Gorretti Byomire, omuwandiisi w’ebitabo
Gorretti Byomire Munnayuganda omukugu mu by'okukozesa kompyuta, mu by'ensoma n'okulwanirira eddembe ly'abalema . Musomesa mu kitongole kya tekinologiya wa komputa akozesebwa n'amawulire . mu Makerere University Business School (MUBS), mu Kampala, Uganda. Mu kiseera kye kimu akola nga dayirekita w’ekitongole kyekifo ekyebikozesebwa n'okuyiga kwabalema [1] [2]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Byomire, Munnayuganda mu buzaale, yazaalibwa circa mu 1984. Yasomera mu St. Theresa Namagunga Primary School . Oluvannyuma yasomera mu Trinity College Nabbingo, yasomerayo siniya eyokuna n'eyomukaaga. [1]
Alina diguli esooka eya bizinensi mutekinologiya ( Bachelor of Business Computing) ne ddiguli eyookubiri eya sayansi mukunonyereza (Master of Science mu Information Technology), byombi yabifuna okuva muyunivasite e Makerere , yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda. mu Gwokubiri 2022, yali asoma diguli eyookusatu mu nkola z’amawulire mu yunivasite ya South Africa, e Pretoria. [1] [2]
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Byomire omulimu gwe yakola mu kisaawe ky'amawulire gudda mu 2007, oluvannyuma lwa diguli ye esooka. Yapangisibwa ng’omuyambi w’omusomesa eyatikkirwa e MUBS, ate mu kiseera kye kimu n’asoma diguli eyookubiri. Emyaka bwe gyayitawo, yakuzibwa n’afuulibwa omusomesa omuyambi n’oluvannyuma n’afuulibwa omusomesa omujjuvu . [1] [2]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Mu buvunaanyizibwa bwe obungi, mmemba ku kakiiko ka Yunivasite ya MUBS, gy’akiikirira abantu abaliko obulemu (PWDS). Era mmemba ku kakiiko akawabula abalema aka MUBS (TADC). Okugatta kw'ekyo, akola ng'omuntu omukulu" mu kibiina kyolukiiko lw'eggwanga lya Uganda olwobulemu. (UNCD). Kigambibwa nti mukugu mu "ddembe ly'abalema, okusomesa abantu bonna, okulwanirira enkola, tekinologiya"... n'eddembe ly'abavubuka naddala abawala n'erya abakyala. [1] [2]
Byomire memba wa Mandela Washington , ekibiina kya 2021. Bwe yali eyo, yasoma enzirukanya y’emirimu gya gavumenti mu yunivasite y’e Minnesota . [1] [2] Emyaka esatu emabega, mu 2018, yali asomye ku nzirukanya y’emirimu gya gavumenti mu yunivasite ya Kenyatta nga memba w’ekitongole ky'abakulembeze ba Afirika abato (YALI RLC). [1]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Ebikwata ku muntu ku LinkedIn.com
- Ebifaananyi: Abayizi ba MUBS Abalina Obusobozi obw'enjawulo Basaba Okugumiikiriza ku lunaku lw'okumanyisa abantu ku bulemu Okuva mu 2019.
- 1 2 3 4 5 6 7 Ritah Mukasa (6 February 2022). "Top 40 under 40: Byomire strives to remove barriers for PWDs". New Vision. Retrieved 7 February 2022.
- 1 2 3 4 5 MGlobal Platform (13 September 2021). "Fellowship Supports Africa's Emerging Leaders: Gorretti Byomire". University of Minnesota. Retrieved 7 February 2021.