Goodlyfe Crew
Radio & Weasel baali bannayuganda babiri abaayimbira nga wansi w'erinya lyebeetuuma erya Goodlyfe, ekibiina ky'abayimbi Bannayuganda ekyali kikulemberwa abasanyusa nga bayimbi nga; Moses Radio (ng'amannya gge amazaale ye Moses Nakintije Ssekibogo) ne Weasel Manizo ( ng'amannya ge amazaale ye Douglas Mayanja). Moses Radio yayimbira nga mu doboozi lya wansi nga liri mu sitayiro ya RnB ng'ate ye Weasel nga ayimbira mu sitayiro za reggae, ragga ne dancehall.[1] Olw'obusobozi bwabwe mu kuyimba, Moses Radio ne Weasel baatandikawo ekibiina kyabwe ekyababiri nga bamannyikiddwa nga Radio and Weasel. Omuyimbi eyali akulembera Moses era eyalina edoboozi Radio yafa nga 1 Ogwokubiri 2018 olw'obuvune bweyafuna ku bwongo oluvannyuma lw'okukubibwa kanyama w'ebbaala emu esangibwa Entebbe. Eyalumba Radio yamusukuma wansi obuwanvu bwa mita 3 (ffuuti 9.8) n'agwa ku kigumu ekyali kyakolebwa munkokoto ekyamuviirako obuzibu obwamaanyi kuba omusaayi gwagenda mu bwongo. Radio ne Weasel era beebatandikawo ekibiina ekiyitibwa Goodlyfe Crew. Ekibiina kino kyafunamu enkyukakyuka mu nsengeka yaakyo naye nga mu biseera ebisinga mwalimu Chagga, Lenin Briton,ne Lawrence (Goodlyfe Crew). Bangi ku baakirimu baalina ennyimba za sekinnoomu ne zebaayimbanga naabayimbi abalala.
Radio ne Weasel
[kyusa | kolera mu edit source]Moses Radio (ng'amannya ge ag'obuzaale yeeyali Moses Nakintije Ssekibogo) yali wa manyi mu mulimu gw'okuyimba.Emyaka enna egya siniya yagisoma wakati wa 1998 okutuuka mu 2001 ku Holy Cross Lake View Secondary School e Jinja, gyeyaweerereza ng'omukulebeze mu w'ekibiina kya Inter-School Youth Alive Club. Yayiiya ennyimba eza kozesebwa ekibiina kino nezibatuusa ne kubuwanguzi bw'empaka ezaali zivuganyizibwamu amassomero eza inter-school Youth Alive Club Competitions. Mu 2002, Radio yasomera ku Kiira College Butiki e Jinja gyeyawumuliramu omulimu gwe ogw'okuyimba, esira n'asinga kuliteeka kusoma. Oluvannyuma yeegatta ku kibiina kya Jose Chameleone ekyali kimannyikiddwa nga Leone Island Crew mu 2004.[1] Bweyali akola ng'omuyambi wa Jose Chameleone mu mu by'amaloboozi, Radio yafulumya enyimba nga ye sekinoomu nga ziri wansi w'ekibiina kya Leone Island. Kuno kwaliko olwali luyitibwa "Jennifer", "Dagala", "Wololo" ne "Sweet Lady".[1] Oluyimba olwali luyitibwa Sweet Lady lwawulirizibwa nnyo wandde nga Radio yali tamannyikiddwa nnyo mu bantu.
Weasel (ng'amannya ge amazaale ye Douglas Mayanja) yatandika okuyimba ng'ali bwanamunigina eyafulumya ennyimba zze nga sekinoomu ng'ayambibwako ekibiina kya mukulu we Jose Chameleone naye nga lwali luyimba lwe lweyakola ne Jose Chameleone olwa "Bomboclat".
Radio ne Weasel baaliko baali bayambako mu kwongera amaloboozi mu nnyimba za'Omunayuganda omuyimbi amannyikiddwa nga Jose Chameleone, naye oluvannyuma beeyawula ku kibiina kya Chameleone ekyali kimannyikiddwa nga Leone Island Crew mu 2008 nebatandika ekyabwe ekya Goodlyfe Crew.
Ennyimba z'abayimbi bano ababiri okuli Radio ne Weasel zibadde z'amannyi ku mukutu gya leediyo mu Uganda.[2] okutandikira n'olwali luyitibwa "Nakudata" mu 2008, Ababiri bano baafulumya "Lwaki Onumya", "Zuena", "Nyambura" ne "Bread and Butter". Mu masekati ga 2008, ababiri bano baakola ennyimba n'abayimbi omwali Rachel Kay, Blu*3, OS Suuna, Allan Toniks, GNL omuyimbi General Ozzy okuva e Zambia. Baayimbako mu buliwo era nebakola ennyimba n'omuyimbi Keko Omunnayuganda. Emabegako, beeyongera ettutumu mu Afirika oluvannyuma lw'okukola ennyimba n'abayimbi nga PJ Powers, gwe baakola naye oluyimba olwali luyitibwa "Home to Africa", omuyimbi okuva e Jamaica mu luyimba lwa "Fire & Butter".Baakola oluyimba n'ekibiina kya Warner Music Group eky'abalongo ekiyitibwa Locnville mu luyimba lwabwe bokka olwali lumannyikiddwa nga Done.
Abaali mu kibiinja kya Goodlyfe Crew
[kyusa | kolera mu edit source]Radio ne Weasel be baali abayimbi abakulu mu kibiina kya Goodlyfe Crew. Emiwendo gy'abayimbi mu kibiina gyali gikyukakyuka naye nga bammemba abakulu mu Goodlyfe Crew beebano:[3]
- Weasel Manizo
- Chagga Geoffrey
- Emotions Felingz
Ba mmemba bonna baafulumyanga ng'ennyimba nga bali bokka sekinoou. Jeff Kiwanuka baamusikiza Chaggaman nga maneja oluvannyuma lw Kiwanuka okugobwa ku nkomerero ya 2014.
Abaaliko bammemba
[kyusa | kolera mu edit source]- Moses Radio ng'omu ku baali bakulira eby'emirimu mu. Yafa mu 2018 oluvannyuma lw'okufuna obuvune okuva mu kulwanagana, n'aleka Weasel Manizo yekka ng'omu kubaatandikawo ekibiina kino era akulira eby'emirimu [4]
- Gift of Kado - yali omu kubaali mu kibiina kino ow'enkalakkalira oluvannyuma lw'okukyegatako mu 2009.[5] Wabula mu Gwekuminoogumu mu 2010, yalekulira naatandikawo Kaddo Pharm ng'ali ne Mr X (yafa mu Gwomukaaga mu 2012).[6]
- Diamond Oscar[7]
- Liam Voice[8]
Ekibiina kya Goodlyfe Crew kyaali kirina amaka gaakyo webaali bafulumiza ennyimba, nga wamannyikiddwa nga Goodlyfe Magic.[9] Wabula, ekibiina kino kirina pulojekiti endala , nadala mu by'omufulumya ennyimba,: bakoze ennyimba ezifulumiziddwa abantu nga, Washington, Bleas, Swangz Avenue, Bushington ne label Nash Wonder owa Monster.[10][11]
Obutakaanya n'ennyimbi zebakoze n'abayimbi abalala
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2008, Radio ne Weasel baafulumya oluyimba olwali lumannyikiddwa nga "Potential" n'omuyimbi okuva e Zambia amannyikiddwa nga General Ozzy.[12] Abayimbi bano ababiri era nebakola olumannyikiddwa nga "Take my Heart Still" ne Ozzy.[13][14]
Mu 2009, ekibiina kya Goodlyfe ky'afulumya oluyimba olwatutumuka ennyo lwebaayimba Rabadaba, nga lumannyikiddwa nga "Opportunity oba Ability". Wabula ky'agambibwa nti oluyimba lwali lulumba Bebe Cool, naddala mu kitundu eky'ayimbibwa Radio[15] Ku ntandikwa ya 2014, Radio ne Weasel baakola oluyimba ne Pallaso ne Mess, mu luyimba olwali luyitibwa "Amaaso".[16] Mu 2011, baafulumya "Dembesa" ne Da TWINZ.[17][18] Radio ne Weasel baafulumya oluyimba olulala ne Diamond Oscar lwebaatuuma "You Make Me cry".[19] Radio ne Weasel baakola ennyimba n'abayimbi Abanayuganda abalala: okwali oluyitibwa "Tax Money" ne Sizza Man,[20] "Pollination", ne Obsession mu 2011.[21]
Mu 2010, Radio ne Weasel baafulumya olwali lumannyikiddwa nga "Maama Wabaana" ne Tom Close.[22] ate mu 2013, baakola ennyimba ne Desire Luzinda, ne "Hellena" nga bali ne David Lutalo.[23][24]
Mu Gwokusatu 2011 akakuubagano kaabalukawo mu Kampala wakati wa Radio/Weasel ne Kenzo. Akakuubagano kano kaali kava luyimba lwa Kenzo olwai luyitibwa "Mundeke Numbe". Ekibiina kya Goodlyfe kyali kirumiriza okubeera ng'engeri gyebaakolamu oluyimba luno ne vidiyo, byonna byali byakobebwa ti oluyimba lwabwe olwa "Talk and Talk".[25]
Mu Gwekkumineebiri mu 2013, Radio ne Weasel baalwana olutalo lwe nnyimba olwayatiikirira ennyo n'omuyimbi Bebe Cool. Baalutuuma "The Battle of the Champions", lwali ku kifo ekiyitibwa Kyadondo Rugby grounds.[26] Chameleone yasiima aba Goodlyfe Crew engeri gyebaayimbamu; yasiima ne Bebe Cool.[27] Tewaaliwo kusalawo kulabika kwakolebwawo.[27][28] Kino era kyaviirako n'okutereeza obukuubagano obwaliwo wakati wabwe n'eyali mukama wabwe mu kibiina kya Leone Island Chameleone ne Radio ne Weasel. Bano beegatta ne Chamleone omulundi ogw'asooka oluvannyuma lw'okwawukana mu 2008.[29] Kino kyaviira ababiri bano okuyimbira ku siteegi y'emu ne Chameleone mu kivvulu kya Tubonge ekyaliyo mu 2014.[30]
Mu 2013, ababiri bano baagamba nti obukuubagano n'omuyimbi w'omu Gagamel, Bebe Cool nabwo bwali buweddewo.[31]
Ebirabo
[kyusa | kolera mu edit source]Byebawangudde
[kyusa | kolera mu edit source]- 2015 HiPipo Music Awards - Ekibiina ky'ababiri ekyali kisinga Radio ne Weasel
- 2015 HiPipo Music Awards - Oluyimba lw'omwaka- Neera – Radio ne Weasel
- 2015 HiPipo Music Awards - Ennyimba ezaasinga okukolebwa -Amaaso Ntunga nga za Radio ne Weasel
- 2015 HiPipo Music Awards - Oluyimba lwa Rnb olwali lusinga -Neera olwa Radio ne Weasel
- 2014 HiPipo Music Awards – Ekibiina ky'ababiri ekyali kisinga (' Radio ne Weasel')[32]
- 2014 HiPipo Music Awards – Oluyimba lw'omwaka– Radio ne Weasel ('Obudde Album')[33]
- 2008 Pearl of Africa Music Awards – Oluyimba lw'omwaka ('Nakudata')[34]
- 2008 Pearl of Africa Music Awards –Oluyimba lw'ekika kya AfroBeat olwali lusinga ('Zuena')[34]
- 2008 Pearl of Africa Music Awards – Abayimbi abapya abaali basinga[34]
Tanzania Music Awards
- 2010: Oluyimba olwali lusinga mu Mawanga g'Omubuvanjuba bwa Afrika – Bread and Butter/ Where You Are ft. BLU*3
- 2011:Oluyimba olwali lusinga mu Mawanga g'Omubuvanjuba bwa Afrika – Heart Attack Vuvuzela
- Channel O Music Video Awards
- 2011: Most Gifted African East Video – This is How We Do It ft. Keko
Buzz Teeniez Awards Uganda
- 2010: Hottest Group/Duo
- 2011: Hottest Group/Duo
- 2011: Hottest Collabo – Mr. DJ ft. Swangz Avenue
Okulondebwa okwetaba mu kuvuganya
[kyusa | kolera mu edit source]- 2010 Tanzania music awards – Best East African Song ('Bread and Butter') & ('Where you are' with Blu*3)
- MTV Africa Music Awards 2010 - Best Group
- 2011 Tanzania Music Awards – Best East African Song ('Vuvuzela')[35]
Mu Gwomunaana 2011, abayimbi ba Goodlyfe Radio ne Weasle baalondebwa okwetaba mu mpaka za Africa music awards, MOAMA okuvuganya ku ky'ekibiina ky'omwaka. Oluyimba lwabwe olwa Vuvuzela(olwayatiikirira mu 2010 ) lwalondebwa okuvuganya mutuluba lwa dance hall.[36]
- 2013 BET Music Awards – Best International Act Africa.
- MTV Africa Music Awards 2014 – Abayimbi abaasinga okukola oluyimba nga bali n'omuyimbi omulala, nga luno lwali luyitibwa ''Kiboko Changu", olwa Amani ng'ali neba Radio ne Weasel)[37]
Radio and Weasel Music albums Goodlyfe balina entambi z'ennyimba nga 10i 1. Mwana Wabandi (2016) 2. Neera & The Best of Radio & weasel (2015) 3. Amaaso Ntunga Album ( 2014 ) 4. Obudde (2014) 5. Fantastic (2014) 6. Tonjagala (2012) 7. Talk and Tailk (2011) 8. Ngenda Maaso (2010) 9. Bread and Butter (2009) 10. Nyambura (2008)
Ennyimba zabwe
[kyusa | kolera mu edit source](mulimu ennyimba ezaafulumizibwa Goodlyfe Crew oba Radio ne Weasel)
- 2008: Nyambura
- 2009: Bread and Butter
- 2010: Ngenda Maaso
- 2011: Talk and Talk
- 2012: Tonjagala
- 2014: Fantastic
- 2014: Obudde
- 2014: Amaaso Ntunga
- 2015: Neera & The Best of Radio & Weasel
- 2015: Nkwegomba
- 2016: Mwana Wabandi
- 2016: Hallo
- 2016: Plenty Plenty
- 2016: Media Appreciation
- 2016: Tovawo Awo
- 2016: Jaburata (Remix)
- 2016: Nfuula Zaabu
- 2016: Nkya Kujukila
- 2016: Sumulula
- 2016: Engule
- 2016: One In A Million
- 2016: Gudi Gude
- 2017: Skin Tight (Remix)
- 2017: Panadol
- 2017: Ntwalako Out
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 http://www.ugpulse.com/articles/daily/Entertainment.asp?about=Radio+and+Weasel%3A+Living+the+Good+Life&ID=1104
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-07. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20100623020711/http://www.goodlyfe.net/bio.html
- ↑ https://www.bbc.com/news/world-africa-42902215
- ↑ https://web.archive.org/web/20140419012252/http://www.ugandaonline.net/red.../the_hostel_s_tibba_thrown_out_by_lover
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-08. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-14. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Mwesigwa, Solomon (2019-01-18). "Goodlyfe Singer Liam Voice defaults payment on outfit worn at Biri Biri concert". MBU (in American English). Retrieved 2023-12-15.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-08. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://bigeye.ug/battle-of-the-producer-nash-wonder-vs-washington/
- ↑ https://archive.today/20141116195921/http://lyrics256.com/2014/01/.../ring-a-bell-nakudata-remix-lyrics-radio-wease
- ↑ https://archive.today/20141116195921/http://lyrics256.com/2014/01/.../ring-a-bell-nakudata-remix-lyrics-radio-wease
- ↑ http://www.reverbnation.com/radioweasel/song/7841270-take-my-heart
- ↑ http://www.reverbnation.com/open_graph/song/7852562
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-30. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
- ↑ https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
- ↑ https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
- ↑ https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
- ↑ https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
- ↑ https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
- ↑ https://web.archive.org/web/20140407140544/http://www.songswale.com/radio-and-weasel-goodlyfe-maama-wabaana-bange-mp3.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20141129075543/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Radio-Weasel-Desire-Luzinda-Fitting
- ↑ https://web.archive.org/web/20141129185433/http://lyrics256.com/tag/hellena-by-goodlyfe-and-david-lutalo/
- ↑ "Uganda Online - Red Pepper Uganda News". Archived from the original on 3 April 2014. Retrieved 31 March 2014.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-14. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-02. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-02. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20140413144342/https://xclusive.co.ug/?p=7790
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2014-11-16.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2014-11-16.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
- ↑ https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
- 1 2 3 https://web.archive.org/web/20160130101808/http://museke.com/node/2396
- ↑ https://web.archive.org/web/20110223174235/http://allafrica.com/stories/201102220178.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140404042808/http://www.ugandaonline.net/news/goodlyfe?category=141
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-20. Retrieved 2022-12-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)