Helder Proença
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Guinea-Bissau | |
| Erinnya eriweereddwa | Hélder | |
| Erinnya lya famire | Proença | |
| Yazaalibwa nga | 31 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1956 | |
| Gy'azaalwa | Bissau | |
| Olunaku lwe yafa | 5 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 2009 | |
| Place of death | Bissau | |
| Manner of death | homicide | |
| Cause of death | assassination | |
| Ennimi z'amanyi | Portuguese | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, writer, poet, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Member of the National People's Assembly of Guinea-Bissau, Minister of Defence of Guinea-Bissau | |
Helder Proença (yafa 5,Ogwomukaaga 2009) yali munnabyabufuzi mu Guinea-Bissau eyaweereza nga Minisita w'ebyokwerinda mu Guinea-Bissau mu kiseera ky'obufuzi bwa Pulezidenti João Bernardo Vieira . [1]
Nga 5,Ogwomukaaga 2009, Proença, eyali mmemba w’olukiiko lw’abantu mu ggwanga mu kiseera ekyo, [2] yakubwa amasasi n’attibwa ab’ebyokwerinda ba gavumenti ku luguudo olugatta ekibuga Bula mu bukiikakkono ne Bissau, ekibuga ekikulu Guinea-Bissau . Baciro Dabó, munnabyabufuzi era eyeesimbyewo ku bwapulezidenti mu kulonda kwa Pulezidenti okwa June 2009, naye yattibwa abajaasi ba gavumenti ku lunaku lwe lumu. [1] Munnabyabufuzi owookusatu, eyali Ssaabaminisita Faustino Imbali, naye yakwatibwa. [2] Ddereeva wa Proença n'omukuumi nabo battibwa mu bulumbaganyi buno.
Mu kiwandiiko, minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga lya Guinea-Bissau yalumiriza Proença, Dabó ne Embali okubeera mu lukwe lw’okuwamba gavumenti olwaliwo.
Ekitongole ky’amawulire ekya gavumenti ya Portugal ekya Lusa, kyategeezezza nti omulambo gwa Proenca gwatwaliddwa mu ggwanika lye ddwaaliro lya Simao Mendes e Bissau oluvannyuma lw’okumutta.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 http://english.aljazeera.net/news/africa/2009/06/20096573958404550.html
- 1 2 Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs named "nyt".