Hasifah Nassuna
Endabika
Hasifah Nassuna yazaalibwa 16 Ogwokubiri 1998 musambi wa mupiira mu Uganda era azannyira mu makkati alumba oba Right winger mu kiraabu ya FUFA Women Super League Kampala Queens ne ttiimu y'eggwanga ey'abakazi eya Uganda . [1] [2] ,Nassuna y’omu ku bakyala 10 abaayawukana ku Kampala Queens ku ntandikwa y’omwaka guno.
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nassuna yazaalibwa Mityana era yakulira mu Central Region . Maama we ye Annet Nakimbugwe .
Omulimu gwa kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Nassuna y'azannyirako mu Kawempe Muslim Ladies FC oluvannyuma ne yeegatta ku UCU Lady Cardinals mu Uganda. [3] [4]
Emirimu gye ebweru w'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Nassuna yazannya mu mpaka za Uganda Women U20 ne Uganda ku mutendera gw'abakulu mu mpaka za COSAFA Women's Championship eza 2021 .
Ggoolo z'eyateeba ku mutendera gw'ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Olukalala lwa ggoolo z'eyateeba
| Namba | Ennaku z'omweezi | Ekifo | Omuvuganya | Okuteeba | Alizaati | Empaka |
|---|---|---|---|---|---|---|
| 1. 1. | 12 Ogwomwenda 2018 | Ekisaawe kya Wolfson, KwaZakele, South Afrika | Eswatini | 1 –0 | 4–3 | Empaka z'abakyala ez'ababinywera eza COSAFA eza 2018 |
| 2. 2. | 4 –2 | |||||
| 3. 3. | 3 Ogwokuna 2019 | Ekisaawe kya Addis Ababa, Addis Ababa, Ethiopia | Ethiopia | 2 –3 | 2–3 | Empaka za CAF ez'abakazi ez'okusunsulamu abalizannya Olympics mu 2020 |
| 4. 4. | 17 Ogwekkuminogumu 2019 | Ekisaawe kya Chamazi, Mbagala, Tanzania | Djibouti | 3 –0 | 13–0 | Empaka z'abakyala ez'ababinywera eza CECAFA eza 2019 |
| 5. 5. | 5 –0 | |||||
| 6. 6. | 1? –0 | |||||
| 7. 7. | 3 Ogwekkumi 2021 | Ekisaawe kya Gelvandale, Port Elizabeth, South Afrika | Eswatini | 4 –1 | 5–1 | Empaka z'abakyala eza COSAFA eza 2021 |
| 8. | 5 –1 |
Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Omuntu ssekinnomu
[kyusa | kolera mu edit source]- 2023 Omuzannyi w'omupiira omukyala asinga mu Uganda [5]
- 2022 Omuzannyi omukyala eyasooka okuteeba ggoolo 100 mu liigi ya FUFA ey'abakazi [6] [7]
- 2022 Omuteebi asinga mu liigi ya FUFA ey'abakazi eya 2021-22 [8]
- 2020 Ranked, Top 4 Bannabyamizannyo mu Uganda Abalina Enkizo
- 2020 Omuteebi asinga okuteeba ggoolo mu ttiimu y'eggwanga mu biseera byonna
- 2019 All Time Ugandan Women's Premier League Omuteebi asinga okuteeba ggoolo
- Omuzannyi Asinga okukuba Hatricks mu liigi y'abakazi eya Uganda
- Omuzannyi asinga okuteeba ggoolo mu liigi y'abakazi eya Uganda mu 2019 era asinga omuwendo
- Engule ya ttiimu y'eggwanga ey'abakazi eya 2018 Uganda Women Woman of the match Award mu mpaka za COSAFA
- Engule y'ekibiina ekigatta bannamawulire mu by'emizannyo ekya Uganda Sports Press Association (USPA) mu 2017 [9]
- 2017 Buzzy Teeniez Omuntu w'ebyemizannyo
- Engule ya Golden Boot Award CECAFA Omuteebi asinga okuteeba ggoolo 6
- Omuteebi asinga mu liigi y'abakazi mu Uganda mu 2017 n'ateeba ggoolo 26
- Engule y'omuzannyi asinga omuwendo mu liigi y'abakazi mu Uganda mu 2016
- 2015 yasunsulwa Airtel FUFA ku ngule y'omuzannyi w'omwaka [10]
- 2016 Yawangula engule ya Airtel FUFA ey'omuzannyi w'omwaka [11]
- 2017 yasunsulwa Airtel FUFA ku ngule y'omuzannyi w'omwaka [12]
- 2018 Yalondeddwa Airtel FUFA ku ngule y'omuzannyi w'omwaka omukyala
- 2019 Yalondeddwa Airtel FUFA ku ngule y'omuzannyi w'omwaka [13]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://int.soccerway.com/players/hasifah-nassuna/848827/
- ↑ https://buzznation.co.ug/2022/09/14/hasifa-nassuna-finally-agrees-to-join-kampala-queens/
- ↑ https://fufa.co.ug/hail-the-queen-of-goals-nassuna-reaches-landmark-goal/
- ↑ https://www.goal.com/en-ug/news/i-feel-bad-because-women-football-in-uganda-is-underrated---nassuna/jawto1wlb6ih1xoaw7eocfsnv
- ↑ Sports, Pulse (2023-05-02). "Uganda's most decorated female footballer Nassuna longs for professional ranks". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). Retrieved 2025-10-09.
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/nassuna-makes-return-to-ucu-3992700
- ↑ https://standard.ucu.ac.ug/nassuna-makes-history-in-the-win-against-tooro-queens/
- ↑ Sports, Pulse (2023-05-02). "Uganda's most decorated female footballer Nassuna longs for professional ranks". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). Retrieved 2025-10-09.
- ↑ https://kawowo.com/2017/07/14/uspa-set-to-crown-2016-top-sports-personalities-at-glamorous-award-dinner/
- ↑ https://fufa.co.ug/airtel-fufa-awards-10-days-to-go-the-scoring-midfield-maestro-hasifah-nassuna/female-footballer-of-the-year-nominee-hasifa-nassuuna03/
- ↑ https://www.watchdoguganda.com/sports/football/20191208/84088/airtel-fufa-awards-ucu-lady-cardinals-nassuna-in-race-to-become-best-female-player-of-the-year-for-the-second-time.html
- ↑ https://kawowo.com/2017/11/30/airtel-fufa-awards-2017-mvps-drive-home-nominees-await-cash/
- ↑ https://www.galaxyfm.co.ug/2019/12/09/nominees-for-the-fufa-awards-revealed/
Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Hasifah Nassuna on Facebook
- Hasifah Nassuna on Instagram