Jump to content

Hasmukh Dawda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Hasmukh Dawda musuubuzi, mutandisi wa mirimu, munnamakolero era muzirakisa mu Uganda ne Kenya

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu 1950 mu maka amufunampola, ne baganda be abalala kkumi, mu kyalo Ndere, essaza ly' Esiaya, Kenya. Yasomera mu ssomero lya Ndere erya pulayimale, naye n’ava mu ssomero ku myaka 13 olw’obutasobola kusasula bisale by’essomero. [1] [2]

Olw’okuwalirizibwa okuva mu ssomero, yagenda mu bizinensi ye kennyini, ng’atandika n’okutembeeya bu swiiti. Omuyindi omusuubuzi w’edduuka yamuwa omulimu ku siringi kikumi mwataano (Sh150) buli mwezi. Yasobola okuterekereza n'aweza siringi za Kenya enkumi bbiri (KSh2,000) , ku myaka 19. Ssente ezo yaziteeka mu kusasula emmotoka pikaapu eyali ku siringi za Kenya enkumi ttaano (KSh5,000),ezaasigalayo naazisasula mu bitundutundu. Yagguddewo n’edduuka kyakalakyakala mu kyalo ky'ewabwe eky'e Ndere. [1]

Mu 1970, yatandika okukola n'okulongoosa sukaari ggulu ku bifo bye ebipangise, ng’akozesa ebyuma bye yalina edda. Yatandika okugula ebintu ebikozesebwa okukola sukaari ggulu butereevu okuva mu balimi, be yalina enkolagana ennungi nabo. Era yatandika okusuubula ppamba n’ebibala ebibisi. Nga wayise emyaka etaano, yazimba ekkolero lya Uholo, ekkolero ekkolero lya sukaari ggulu (Jaggery) erikyakola okutuusa leero. Mu 1985, yatandikawo kkampuni ya bbisikwiiti eya Jambo Buscuits Limited ekola sswiiti wansi w’amakampuni ga House of Dawda Group of Companoies . [1]

Wakati mu myaka gy'e 1990, yagenda mu Uganda n’atandikawo Britannia Allied Industries Limited, kkampuni elongoosa ebibala okukamula / okukola omubisi gw’ebibala, okukola ssupu n’ebirungo, okukola amazzi g'okunywa , n’okukola bu sswiiti. [3] Okuva olwo yatandikawo amakampuni amalala mu Kenya ne Uganda. Mu 2002, yakozesa ebimu ku by’obugagga bye mu Uganda okugula kkampuni ya House of Manji kkampuni ekola ssweeta mu Kenya eyali egudde. Yassaamu ensimbi bizinensi nedda engulu. [2]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Dawda musajja mufumbo. [4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Muiruri, Grace (2005). "From the cotton fields to House of Manji and produce exporter". Nairobi: Smartfarmerkenya.com. Archived from the original on 7 Gwakubiri(Mukutulansanja) 2016. Retrieved 3 Gwakubiri(Mukutulansanja) 2016.
  2. Koigi, Robert. "Innovation mints billions for Manji biscuit-makers". Business Daily Africa. Nairobi. Archived from the original on 2 February 2017. Retrieved 3 February 2016.
  3. Our Reporter (4 June 2015). "Britannia boss: Uganda youth becoming hard to employ". Kampala: Theinsider.ug. Archived from the original on 23 January 2016. Retrieved 3 February 2016.
  4. Ntabadde, Catherine (16 December 2001). "House Of Dawda Donates To Children". New Vision. Kampala. Retrieved 3 February 2016.
  1. 1 2 3 Muiruri, Grace (2005). "From the cotton fields to House of Manji and produce exporter". Smartfarmerkenya.com. Archived from the original on 7 Gwakubiri(Mukutulansanja) 2016. Retrieved 3 Gwakubiri(Mukutulansanja) 2016. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Smart" defined multiple times with different content
  2. 1 2 Koigi, Robert. "Innovation mints billions for Manji biscuit-makers". Archived from the original on 2 February 2017. Retrieved 3 February 2016. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Innovation" defined multiple times with different content
  3. Our Reporter (4 June 2015). "Britannia boss: Uganda youth becoming hard to employ". Theinsider.ug. Archived from the original on 23 January 2016. Retrieved 3 February 2016.
  4. Ntabadde, Catherine (16 December 2001). "House Of Dawda Donates To Children". Retrieved 3 February 2016.