Jump to content

Hannington Sengendo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Hannington Sengendo (yazaalibwa nga 14 Omwezi gwekkuminoogumu mu 1954) munnayuganda omusomesa ku matendekero aga waggulu omuteesiteesi w'ebibuga era omuddukanya w'ebyensoma . Mu kiseera kino, ye mumyuka wa ccansala wa Yunivasite y'e Nkumba ey’obwannannyini mu Uganda, eyakkirizibwa akakiiko k'eggwanga Uganda akavunaanyizibwa ku by'enjigiriza ebya waggulu mu 1999. [1] Yatuuzibwa mu kifo ekyo ku Lwokutaano nga 21 Omwezi ogwomukaaga 2013. [2]

Sengendo yazaalibwa mu kibuga kya Uganda ekikulu era ekinene Kampala, nga 14 Omwezi ogwekkuminoogumu 1954.

Sengendo yasomeramu ssomero lya Mengo Primary School . Yasomera ku ssomero lya Mengo Senior Secondary School, ku misomo gye egya siniya eyokuna (S.4). Oluvannyuma yeyongerayo n'emisomogye mu Kololo Senior Secondary School gyeyamalira siniya eyomukaaga(S.6) . Mu 1975, yayingira ettendekero ly'eggwanga ery'abasomesa erya Kyambogo okusoma dipuloma mu by'enjigiriza ey’emyaka ebiri . Dipuloma eno yamuweebwa yunivasite y'e Makerere . Ettendekero ly'eggwanga ery'abasomesa lyagattibwa wamu n'amatendekero amalala mu 2001 okukola yunivasite y'e Kyambogo .

Sengendo era alina ddiguli esooka ey'embeera z'abantu okuva mu yunivasite y’e Makerere ne ddiguli eyokubiri ku ngeri abantu gyebakwataganamu n'ebitundu (Human geography), gye yafuna mu 1987, okuva mu yunivasite y'e Leeds . Ddiguli ye eyokusatu mukuteekateekera ebibuga (PhD), yagifuna mu 1992, okuva mu Yunivasite y'e Nottingham. [3]

Ebyafaayo by’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Obuweereza bwe obusinga ku yunivasite y’e Makerere, mwalimu ng'akulira ekitongole kyebitonde byensi ebyomubbanga nengeri omuntu gyabikozesa(Geography) okuva mu 1994 okutuuka mu 2000. Oluvannyuma, yaweereza ng’omukulu w'ebbanguliro ly'embeera z'obuntu ku yunivasite. [4] Oluvannyuma yagenda mu yunivasite y’e Nkumba, n’aweerezayo ng’omumyuka w'omumyuka wa ccansala, bweyali tannalondebwa kubeera mumyuka wa ccansala mu mwezi ogwomukaaga 2013.

Obulamu bwe obw'obuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Sengendo mufumbo ate era taata. Wa nzikiriza ya kikulisitu.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Uganda National Council for Higher Education: Private Universities". Uganda National Council for Higher Education. Archived from the original on 21 June 2015. Retrieved 9 September 2014.
  2. "Nkumba University Gets New Vice Chancellor". New Vision Mobile (Kampala). 24 June 2013. Archived from the original on 11 September 2014. Retrieved 10 September 2014.
  3. "Curriculum Vitae For Dr. Hannington Sengendo". Yumpu. Retrieved 10 September 2014.
  4. "MUK Pays Part-Time Lecturers, Averts A Strike". Uganda Radio Network. 8 May 2009. Retrieved 10 September 2014.
  1. "Uganda National Council for Higher Education: Private Universities". Uganda National Council for Higher Education. Archived from the original on 21 June 2015. Retrieved 9 September 2014.
  2. "Nkumba University Gets New Vice Chancellor". 24 June 2013. Archived from the original on 11 September 2014. Retrieved 10 September 2014.
  3. "Curriculum Vitae For Dr. Hannington Sengendo". Yumpu. Retrieved 10 September 2014.
  4. "MUK Pays Part-Time Lecturers, Averts A Strike". Uganda Radio Network. 8 May 2009. Retrieved 10 September 2014.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]