Jump to content

Hakim Sendagire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Hakim Sendagire musawo Munnayuganda, mukugu wa biochemistry, mukugu w'ebyensoma , muddukanya w'ebyobujjanjabi. Mu kiseera kino ye Dean ku Habib Medical School, College of Health Sciences of the Islamic University in Uganda,[1] yunivasite ey'obwannannyini, emu ku yunivasite 41 mu ggwanga, okusinziira ku bibalo bya mu Gwokubiri 2015.[2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa Kasangati, Disitulikiti y'e Wakiso, Mu Masekkati ga Uganda, nga 10 Ogwomukaaga 1972. Yasomera Kololo High School gye yamalira siniya eyookuna, oluvannyuma nagenda ku Kibuli Secondary School gye yamalira siniya enoomukaaga.[3]

Mu 1991, yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda. Yasoma obusawo bw’abantu, n’atikkirwa, mu 1996, n’afuna diguli esooka mu busawo eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery (MBChB). Diguli ye eyookubiri eya Master of Science mu Biomedical Sciences (MSc), yagifuna mu 1999, okuva ku University of Greenwich, mu Bungereza. Mu 2007, ku myaka 35, yaweebwa diguli eyookuna eya Doctor of Philosophy (PhD), mu Biochemistry, okuva ku Yunivasite y’e Makerere ng’ekolagana ne Uppsala University mu Sweden.[4]

Yakolako akaseera katono ng’omusawo mu Ddwaaliro e Mulago November 1995 okutuusa mu August 1997. Oluvannyuma lw’okusoma diguli eyookubiri mu Bungereza, yakola ng’omumyuka wa Dayirekita w’ebyobulamu mu Kasangati Health Centre IV, mu Disitulikiti y’e Wakiso, okuva mu 1999 okutuuka mu 2006. Mu kiseera kye kimu, yaweereza ng’omusomesa mu kitongole kya Biochemistry mu Yunivasite y’e Makerere . Okuva mu Gwokutaano 2000 okutuuka mu Gwokutaano 2001, yeetaba mu kutendekebwa okwenjawulo oluvannyuma lwa diguli eyookubiri ku Yunivasite y’e San Francisco . Mu 2007 yawebwa omulimu ng'omusomesa mu kitongole kya Microbiology ku Makerere University College of Health Sciences, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2014, lwe yalondebwa okuba Dean w’essomero lyaHabib Medical School.[5]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Dr. Sendagire ye muwabuzi w’ebyekikugu mu by’obuweereza mu laboratory mu Minisitule y’ebyobulamu mu Uganda, ng’asinziira mu Uganda National Health Laboratory Services, esangibwa ku luguudo lwa Buganda Road, mu masekkati ga Kampala. Era ye Dayirekita wa International Academic and Medical Complex (IAMeC), (Seeta Academic Complex), kkampuni eddukanya Seeta Kasangati Secondary School, essomero ly’obwannannyini erya middle ne high school (ekibiina eky’omunaana okutuuka ku 13), erisangibwa okumpi ne Kasangati mu Disitulikiti y’e Wakiso . Alina obwagazi obw’okusomesa ssaayansi ku mitendera gyonna n’okuteekateeka abavubuka okufuuka bannassaayansi ab’omu maaso.

Ebimukwatako ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Professor Sendagire mufumbo era nga bali wamu ne mukyala we, bazadde ba baana bataano.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Tabitha, Winnie; Ainebyoona, Emmanuel (13 February 2015). "IUIU Launches Habib Medical School". Retrieved 20 February 2015.
  2. "List of Accredited Universities In Uganda". Uganda National Academy of Sciences. 2014. Archived from the original on 3 March 2015. Retrieved 20 February 2015.
  3. Sendagire, Hakim (25 January 2015). "Hajji Ishak Kamoga Is Among The Muslim Heroes In Education". Uganda Muslim Brothers and Sisters. Archived from the original on 20 February 2015. Retrieved 20 February 2015.
  4. "Academic Profile of Professor Hakim Sendagire". Makerere University College of Health Sciences. 2014. Archived from the original on 20 February 2015. Retrieved 20 February 2015.
  5. "The Work History of Hakim Sendagire" (PDF). Makerere University, Department of Microbiology. 2013. Archived from the original (PDF) on 20 February 2015. Retrieved 20 February 2015.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]