Jump to content

Gulu Hospital

Bisangiddwa ku Wikipedia
Abalwadde nga bajjanjabirwa mu ddwaliro lya munisipaali y'e Gulu

Gulu Regional Referral Hospital erimanyiddwa ennyo nga Gulu Hospital ddwaliro erisangibwa mu kibuga Gulu mu bukiikakkono bwa Uganda. Lino ly'eddwaaliro ewasindikibwa abalwadde singa ewalala bibeera bigaanye nadala okuva mu disitulikiti y'e Amuru, Gulu, Kitgum, Lamwo ne Pader . Eddwaaliro lino era likola ng'emu ku malwaliro agasomesa mu yunivasite y'e Gulu . [1]

Gyerisinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddwaaliro ly'e Gulu lisangibwa mu kibuga Gulu mu bukiikakkono bwa Uganda, ekitundu ekisinga obunene mu kitundu kya Uganda eky'obukiikakkono. Endagiriro lyalyo eri kiromita nga 101 nga ze mayiro nga 63,singa oba okozesa luguudo, mu bukiikakkono bw’obugwanjuba bw’eddwaliro ewasindikibwa abantu ng'ewalala bigaanye, ery'e Lira . [2] Lino liri kiromita nga 332, nga ze mayiro 206, ng'okozesa luguudo, mu bukiikakkono bwa Mulago National Referral Hospital, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. [3] Endagiriro y'eddwaliro ly'e Gulu ng'okozesa bibalo ze zino:02°46'40.0"N, 32°17'52.0"E (Latitude:2.777778; Longitude:32.297778).

Enkola y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddwaliro ly’e Gulu ddwaliro lya gavumenti, nga liweebwa ssente okuva mu minisitule y’eby'obulamu mu Uganda ng'era obujjanjabi mu ddwaaliro lino bwa bwereere. Lino lye limu ku malwaliro ag'emirundi ebiri agasomesa ku by'obusawo erya Yunivasite y'e Gulu . Gulu Medical School era ekozesa eddwaliro lya St. Mary’s Hospital Lacor, okutendeka abasawo baalyo. Eddwaliro lya Gulu Regional Referral Hospital lirimu abayizi abasoma obusawo n’abatuuze, nga lirabirirwa abasomesa ba Yunivasite y’e Gulu wamu n’abawi b’amagezi mu Minisitule y’Ebyobulamu mu Uganda . [1]

Eddwaliro lino lye limu ku malwaliro 15 agaalondebwa mu Uganda okutendeka abayizi ababeera batikirddwa mu masomero g’eby'obusawo basobola okumaliriza okutendekebwa okw’omwaka ogumu nga bakulemberwa abakugu n’abawi b’amagezi abalina ebisaanyizo. Eddwaliro lino lye limu ku malwaliro 14 ewakusindikibwa singa ewalala obulwadde bubeera bugaanye mu Uganda. [4] Mu 2019, obusobozi bw’eddwaliro ly’e Gulu lyali liweza ebitanda 370. [1]

Okuddaabiriza n’okulongoosa ekifo kino

[kyusa | kolera mu edit source]
Ekijjukizo ky'envudu ekisingaanibwa webajanjabira abalina obulwadde ku bwongo e Gulu

Mu Gwekuminoogumu 2019, eddwaaliro lyatandika okuzimba ekimu ku kitundu ky’eddwaliro lino ekipya, nga kirimu ebisenge bina eby’okulongoosebwaamu, waadi gyebazaaliramu n’ekifo awajjanjabirwa abaana abato. Pulojekiti eno yali ebalibwaamu obuwuumbu bwa ssente za Uganda 20, nga bwebukadde doola za Amerika 5.5, nga baali bayambibwaako gavumenti ya Uganda n’ekitongole kya Japan International Cooperation Agency (JICA). Kino kyekimu ku pulojekiti eza wamu ezibalibwaamu obuwuumbi bwa ssente za Uganda 60 nga bwebukadde bwa ddoola 16 n’ekitundu nga zigendererwa okulongoosa n’okuzza bugya amalwaliro ga Gggwanga ewakusindikibwa ng'Obulwadde bigaanye ewalala nadala ag'omu Arua, Gulu ne Lira. Okumaliriza okudaabiriza kw'eddwaaliro lya Gulu Regional Referral Hospital kwali kusuubirwa okuggwa mu Gwekumi 2020. [5] Geeti yayongerwaako omutindo n'efuuka ey’omulembe mu 2022.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 David Kitara Lagoro (2019). "Gulu Hospital, Uganda". Epsom, Surrey, UK: The AMECA Trust Limited (AMECA). Retrieved 20 November 2019.
  2. Template:Google maps
  3. Template:Google maps
  4. Budget Monitoring and Accountability Unit (June 2014). "Rehabilitation of Regional Referral Hospitals in Uganda: What should be done differently?" (PDF). Kampala: Uganda Ministry of Finance. Archived from the original (PDF) on 31 October 2020. Retrieved 20 November 2019.
  5. Uganda Radio Network (20 November 2019). "Construction of Neonatal Intensive Care Unit at Gulu Regional Referral Hospital starts". Kampala. Retrieved 20 November 2019.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]