Jump to content

Grenia Nyamwija

Bisangiddwa ku Wikipedia
Grenia Nyamwija
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga15 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1993 Kyusa Wikidata

Grenia T. Nyamwija (yazaalibwa 15 Ogwekkuminebiri 1993) Munnayuganda, muyimbi, yinginiya w'amaloboozi, musunyi wa gita era muzinyi.[1] Yatandika okuyimba mu kibiina eky'okuna ku St. Aloysius Primary School dayirekita wa kkwaaya y’essomero bwe yamulonda okukulemberamu oluyimba mu bivvulu byonna n’empaka. Grenia Mukatoliki era amanyiddwa nnyo olw’ebitone byalina eby'enjawulo mu kuyimba. Mu kiseera kino akola omuyimbi ayongera emaloboozi mu nnyimba z'omuyimbi omututumufu mu Uganda Ray G, ng'eno gyeyafunira ettutumu olw'endabika ye ey'enjawulo ku siteegi n'obulungi bw'eddoboozi lye.[2]

Grenia yasomera mu ssomero lya Mbarara Parents School mu nassale nga tannagenda mu St. Aloysius Primary School gye yasomera okuva mu kibiina ekisooka ekisooka okutuuka mu kibiina eky'omusanvu. Oluvannyuma yeegatta ku Boni Consili Vocational School Kyabirikwa, mu misomo gye gyombi egya O'Levo ( Uganda Certificate of Education ) ne A'Levo ( Uganda Advanced Certificate of Education ) gyombi.[2][3]

Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Ssettendekero wa Makerere okusoma diguli mu by'emizannyo eya Bachelor of Arts in Performing Arts kyokka n'atasobola kumaliriza koosi ye olw’obuzibu bw’ensimbi. Oluvannyuma yegatta ku Kampala Music School gye yakugukira mu kutendeka amaloboozi. Grenia yeyongerayo mu isomo gye ku Holex Sound Engineering Institute mu Accra, Ghana, n’atikkirwa mu 2016 n’afuna Dipuloma mu kugattaganya amaloboozi eya Diploma in Sound Management ng’omukyala yekka eyali mu kibiina kye.[2]

Bwe yali mu siniya esooka, Grenia yasisinkana omusomesa Vincent Tumwebaze eyali awandiika bammemba mu kibiina ky’abavubuka ekiyitibwa Youth Friends of Jesus (YFJ). Yegatta ku kibiina kino n’atandika okuzina mu nnyimba, oluusi ng'alikoodinga amaloboozi mu nyimba z'abayimbi ez'enjawulo.[2]

Mu kiseera kye yamala ku Ssttendekero wa Makerere, yegatta ku kibiina ky’abavubuka ekya Dove Horizon ku St. Augustine Chapel Makerere University ekiweereza nga bayita mu mazina ne katemba. Era yali mmemba mu bibiina by'abazinnyi b'amazina g'obuwangwa mu yunivasite eno, nga yayanjulwayo omu ku basomesa be. Olw’obuzibu bw’ensimbi obwagwaawo, yakola nga omukozi w’awaka e Luzira, ng’atambula buli lunaku okutuuka ku Yunivasite. Olugendo oluwanvu lwamuwaliriza okuva ku mulimu, era n'asalawo okubeera n’emikwano gye mu kayumba akaali akafunda mu Ndeeba, enzigotta y’omu Kampala.

Fr. Vincent Tumwebaze oluvannyuma yamuyunga ku maka amalala, gye yaddamu okukola ng’omukozi w’awaka mu 2012. Mu kiseera ekyo, yali avudde mu yunivasite y’e Makerere, ng’akozesa ssente z’afuna okusasula ebisale by’okusoma mu Kampala Music School.

Mu 2013 ne 2014, yeegatta ku pulojekiti n'aba Umoja Cultural Flying Carpet wansi w’ekitebe kya Norway, n’ayimba mu Kenya ( Nairobi ), Tanzania, Ethiopia, ne Uganda. Mu 2015, yava mu Uganda n’agenda e Ghana, gye yakolera mu kitongole ky’ennyimba ekya University of Cape Coast, ng’asomesa abaana emisomo gy’amazina. Omulimu guno gwamuyamba okutereka ssente ezimala okwewandiisa mu Holex Sound Engineering Institute e Accra, Ghana. Yatikkirwa mu 2016 n’afuna Dipuloma eya Diploma in Sound Management, omukyala yekka mu kibiina kye, n’adda mu Uganda.

Ng’akomyewo eka, Grenia yakola ku pulojekiti ya bbandi ne Gertnam Studios wansi w'ekitongole kya Uganda Rural Electrification Agency. Oluvannyuma yagenda e Tanzania, ne yegatta ku Nafasi Art Space e Dar es Salaam, essomero ly’abavubuka abatalina busobozi kw'etuusaako by'etaago naye nga balina ebitone, gye yasomesa amazina g’ekinnansi ag'ekifirika. Nga ali mu Tanzania, era yakolerako e Zanzibar ku pulojekiti ya Sauti za Busara, omuzannyo ogwamala eddakiika 45 ku siteegi nga gukwata ku mboozi ya Idi Amin, ng’atendeka abazinyi.

Mu 2017, yagenda e Nairobi, Kenya, okukola mu Blingers Empire, ekifo ekitendeka abazannyi. Yatendekayo abazinyi okutuusa mu 2019. Mu 2020, yaggulawo situdiyo ye ey’amazina n’okuyimba e Nairobi, kyokka n’eggalwawo mu myezi esatu olw’omuggalo gwa COVID-19 mu Kenya.

Grenia oluvannyuma yaddayo mu maka ga bazadde be e Mbarara, Uganda. Mu kiseera kino, Fr. Vincent Tumwebaze ye yavujirira okukwata oluyimba lwe olwa Murekye Akure nga luluŋŋamizibwa okusinziira ku byaliwo olwa COVID-19 nga mu kaseera kano, abawala abato bangi mwe baafunira embuto mu kiseera kino ekya ssennyiga omukambwe. Oluvannyuma, ng’ali wamu n’emikwano gye, yatandikawo ekibiina kya Routes & Cultural Group nga kikuguse mu kugatta ennyimba z’ekinnansi n’ez’omu bibuga.

Era yayimba ne bbandi nga Pulse UG, Gist Band ne Quest Band. Mu kivvulu kya Ray G ekyali kikubiddwa aba Quest Band ku University Inn e Mbarara, omuyimbi yamuyita okubeera omuyimbi we. Obuganzi bwe bwakula oluvannyuma lw'okuyimba yekka ng'omuyimbi aweerekera omuyimbi omukulu ku kivvulu kya Ray G ekyali ku Cricket Oval mu Kampala mu 2024.

Leero, Grenia mmemba wa Fantastic Five Band era akyagenda mu maaso n'okukola ng'omuyimbi wa Ray G..

Ennyimba ze yayimba

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Murekye Akure[4]
  2. My Praise ft Tizzie[4]
  3. Hosanna to you Lord ft Monica[4]
  4. You and I[4]
  5. Change me ft Papa Robert[4]
  6. Ninkusiima[4]
  7. Ekitiinwa[4]
  8. An Sylivia[4]
  9. Turyabasinguzi[4]
  10. Mwizi Marathon theme[4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Meet GRENIA T. NYAMWIJA "Uganda Star Musician"". Olaijo Arts World and Gallery (in Lungereza). 2017-07-06. Retrieved 2025-08-10.
  2. 1 2 3 4 Mugasha, Alex. "Grenia Nyamwija: The backup vocalist polishing Ray G's sound". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-08-10. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content.
  3. SHUTAMA NA NYAMWIZA (2025-07-13). GRENIA NYAMWIJA || OMWESHONGOZI. Retrieved 2025-08-12 via YouTube.
  4. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 "Grenia". YouTube (in Lungereza). Retrieved 2025-08-12.