Gomesi

Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]'Gomesi,Busuuti oba Bodingi, kyambalo ekitwalibwa nga ekitongole eky'ebyobuwangwa mu bakyaala mu Buganda kwossa n'ebitundu bya Uganda ebitali bimu. Olugoye luno lujjira mu langi ezenjawulo era nga lukolebwa mu matiiriyo ez'enjawulo. Yadde nga entunga ya gomesi nemisono jizze gyikyuuka n'emiremembe nga bwejizze, gomesi esiggadde nga kyambalo kiganzi nnyo ku mikolo egy'obuwangwa era nga kyambalo kisigadde nga kiwanvu era nga kisibwako ekiwuzi ekiyitibwa ekitambaala mu kiwato okuggumila. [1]
Ensibuko
[kyusa | kolera mu edit source]Bannabyafaayo n'abanoonyereza abasinga ensibuko ya gomesi bagiteeka kuntandikwa y'emyaka gya 1905. Kigambibwa nti Olugoye luno lwayiyizibwa omutunzi w'engoye n'emisono nga yali muyindi, eyamanyibwa nga Caetano Gomes, mu kiseera Uganda nga ekyaali twaale lya Bungereza. Erinnya Gomesi oba Gomasi kigambibwa nti lyaava ku linnya lya Gomes ono eyayiiya ekyambalo kino. Kyokka yadde olugoye luno telwasooka kubeera luganzi okutuusa Nnabagereka (Mukyala wa Kabaka) wa Daudi Chwa II , lwe yalwambala ku kutikkirwa kwa bba nga awezezza emyaka 18 (Chwa yafuuka kabaka wa Buganda nga wa mwaaka 1) mu 1914.[2]
Bannabyafaayo abalala bagamba nti Gomesi yasibuka ku nnyambala eyasooka, ey’ekinnansi mu Uganda eyitibwa olubugo olwayambalwanga okuva mu myaaka gya 600 AD.[3] [4] Gomesi oluvannyuma yafuuka ekyambalo ekitabula mu bulamu bw'omukyaala. Gomesi eyambalwa mu bulamu obwabulijjo, ku mikolo ne mumbeera ezabulijjo era nga ennyambala esobola okukozesebwa okwawula omukolo omuntu kwalaga. Okugeza engeri omuntu gyasibamu gomesi nga agenda ku kwanjula eyawukana n'engeri gy'agisiba nga agenda okuziika.[5]
Gomesi lugoye luwanvu okutuukira ddala wansi kubigere era lujjira mu langi ez'enjawulo. Mu musono gwa gomesi, etungibwa nemikono nga mimpi nga giriko amajolobera n'okuwundibwa ku bibegaabega okulabika nga bikukunalidde bulungi waggulu mu mbeera ey'okwesimba. Gomesi era tebaako kitoji yadde amapeesa ag'obusimba era nga amapeesa gaayo gaba ku kifuba ku luuyi olwa kkono era nga tegatera kusukka abiri(2). Mu kwambalwa, gomesi eyambalirwamu ekikooyi ekisibwa n'ekiwuzi okujjayo ekiwato ky'omwambazi.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ eb/20070126111608/http://www.ugpulse.com:80/articles/daily/Heritage.asp
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-1107671126
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-02-08. Retrieved 2025-02-03.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs named:1 - ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs named:4