Gordon Wavamunno
Gordon Wavamunno (yazaalibwa 16 Omwezi ogw'ekkumi n'ebiri 1943), munnayuganda omutandisi w'emirimu era omuzirakisa (Philathropist). Ye nnannyini Spear Motors Uganda—etuusa mmotoka za Mercedes mu Uganda. N'era ye nannyini wamakampuni amalala nga GM Tumpeco ekola nnamba puleeti z’emmotoka za Uganda, Wavah Water Limited ne Wavah Books Limited. Yeeyali dayirekita wa WBS ttivvi (Television) era agambibwa okuba omu ku bantu abasinga obugagga mu Uganda. [1] Era yaweereza ng'omubaka wa Hungary mu Uganda. [2]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Wavamunno yazaalibwa nga 16 Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 1943 e Rugaaga, (nga ye Disitulikiti y'e Isingiro leero) mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda. [3] Oluvannyuma lw’okusoma kwa gavumenti okwasooka mu kitundu kye, yagenda e Mbarara, akabuga akasinga obunene mu kitundu kino, ng’akyali mutiini. Oluvannyuma yadda mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. [4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Bazadde ba Wavamunno baalina edduuka lya ccakalaccakala era yayambako mukuliddukanya ng’omulenzi omuto. Bwe yadda e Mbarara ng’omutiini, yakola ng’omuyambi mu dduuka ly’ebirime ery'amaka ga ba Asia (Asian Shop). Oluvannyuma, yatandika okugula ebirime okuva mu byalo ebiriranyeewo. Olwo ebibala ebyo yabiguza amaduuka ga ba Asia n’amaka mu Mbarara. Bwe yafuna mmotoka ye eyasooka, yatandika empeereza y'okuvuga emotoka za sipeeso mu kabuga .Oluvannyuma yagaziya bizinensi eno okwongeramu n’essomero eriyigiriza okuvuga mmotoka. Mu myaka wakati wa' 20, yasengukira mu Kampala n’akola nga ddereeva / akulemberamu abalambuzi( tour guide) mu kkampuni y’obulambuzi eyitibwa Equatorial Agencies Ltd., okuva mu 1967 okutuuka mu 1972. Wavamunno yatwala kkampuni ya Spear Tours and Travel nnannyiniyo Ashok Patel bwe yattibwa abajaasi ba nnakyemalira Idi Amin . [5]
Mu 1973, nga wayise omwaka gumu nga Bannayuganda aba Asia, bagobeddwa Amin, Wavamunno yakozesa eby’obugagga bye n’atandikawo Spear Motors Limited, kkampuni yokka eri mu busuubuzi bwa mmotoka za Mercedes Benz mu Uganda. Kkampuni eno era ye yokka, ekkirizibwa mu mmotoka z'ebika bya Jeep, Dodge,Chrysler ne ssipeeya waazo. Okugatta kwebyo, kkampuni ya Spear Motors y’egaba tulakita za Deutz Fahr n’ebyuma ebikozesebwa mu kulima mu Uganda. Deutz Fahr kkampuni ekola ebyuma ebikozesebwa mu kulima ng'esangibwa mu Treviglio mu bukiika kkono bwa Yitale . [6]
Byasizeemu ensimbi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Mwezi ogw'omwenda 2013, gano geegali agamu ku makampuni Wavamuno geyalinako obwananyini bwonna oba ekitundu ku ggo.Bizinensi eziteereddwa ku lukalala wano oluusi zoogerwako nga kkampun i za spear group oba Spear Group kyokka.[7]
- Spear Motors Limited – Kkampuni etuusa emmotoka z'ebika z’ebika bya Mercedes Benz, Jeep, Dodge, Chrysler, Fiat ne Deutz Fahr mu Uganda. [2]
- Wavah FM – Leediyo ey’obwannannyini. [8]
- Star Times Digital Satellite Television Service – Kkampuni endigito etunda amayengo ga ttivvi mu Uganda.
- Spear House – Ekizimbe kya ofiisi ku luguudo lwa Jinja mu disitulikiti y’ebyobusuubuzi wakati mu Kampala.
- Wavah Water Limited – Kkampuni ekola n’okusaasaanya amazzi ag’okunywa mu Uganda. [2]
- GM Tumpeco Limited – Kkampuni ekola n’okukola ebintu bya ssitiilu(steal products), nnamba puleeti, obupande bwokunguudo , n’ebipande ebirangirwako. N'era, ebibajje , emifaliso, obuyumba obusulwamu, obuwuuba, n’obuyumba bwa loole nezibbaasi. [2]
- Fancy Furniture Limited – Etuusa kuno n'okutunda ebibajje ebiri ku mutindo gwa waggulu ebyomumaka ne mu offiisi
- Wavah Books Limited – Ekuba ebitabo n'ebiwandiikpo ebirala. [2]
- Nakweero Mixed Farm – Faamu y'ente z'amata, ez'ennyama, n’ebirime mu Nakweero, mu munisipaali y'eKira , Disitulikiti y’e Wakiso . [9]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Wavamunno alina ekitiibwa ky'obwa dokita okuva mu yunivasite y’e Makerere, ettendekero lya waggulu erisinga obukadde mu Uganda, n’okuva mu yunivasite ya Nkumba .Pulofeesa mu by’obusuubuzi n’okutandikawo emirimu ku yunivasite y’e Makerere era ye ssenkulu ku yunivasite y’e Nkumba. [10]
Mu Mwezi ogusooka 2013, Wavamunno yalondebwa yalondeebwa ku kitiibwa kya Knight of the order of Saint John . Abafuna ekitiibwa kya knighthood mu nsengeka eno tebatera kuweebwa kitiibwa kya "Sir". Engule eno yali yali esiima mulimu gwe ogw’obuzirakisa gwe yakola ne St. John Association of Uganda, gy’abadde mmemba okuva mu 1983. Mu kiseera kino aweereza nga ssentebe w’ekibiina. Mu bikolwa ebirala eby’obuzirakisa, awaddeyo mmotoka ezitambuza abalwadde abayi bbiri eri ekibiina kino, addaabiriza ofiisi zaabwe mu Kampala, n’okuwa bamulekwa bbasale. [11]
Obulamu bwe obw'obuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Wavamunno mufumbo era taata w’abaana ab'obulenzi n’abobuwala. [12] [13] [14]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Kanaabi, Michael; Kiryowa, Ssebidde (2012). "The Deepest Pockets". New Vision Mobile. Kampala. Archived from the original on 21 October 2014. Retrieved 14 October 2014.
- Nasasira, Roland (12 March 2018). "I am the star of my life – Gordon Wavamunno". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 12 March 2018.
- "Wavamunno: Making of a successful businessman". New Vision. Kampala. 5 September 2015. Retrieved 6 September 2015.
- Kahunga, Matsiko (30 October 2012). "Wavamunno Tells His Entrepreneurial Journal". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 27 September 2013. Retrieved 14 October 2014.
- Kahunga, Matsiko (30 October 2012). "The Work History of Gordon Wavamunno". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 27 September 2013. Retrieved 14 October 2014.
- Kasirye, Faiswal (22 September 2014). "Spear Motors Celebrates 40 Years in Motor Vehicle Business". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 14 October 2014.
- Ndiho, Paul (8 June 2012). "Uganda's Success Story, The Remarkable Journey of Gordon Wavamunno". PaulNdiho.Com. Retrieved 14 October 2012.
- "Gordon Wavamunno Starts Radio Station". MondayTimes.Co.Ug. 2014. Archived from the original on 16 March 2016. Retrieved 14 October 2014.
- "Executive Profile of Gordon Wavamunno". Bloomberg Businessweek. Archived from the original on 14 October 2014.
- Vianney Nsimbe, John. "Meet Wavamunno, Nkumba's New Boss". The Observer (Uganda). Retrieved 14 October 2014.
- Musasizi, Simon (15 January 2013). "And Now, Here Comes Sir Gordon Wavamunno". The Observer (Uganda). Retrieved 14 October 2014.
- Musoke, Andrew (6 May 2013). "EMERGING MARKETS INTERVIEWS: "Interview with Gordon and Morine Wavamunno". Boston, MA, USA: Harvard Business School. Retrieved 16 December 2015.
- Mugisha, Darius (10 May 2010). "Uganda: My First Million... Elvis Sekyanzi". Daily Monitor via AllAfrica.com. Kampala. Retrieved 16 December 2015.
- Nankya, Connie (14 November 2010). "Gloria Wavamunno; a budding fashionista". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 16 December 2015.
- ↑ Kanaabi, Michael; Kiryowa, Ssebidde (2012). "The Deepest Pockets". Archived from the original on 21 October 2014. Retrieved 14 October 2014.
- 1 2 3 4 5 Nasasira, Roland (12 March 2018). "I am the star of my life – Gordon Wavamunno". Retrieved 12 March 2018.
- ↑ "Wavamunno: Making of a successful businessman". 5 September 2015. Retrieved 6 September 2015.
- ↑ Kahunga, Matsiko (30 October 2012). "Wavamunno Tells His Entrepreneurial Journal". Archived from the original on 27 September 2013. Retrieved 14 October 2014.
- ↑ Kahunga, Matsiko (30 October 2012). "The Work History of Gordon Wavamunno". Archived from the original on 27 September 2013. Retrieved 14 October 2014.
- ↑ Kasirye, Faiswal (22 September 2014). "Spear Motors Celebrates 40 Years in Motor Vehicle Business". Retrieved 14 October 2014.
- ↑ Ndiho, Paul (8 June 2012). "Uganda's Success Story, The Remarkable Journey of Gordon Wavamunno". PaulNdiho.Com. Retrieved 14 October 2012.
- ↑ "Gordon Wavamunno Starts Radio Station". MondayTimes.Co.Ug. 2014. Archived from the original on 16 March 2016. Retrieved 14 October 2014.
- ↑ "Executive Profile of Gordon Wavamunno". Bloomberg Businessweek. Archived from the original on 14 October 2014.
- ↑ Vianney Nsimbe, John. "Meet Wavamunno, Nkumba's New Boss". Retrieved 14 October 2014.
- ↑ Musasizi, Simon (15 January 2013). "And Now, Here Comes Sir Gordon Wavamunno". Retrieved 14 October 2014.
- ↑ Musoke, Andrew (6 May 2013). "EMERGING MARKETS INTERVIEWS: "Interview with Gordon and Morine Wavamunno". Harvard Business School. Retrieved 16 December 2015.
- ↑ Mugisha, Darius (10 May 2010). "Uganda: My First Million... Elvis Sekyanzi". Retrieved 16 December 2015.
- ↑ Nankya, Connie (14 November 2010). "Gloria Wavamunno; a budding fashionista". Retrieved 16 December 2015.