Jump to content

Guinea ya Bufalansa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Guinea ya Bufalansa
Colony Kyusa Wikidata
Part ofFrench West Africa Kyusa Wikidata
Inception1894 Kyusa Wikidata
Official languageFrench Kyusa Wikidata
ContinentAfirika Kyusa Wikidata
EgwangaBufalansa Kyusa Wikidata
CapitalConakry Kyusa Wikidata
Territory claimed byBufalansa Kyusa Wikidata
Coor­di­na­te location9°30′33″N 13°42′44″W Kyusa Wikidata
Followed by• People's Revolutionary Republic of Guinea
• Guinea Kyusa Wikidata
Replaced byGuinea Kyusa Wikidata
ReplacesImamate of Futa Jallon Kyusa Wikidata
Dis­sol­ved, abolished or demo­lis­hed1958 Kyusa Wikidata
Map

Guinea ya Bufalansa (Lufalansa: Guinée française) yali ttaka ly'amatwale ga Bufalansa mu Afrika y'obugwanjuba . Ensalo zaayo, wadde nga zakyuka okumala ekiseera, mu 1958 zaali ze zimu ng'eggwanga lya Guinea eryetongodde olwaleero.

French Guinea (Guinea ya Bufalansa) yatandikibwawo Bufalansa mu 1891, mu nsalo ze zimu n’ettwale lyayo eryasooka eryamanyibwa nga Rivières du Sud (1882–1891). Nga 1882 tannatuuka, ebitundu by’oku lubalama lwa ssemazinga mu French Guinea byali kitundu kya ttwale lya Bufalansa erya Senego .

Mu 1891, Rivières du Sud yateekebwa wansi wa gavana luteenanti ow’amatwale e Dakar, eyalina obuyinza ku bitundu bya Bufalansa eby’oku lubalama lwa ssemazinga ebuvanjuba okutuuka e Porto-Novo (kati Benin ). Mu 1894 Rivières du Sud, Côte d’Ivoire ne Dahomey zayawulwamu amatwale ‘ageetongodde’, nga Rivières du Sud yakyusibwa erinnya n’etuumibwa Ettundutundu lya French Guinea . Mu 1895, French Guinea yafuulibwa emu ku matwale nkumu agaali geesigamye (agateetengeredde) era Gavana waayo n’afuuka omu ku ba Gavana Luteenanti (Abamyuka ba Gavana) abawerako abaali wansi wa Gavana-General e Dakar. Mu 1904, omukago guno ogw’amatwale gwateekebwa mu butongole nga French West Africa (Afrika y'Obugwanjuba eya Bufalansa). Guinea ya Bufalansa, Senego, Dahomey, Côte d’Ivoire ne Upper Senegal ne Niger, buli emu yafugibwa omumyuka wa Gavana (Gavana Luteenanti), wansi wa Gavana General e Dakar.