Godfrey Kiwanda
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Godfrey | |
| Yazaalibwa nga | 1 Gwamunaana(Muwakanya) 1973 | |
| Gy'azaalwa | Mityana District | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
Godfrey Ssuubi Kiwanda munnabyabufuzi mu Uganda. Yalondebwa nga Minisita w’ebyobulambuzi mu kabineti ya Uganda nga 6 ogw'omukaaga 2016. [1] Mu kiseera kye kimu yaweereza ng’omubaka omulonde mu Mityana County North, Disitulikit y'e Mityana mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi okuva mu 2016 okutuuka mu 2021. [2]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Kiwanda yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Mityana eya leero, nga 1 ogw'omunaana mu 1973. Yasomera mu St. Joseph Busunju Primary School, n’afuna ebbaluwa ya Primary Leaving Certificate mu 1989. Yakyuka n’agenda mu St. Francis Senior Secondary School, Busunju gye yamalira essomero lya middle ne high school. Yafuna Dipulooma mu siniya mu 1996. Yagenda mu maaso n’okusoma mu yunivasite e Makerere, eya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene, n’atikkirwa mu 2000 n’afuna diguli esooka mu by'emikono(bachelor of arts) . [1]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Kiwanda yasooka kulondebwa mu palamenti ya Uganda mu 2001, ng'akiikirira obukiikakono bwa Mityana Constituency, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2006. Okuva mu 2007 okutuuka mu 2010, yaweereza nga Resident District Commissioner (RDC) wa Disitulikiti ya Kaabong, mu Karamoja sub-region . [2]
Mu mwaka gwa 2011, yaddamu mu palamenti ku tiketi y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). Yaddamu okulondebwa mu 2016. Mu gw'omunaana gw’omwaka ogwo, yalondebwa okubeera Minisita w’eggwanga ow’ebyobulambuzi mu kabineti ya Uganda. [1] [2]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera nga beetegekera okulonda kwa pulezidenti ne palamenti okwa 2021, Godfrey Kiwanda yaggyayo erinnya lye mu kalulu ka palamenti mu 2021 mu kitundu kye, ng’ebula mbale okulonda kwa pulayimale y’ekibiina kya NRM mu gw'omunaana 2020. Ekyo kyaleka Muhamad Kibedi Nsegumire, nga ye yekka omukiise wa NRM mu kalulu ka bonna akabindabinda nga 14 Gatonya 2021. [3]
Kiwanda yalondebwa akakiiko akafuzi aka Central Executive Committee (CEC), ekitongole eky’oku ntikko mu kibiina kya NRM, ng’omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina kino mu kitundu kya Uganda wakati okumala ekisanja 2021 okutuuka mu 2026. [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 Yoweri Kaguta Museveni (6 June 2016). "President announces new Cabinet". State House Uganda. Retrieved 22 December 2020.
- 1 2 3 Parliament of Uganda (13 June 2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Godfrey Ssuubi Kiwanda". Parliament of Uganda. Retrieved 22 December 2020.
- 1 2 Misairi Thembo Kahungu (28 August 2020). "Kiwanda joins 3 Cabinet colleagues out of MP race". Retrieved 23 December 2020.