Ham Group
Ekibiina kya Ham Group of Companies kitongole ky'obwannanyini mu Uganda ekikolera mu mawanga agawerako era nga kikolagana n'ebitongole ebirala eby'enjawulo nga kyatandikibwawo Dr. Hamis Kiggundu . [1] White House kye kitebe ekitongole ekya Kampuni eno. [2] Kye kimu ku bitongole ebisinga obunene mu Buvanjuba bwa Afrika nga kikozesa abantu abasoba mu 7,000. [3]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Ekibiina kya Ham Group ky'atandikibwawo Dr. Kiggundu mu 2005 nga mu kusooka essira yali alitadde ku kusuubula ngoye. [4] Hamis yayiga emisingi gya bizinensi ng’ayamba kitaawe Hajji Segawa mu dduuka lye ery’eby’okwambala era y’atandika bizinensi ye mu luwummula lw’amasomero ng’akozesa kapito okuva ku kitaawe. Bizinensi ye bwe yagenda ekula, yatandika bizinensi y’amayumba n’ettaka, ng’agula n’okutunda ettaka n’ebintu. [5] [2] Mu 2009, yatandikawo kkampuni ya Ham Enterprises (U) Ltd era n’atandika okuzimba ebifo eby’obusuubuzi. Pulojekiti ye ey'amaanyi eyasooka yali ya Ham Towers mu Kampala, eyamalirizibwa mu 2010, n’eddirirwa Ham Shopping Mall mu myezi 18, ekyalinnyisa ssente zeyali afuna mu bupangisa ne zimusobozesa okufuna ensimbi za bbanka endala. [2] [6]
Mu mwaka gwa 2021, Ham Group yali egaziye ng'efuuse eky’enjawulo mu makolero amanene naddala mu kw'ongera omutindo ku by’obulimi . Pulojekiti y’okugezesa yali ya bukadde bwa doola za Amerika 156 nga lino ly'ali kkolero ery'ongera omutindo ku by'obulimi eliyitibwa Integrated Agro-Processing Industrial Plant (IAIP) ku Akright City, ery'agendererwa okwongera omutindo ku by'obulimi mu Uganda. [7] [8]
Kkampuni ezikolera wansi wa Ham Group
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu Gwomukaaga 2024, kkampuni zino wammanga z'ezibadde zikolera wansi wa Ham Group:[9]
- Ekitongole kya Ham Enterprises Limited [10]
- Ham Palm Villas, oluguudo lw’e Entebbe–Kampala
- Ham International, Manchester
- Ham International Express, Texas, Amerika
- Hamz Link, Kampala Uganda [11]
- Amakolero ag'ongera omutindo ku by’obulimi aga Ham [2]
- Essomero lya Hana International School Limited eNsangi
- Amayumba agapangisibwa aga Hamz International Real Estate LLC, mu Dubai
- Ham Agro Bank Limited Kampala
- Ham Cinemax-Kampala mu kibuga Kampala
- Kiggs International Uganda Ltd, Kampala [12]
- Kkampuni ya Kiham Enterprises Ltd, mu Kampala
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_162392
- 1 2 3 4 https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_132187
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-01-24. Retrieved 2025-09-01.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://bizmart.africa/business/meet-the-youngest-and-first-african-billionaire-to-build-a-national-stadium-using-own-funds/
- ↑ https://nilepost.co.ug/news/20484/ham-kiggundu-i-have-made-money-genuinely
- ↑ https://bigeye.ug/here-is-how-ham-of-ham-towers-made-his-money-and-became-a-billionaire/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/143981
- ↑ https://nilepost.co.ug/business/132167/minister-anite-lauds-hamis-kiggundu-for-setting-up-modern-agro-processing-plant
- ↑ https://billionaires.africa/2023/08/14/7-companies-owned-by-ugandan-multi-millionaire-ham-kiggundu/
- ↑ https://www.pmldaily.com/business/2020/03/ham-enterprises-takes-on-dtb-in-fraud-accusations-fallout.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/education/new-online-learning-platform-launched-3595580
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/business/prosper/beyond-ham-versus-dtb-landmark-ruling-2485644