Hairat Balogun
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Nigeria | |
| Erinnya lya famire | Balogun | |
| Yazaalibwa nga | 10 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 1941 | |
| Gy'azaalwa | Lagos | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Yoruba, Nigerian Pidgin | |
| Omulimu | munnamateeka | |
| Ekifo ky'alimu | Attorney General of Lagos State, Chief Judge of Lagos State | |
| Mmemba wa | International Federation of Women Lawyers | |
| Personal pronoun | L484 | |
Hairat Aderinsola Balogun, née Alatishe, OON (yazaalibwa 1941) munnamateeka Omunigeria, omukyala eyasooka okubeera Ssaabawolereza wa Gavumenti mu ssaza ly'e Lagos.[1]
Ebyafaayo bye
[kyusa | kolera mu edit source]Hairat Balogun yazaalibwa nga 10 Ogwekkumi 1941, muwala w’omusiraamu omugagga omuguzi wa cocoa Alhaji Jinodu Alatishe (The Balogun Of Ijebuland). Yagenda e Bungereza ku myaka kkumineebiri okusomerayo siniya, nga tannasoma mateeka ku Lincoln’s Inn.[2] Yayitibwa mu bannamateeka Abangereza, ng'alina emyaka 21, nga 5 Ogwokubiri 1963 ne mu bannamateeka aba Nigeria nga 13 Ogwomusanvu 1963.[3] Mu 1981 yalondebwa ng'omuwandiisi w'enkalakalira eyasooka mu kibiina kya bannamateeka mu Nigeria, era n'akwata ofiisi eno okutuusa mu 1983.[1]
Hairat Balogun Life-Bencher era ye Ssentebe omukyala eyasooka mu Body of Benchers. Era ye mukyala eyasooka okubeera mmemba ku lukiiko lw'ekibiina ekigatta bannamateeka mu nsi yonna. Mmemba eri ekibiina ekigatta bannamateeka abakyala mu nsi yonna (FIDA) obulamu bwe bwonna. Yafuulibwa Officer of the Order of Niger olw’obuweereza bwe yakola mu mulimu gw’amateeka mu Nigeria.[4]
Mu 2011,yafulumya ebitabo bye eby’okujjukira eby’amateeka. Mu 2012 yafuuka pulezidenti omukyala eyasooka owa Rotary Club ye Lagos era n'akwata obwapulezidenti okutuusa mu 2013.[5] Mu 2016 yasiimibwa n'engule mu Nigerian Legal Awards (NLA).[6]
Byakoze
[kyusa | kolera mu edit source]- Okuweereza mu Mazima n’Obwenkanya, 2011
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Oyeweso, Siyan (2014-10-24). "BREAKING THE YOKE OF PATRIARCHY: NIGERIAN WOMEN IN THE VARIOUS PROFESSIONS, POLITICS AND GOVERNANCE, 1914-2014".
{{cite journal}}: Cite journal requires|journal=(help) - ↑ Encomiums as Hairat Balogun launches law memoirs, 24 July 2011. Accessed 12 March 2020.
- ↑ Joseph Onyekwere, ‘Nigerian law school has outlived its usefulness’, The Guardian, 6 February 2018. Accessed 12 March 2020.
- ↑ "Hairat Aderinsola Balogun, OON". Institute for African Women in Law (in Lungereza). Retrieved 2026-05-05.
- ↑ Soboma Ajumogobia: A Rotarian's Call to Service, This Day, 22 July 2017. Accessed 12 March 2020.
- ↑ Nigeria’s oldest woman judge, others to be honoured, The Nation, 20 September 2016. Accessed 12 March 2020.