Jump to content

Hassan Basajjabalaba

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Hassan Basajjabalaba (yazaalibwa 4 Omwezi ogw'omukaaga 1967) munnayuganda omusuubuzi, musigansimbi era muzirakisa . Asinga kumanyibwa nnyo ng'omutandisi, ssentebe, era ssenkulu w'amakampuni ga HABA Group ,ekibinja ky'amakampuni ekinene (large conlomerate) mu buvanjuba bw'Afirika nga gabalirirwamu omuwendo gwa bukadde bwa ddoola z'Amerika $520M [1]

Hassan yazaalibwa mu maka g'Abanyankole amasiraamu amagagga nga 4 Omwezi ogwomukaaga 1967. Kitaawe omugenzi Idd Basajjabalaba yeeyali mutabani w’omusuubuzi eyeenyigira mu kutunda amaliba, okulima, okulunda amagana, n’ebyenjigiriza. [1] Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olwa New Vision Kitaawe naye yali omu ku basinga okuba n'ettaka eddene mu Disitulikiti y’e Bushenyi, esangibwa mu bugwanjuba bw'eggwanga. [2] Hassan yasomera mu somero lya siniya e Bushenyi kyokka n'awanduka ng'omwaka gwe ogwakamalirizo tegunnatuuka okussa essira ku kugaziya n’okukuza bizinensi y’amaka oluvannyuma lwa kitaawe okufa ku ntandikwa y’emyaka gya 1980. Kino nakyo kyaliwo mu kiseera kye kimu eggwanga we lyakosebwa ennyo olw’okuwambibwa kwa gavumenti okwaggyako pulezidenti Obote ne kuleeta pulezidenti aliwo kati, Yoweri Kaguta Museveni, n’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu buyinza. [3]

Omulimu gw'obusuubuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Amakampuni ga HABA Group gatandika nga kkampuni y’obusuubuzi mu 1986, eyatandikibwawo nga wayise akaseera katono nga taata wa Hassan afudde. Hassan essira yalissa ku kisaawe kya byanjigiriza n’amakolero g’amaliba. [3]

Leero, Kampala International University y’emu ku yunivasite ez’obwanannyini ezisinga obunene mu Afirika, ng’ekolera ebussukka nsalo mu Kenya, Tanzania ne Rwanda n'ebifo ebisomerwamu okwetoloola Uganda. HABA Group of Companies evudde ku kubeera kkampuni y’ebyobusuubuzi n’efuuka ekibiina ekisinga obunene mu Uganda, ng'erimu Ekyuma ekirongoosa ssukaali, Essamba z'amajaani n’amakolero e Butale ne Buhweju, n’ekkolero ly’eddagala, Amalwaliro, n'okuzimba n'okupangisa ebizimbe. [4]

Mu 2009, Hassan yatuukirira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA kimuwe liizi ku butale Nakasero ne Owino mu Kampala, ekyakakasibwa. Abaddukanya obutale batandikirawo okuddamu okuzimba n’okuzza obuggya okw'omuggundu okwetooloola obutale ekyayongezessa emiwendo gy'oobupangisa egyateekebwa ku b'emiddaala. Ekyo kyavaako obwediimo abw'amaanyi okwetoloola ekibuga era pulezidenti n’asigala nga talina kya kukola okuggyako okufulumya ekiragiro ekyaviirako okusazaamu endagaano ekyawaliriza gavumenti okuliyirira Basajjabalaba obuwumbi bwa siringi. [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Home page". KIU (in Luwarabu). Retrieved 2021-02-14.
  2. Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". New Vision. Kampala. Retrieved 13 March 2016.
  3. Eriasa Mukiibi Sserunjogi (10 September 2011). "Basajjabalaba: The merchant of trouble". The Independent. Kampala. Archived from the original on 6 January 2012. Retrieved 13 March 2016.
  4. KIU (13 March 2016). "Kampala International University: School of Health Sciences". Kansanga: Kampala International University (KIU). Retrieved 13 March 2016.
  5. "Presidential directive throws city markets into another phase of chaos". independent.co.ug. The Independent (KIU). 23 November 2022. Archived from the original on 14 April 2024. Retrieved 30 May 2024.
  1. 1 2 "Home page". KIU (in Luwarabu). Retrieved 2021-02-14.
  2. Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". Retrieved 13 March 2016.
  3. 1 2 Eriasa Mukiibi Sserunjogi (10 September 2011). "Basajjabalaba: The merchant of trouble". Archived from the original on 6 January 2012. Retrieved 13 March 2016. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Eriasa Mukiibi Sserunjogi" defined multiple times with different content
  4. KIU (13 March 2016). "Kampala International University: School of Health Sciences". Kampala International University (KIU). Retrieved 13 March 2016.
  5. "Presidential directive throws city markets into another phase of chaos". independent.co.ug. The Independent (KIU). 23 November 2022. Archived from the original on 14 April 2024. Retrieved 30 May 2024.