Jump to content

Gold Scandal

Bisangiddwa ku Wikipedia

Emivuyo gya Zaabu egyaliwo mu 1965 gyali mivuyo gya byabufuzi gya maanyi mu Uganda gyakola kinene mu kukulemberamu Mengo crisis eya 1966. Emivuyo gino gyetololera nnyo ku bigambibwa okufuna amagoba mu ngeri emenya amateeka okuva mu zaabu, amasanga, ne ssente enkalu okuva mu Democratic Republic of the Congo . Okulumiriza Ssaabaminisita Milton Obote, Colonel Idi Amin, n’abakungu ba gavumenti abalala. Okulumiriza kuno kwaletebwa omubaka wa Paalamenti Daudi Ochieng, yalumiriza nti abakungu bano bafuna ssente mu ngeri emenya amateeka ngabakyusa obuyambi obwali buwereddwa abakulembeze babayekera mu Congo. Emivuyo gino gyalimu okulumiriza okuteeka ssente ennyingi ku akawunti z’abantu, era kyatabangula nnyo embeera y’ebyobufuzi mu Uganda, ekyaviirako okutabuka mu byobufuzi.

Ssaabaminisita wa Uganda Milton Obote yali takkiriziganya na Ssaabaminisita wa Congo Moise Tshombe mu by'obufuzi. Obote yategeka okusisinkana abakulembeze b’abayeekera ba Congo Christophe Gbenye ne Nicholas Olenga okubawa obuyambi obw’ekyama. Enkiiko zino zagendera ddala okuva mu Gwokkuminebiri 1964 okutuuka mu Gwokusatu 1965, emirundi mingi zaalimu okuwanyisiganya eby'okulwanyisa Obote bye yagula okuva e Tanzania era abayeekera nebazisasula basasula zaabu n’amasanga. Obuwagizi bwenyigirwamu butereevu amagye ga Uganda Obote yalina kaweefube ono asinga yakolebwa Colonel Idi Amin ng'abakulembeze b’amagye abalala tebamanyi. Waaliwo enjawukana mu kabineti ya Uganda ku nkola eyatwalibwa eri abayeekera, kubanga yali etaataaganya enkolagana ne gavumenti ya Congo ne Amerika.

Nga 16 Ogwokusatu 1965 omubaka wa KY Daudi Ochieng yalumiriza mu Paalamenti nti Colonel Idi Amin —omuserikale ow’eddaala ery’oku ntikko mu magye, Obote, Minisita w’ensonga z’omunda Felix Onama, ne Minisita w’enteekateeka n’enkulaakulana y’abantu Adoko Nekyon, baali batunze zaabu, amasanga, n'essente enkalu ebyali biva e Congo mu ngeri emenya amateeka. Okusinziira ku Ochieng, mu Gwokubiri 1965 Amin yaggulawo akawunti mu Bbanka ya Ottoman . Mu nnaku 24, Sh. 340,000 (£17,000 sterling, equivalent to £287,812 mu 2025 ) zateekebwa ku akawunti.Gavumenti yasuubiza okunoonyereza ku nsonga eno. Akakiiko k’abalamuzi akanoonyereza kaateekebwawo kulw'ensonga eno, naye okuteekebwawo kwalwawo olw’amateeka g’amagye agaaliwo. Amateeka gaali galagira nti omuserikale w’amagye yali asobola okunoonyezebwako abantu bokka ab’eddaala eryenkanankana oba ery’oku ntikko. Omuduumizi w’amagye Shaban Opolot yekka ye yalina eddaala erya waggulu okusinga Amin, era tewali muserikale yali wa ddaala eryenkanankana ne Amin. Obote yateekateeka amateeka gano okukyusibwa okusobola okwanguyiza okutandikawo akakiiko kano, kyokka ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti n’esalawo mu kifo ky’ekyo okuddamu okutunula mu biragiro by’amagye byonna, ekyatwala obudde obulala. Okunoonyereza kwayongera okulwawo olw’okuba nti bangi ku bayeekera b’e Congo akakiiko be kaayagala okubuuza ebibuuzo baali bagobeddwa mu nsi yaabwe era nga beeyawuddemu ebiwayi eby’enjawulo. Minisita w’ebyokwerinda Felix Onama teyasobola kusisinkana n’omu ku bo okutuusa mu Gwomunaana. We bwatuukira mu Gwomwenda, tewali kyali kikoleddwa, era mu lutuula lwa Paalamenti olutakkirizibwamu bannamawulire Ochieng yaleeta ekiteeso ekyasaba gavumenti okukola ku byali bigambibwa. Obote yagumizza akakiiko k’amateeka nti kunoonyereza kwali kugenda mu maaso era Ochieng n’aggyayo ekiteeso kye.

Mu Gwolubereberye 1966 Ochieng, yanyiiga olw’okulinda okufulumya lipoota ku kunoonyereza kuno nga tefuluma, yasalawo okuddamu okuleeta ekiteeso kye ng’asaba gavumenti okubaako ky’ekola. Nga 31 Ogwolubereberye Obote yasisinkana ekibiina kya Paalamenti ekya UPC mu nkukutu okunnyonnyola ku kulwawo. Yategeeza nti Amin yakakasa nti akawunti ya bbanka yiye, era nti ssente zino zaali zimuweereddwa abayeekera ba Congo asobole okubagulira ebikozesebwa. Ekibiina kino kyasalawo nti ensonga zino zirimu amawulire amakulu agakwata ku by’okwerinda by’eggwanga, kale ababaka ba UPC bonna bagenda kugaana ekiteeso kya Ochieng okwewala okukubaganya ebirowoozo mu lwatu mu Paalamenti ku bizuuliddwa mu kunoonyereza. "Olw'ensonga ezitategeerekeka bulungi", Obote olwo n'ava mu kibuga ekikulu Kampala, okugenda okulambula obukiikakkono bwa Uganda. Ng’ebula mbale olutuula lwa Paalamenti nga 4 Ogwokubiri luyitibwe, kabineti yayanguwa okutuula nga taliiwo. Baminisita ab'ekigero be baaliwo, era abasinga obungi ku baaliwo baali basaasira Ibingira. Olwo ne basalawo nti ababaka ba UPC bonna balina okuwagira ekiteeso kino. Okusinziira ku munnamateeka era omukungu avunaanyizibwa ku by'obukessi Akena Adoko, olukiiko n'okusalawo kwakolebwa ku kaweefube wa Ibingira ku magezi okuva ewa munne mu byobufuzi, Pulezidenti Edward Mutesa, nga kigambibwa nti yamugamba nti, "Tugatte amaanyi mu kiseera kino. Obote ne baminisita abesigwa bonna bafulumye, ggwe mukama wa Kabineti, Kabineti etuuke kati n'okuzzaawo okusalawo obutawagira kiteeso kyange. Kino kimpadde obulumi bungi.Nze naawe tusobola okukola ebyewuunyo nga tukolagana." Ekiteeso kya Ochieng oluvannyuma lw’ekiseera kitono kyaleetebwa mu Paalamenti era ne kikubaganyizibwako ebirowoozo abakiise baayo. Ekiteeso kino ekyawagirwa Gesparo Oda, eyali akikirira ekibiina kya Democratic Party, kyasoma bwe kiti:

Nti olukiiko luno lusaba Gavumenti okuyimiriza Col Idi Amin ow’amagye ga Uganda mu bwangu ku mulimu nga bwe balindirira okumaliriza okunoonyereza kwa poliisi ku bigambibwa ku akawunti ya bbanka ye oluvannyuma ebirina okutwalibwa eri ekitongole kya gavumenti ekikwatibwako ng’okusalawo okusembayo ku nsonga eno kujja kufulumizibwa mu lujjudde.

Mu kwogera kwe mweyayanjulira ekiteeso kino, Ochieng era yalumirizza Obote, Onama, ne Minisita w’enteekateeka n’enkulaakulana y’abantu Adoko Nekyon nti beenyigira mu bikolwa bya Amin ebigambibwa nti yakola. Yagamba nti eno y’ensonga eyalwawo okufulumya ebyazuuliddwa akakiiko. Ochieng yategeeza nti omuntu atategeerekese mannya yamutegeeza nti Obote yafuna zaabu, amasanga ne kaawa ebibbe ebibalirirwamu emitwalo gya pawundi e 50,000, era nti Onama ne Nekyon buli omu yafuna emitwalo gya pawundi 25,000. Bwatyo yannyonnyola nti ssente ezaateekebwa ku akawunti ya Amin zaali zimuwereddwa olw’okubawa ebintu ebyakukusibwa. Ochieng era yategeeza nti omuntu omulala atategeerekeka mannya yamutegeeza nti Amin yasuubizibwa okuwebwa okuduumira amagye olw’ebigambibwa nti yakola. Yayongerako okulumiriza Amin okwenyigira mu lukwe ne bammemba ba gavumenti okutandika okuwamba gavumenti n’okusaanyawo ssemateeka. Ochieng yamaliriza nti Amin yandifulumiza ebikwata ku nsonga zino singa atwalibwa mu kkooti y'amagye mu butongole ; bwe kityo, Obote, Onama, ne Neykon baali tebakola kunoonyereza kwa makulu. Oda yategeeza nti singa yali amanyi ku byogerebwa ebipya, yandibadde akubiriza Ochieng okubissa mu kiteeso ekyali kireteddwa. Wadde kyali kityo, teyateesa nti bakole ennongoosereza. Ababaka babiri baategeeza nti baali bakimanyi nti zaabu omungi ennyo yayita mu ggwanga n’okufuluma mu myaka egiyise. Bammemba abalala baddamu okutegeeza nga bwe walwio engambo mu Kampala ku ntambula ya zaabu n’ebintu ebirala eby’omuwendo.

Paalamenti yayisa ekiteeso n’akalulu kamu akaawakanya okuva eri Kakonge. Kakonge yategeeza nti okukyusa amangu ensala y’ekibiina kya paalamenti ekya UPC kabineti tekyali kya bulijjo era kiteekwa okuba nga kyava mu nteekateeka ey’obwegendereza. Ababaka ba UPC abalala baali bategeezeddwa ku kusalawo kwa kabineti okukkiriza ekiteeso kino ng’okukubaganya ebirowoozo kugguddwawo —nga tebamanyi nti baminisita bangi baali tebeetabye mu kukubaganya ebirowoozo —era ne bagoberera obulagirizi bwa gavumenti yaabwe.

Wadde ng’ekiteeso kino kyali kikwata ku Amin yekka, Ochieng bye yalumiriza byali birumbye obwesige bwa Obote, Onama ne Nekyon, era kyalabika ng’ekyeyoleka eri abakulembeze nti okunoonyereza okupya, okwetongodde kwalina okukolebwa. Ababaka abawerako baali bawadde amagezi mu kukubaganya ebirowoozo nti okunoonyereza kukolebwe baminisita abasatu basobole okukakasa nti tebalina musango. Cuthbert Joseph Obwangor, omwogezi wa gavumenti mu Paalamenti era nga ye ssentebe wa kabineti Obote waba taliiwo, yategeeza akakiiko k’amateeka bino wammanga:

Ffe nga Gavumenti, wadde nga waliwo ebigambibwa oba ebigambo ebyayogerwa Owek. Mover, njagala okuwaayo ensonga eno mu inquiry okufuna amazima, bwe gaba nga wegali, kubanga tetuli basajja batono...bwe tunaasanga nga tewali mazima, ye y’agenda okufiirwa. Kati tekitegeeza nti Gavumenti ekkiriza ebigambibwa bino, kubanga bino birina okuteekebwawo.

Ku lunaku olwaddirira okukubaganya ebirowoozo Onama yateeka Amin mu luwummula olumpi. Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Basil Bataringaya yalonda akakiiko okunoonyereza ku byogerebwa. Obote bwe yakomawo mu Kampala nga 15 Ogwokubiri, teyasobola kugamba baminisita be kugenda mu maaso na kunoonyereza. Kabineti yagezaako okutuula nga 22 Ogwokubir okulonda akakiiko akapya akanoonyereza ku nsonga eno, kyokka Obote nakwata mangu bammemba bataano; Ibingira, Emmanuel Lumu, Balaki K. Kirya, Mathias Ngobi, ne George Magezi bakwatibwa. Abana abasembayo bonna baali ba kibiina ku kiwawaatiro kya Ibingira mu kabineti, era bonna baali beetabye mu lukiiko olwatuula nga 4 Ogwokubiri. Wadde ng’obulabe Ibingira bwe yaleeta obukulembeze bwe bwaggyibwawo, Obote yasalawo okunyweza ekifo kye ng’anyooma abaali bamuvuganya nabo naddala Mutesa. Yalangirira nti Mutesa yali mu lukwe lw'okuwamba gavumenti y'amagye okusuula gavumenti ye, ekyavirako Mengo Crisis . Nga 23 Ogwokubiri yasengula Opolot n’atwala ekifo ky’akulira amagye, era Amin n’afuulibwa akulira amagye n’amagye g’omu bbanga. Obote era yalonda abalamuzi basatu ku kakiiko ke okunoonyereza ku bigambibwa nti yakola emivuyo gya zaabu: Sir Clement Nageon de L’Estang ( Kkooti ejulirwamu ey’obuvanjuba bwa Afrika ), Cecil Henry Ethelwood Miller ( Kkooti Enkulu eya Kenya ), ne Augustine Saidi ( Kkooti Enkulu eya Tanzania ).

Lipoota eyasembayo ey’akakiiko akanoonyereza yafulumizibwa mu Gwomunaana 1971, nga tewali bukakafu bulaga nti waliwo ekikyamu. Munnabyafaayo Aidan Southall yawandiika nti "kyandirabise ng'ensimbi ennyingi ezitabaliriddwa ku akawunti ya Amin mu bbanka zasaasaanyizibwa mu mateeka ddala ku bintu ebikozesebwa AbaKongo."

 

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]