV Uganda. 2021-01-18. Retrieved 2025-06-07.
  5. ↑ "Kasese Municipality Mayor Kabyanga loses NRM MP flag to former LDU". Nile Post. 2020-09-05. Retrieved 2025-06-07.
  6. ↑ "Govt explains plan to have all Ugandans on PDM". New Vision. 2022-09-28. Retrieved 2025-06-07.
  7. "Who is Who in Kasese Guide 2019-2021". Kasese Guide. 2019. Retrieved 2025-06-07. Born on May 5, 1974 to Mr. and Mrs. Modesto Kabbyanga
Cite error: <ref> tag with name "KaseseGuide" defined in <references> is not used in prior text.