Godfrey Makumbi
Endabika
Godfrey Makumbi (15 Ogwekkumineebiri 1962 - 31 Maayi 2015) yali Mulabirizi mu Kkanisa ya Uganda mu Uganda:[1] Ye yali Omulabirizi w'Obulabirizi bwa West Buganda okuva mu 2011 okutuusa lwe yafa mu Gwokutaano, 2015 .[2]
Ye yadda mu bigere bya Samuel Keefa Kamya Ssemakula eyali atuusizza emyaka egiwummula.
Makumbi yazaalibwa Nansana era yasomera ku Makerere University ne mu Southampton University e Bungereza.
Yali musomesa omutendeke era okutuuka okulondebwa yali ku ddaala lya Canon nga ye mukulu w'essomero lya Buzzibwera Secondary School mu Bulabirizi bw'e Luweero.