Jump to content

Henry Bagiire

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bagiire Aggrey Henry
Munnayuganda munnabyabufuzi Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waHenry, Aggrey Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga27 Gusooka 1968 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda, Mayuge Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, legislator Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere, Ssettendekero wa Kyambogo Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)1992 Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa Wikidata
Okwe­siim­ba­wo kwe mu kaluluAkalulu ka Uganda aka 2026 Kyusa Wikidata
Mmemba wa12th Parliament of Uganda Kyusa Wikidata

Henry Aggrey Bagiire (yazaalibwa nga 27 Ogwolubereberye 1968) ebiseera ebimu ayitiibwa Aggrey Henry Bagiire, munnabyabufuzi, musomesa era Munnayuganda. Yakolako nga Minisita omubeezi ow’Eby'obulimi mu Kabineti ya Uganda okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011.[1] Era yaweereza nga Omubaka wa Paalamenti ya Uganda (MP) omulonde ow'Essaza ly'e Bunya mu Bugwanjuba, mu Disitulikiti y'e Mayuge , okuva mu 2006 okutuuka mu 2009. Akola nga Minisita omubeezi ow'Ebyentambula mu Kabineti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016.[2] Era yaweerezako ng'omubaka wa paalamenti ya Uganda omulonde akyikirira Essaza ly'e Bunya mu Bugwanjuba, mu Disitulikiti y'e Mayuge, mu Paalamenti ya Uganda eyeekkumi (okuva 2016 okutuka 2021).[3]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Henry Bagiire yazaalibwa mu biseera bino eyitibwa Disitulikiti y’e Mayuge nga 27 Ogwolubereberye 1968. Alina Dipuloma mu By’enjigiriza, okuva mutendekero erisomesa abasomesa, nga kitundu ku Yunivasite y'e Kyambogo, gye yafuna mu 1992. Ddiguli y'esooka mu By’obulimi gy'eyafuna mu 1999 okuva ku Yunivasite y'e Makerere. Alina ne Satifikeeti mu kudukanya emirimu gya Gavementi egiyamba abantu n'okugidukanya, gye yafuna mu 2003, okuva ku Yunivasite y'e Makerere.

Bagiire yasomesa eby'obulimi kusomero lya Bukoyo Secondary School okuva mu 1992 okutuuka mu 2000, gye yasituka n'afuuka omukulembeze w'ekitongole ky’eby'obulimi. Wakati wa 2000 ne 2001, yakola ng’Omukulembeze w’ekibiina ekinoonyereza mu kitongole kya International Food Policy Research Institute. Wakati wa 1999 ne 2002, yaweereza ng’akulira eby'obulimi mu Disitulikiti y’e Iganga . Okuva mu 2002 okutuuka mu 2006, yawerezaako nga ssentebe w’akakiiko k’obuweereza mu disitulikiti y’e Mayuge . Mu 2006, yayingira eby'obufuzi n’avuganya ku kifo kya paalamenti mu Ssaza ly'e Bunya mu Bugwanjuba, mu Disitulikiti y’e Mayuge, ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement. Yalondeddwa. Nga 16 Ogwokubiri 2009, yafuka Minisita w’eggwanga Omubeezi Ow’eby'obulimi. Mu kulonda kw’eggwanga okwa 2011 yawangulwa Vincent Bagiire, okusooka mu kalulu ka NRM ak'okusunsula abanakiikirira ekibiina, ate ne mu kulonda kwa bonna, Henry Bagiire yavuganya ku bwannamunigina.[4]

Mukukola enkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 Ogwokutaano 2011, yasulibwa okuva mu kabineti n’asikizibwa Zerubabel Nyiira.[5]

Henry Bagiire mufumbo. Ono wa kibiina kya byabufuzi ekiri mbuyinza ekya National Resistance Movement . Ebintu by'asinga okwagala mulimu okusomesa n'okukuuma ebibira .

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Full Cabinet List As At 18 February 2009". New Vision (Kampala). 18 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 25 March 2015.
  2. Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 12 June 2016.
  3. POU (12 June 2016). "Members of Parliament: 78. Bagiire Aggrey Henry, Bunya County West, Mayuge District". Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 27 May 2016. Retrieved 12 June 2016.
  4. Baligema, Isaac (25 February 2011). "Storming Politics From A Family Platform". Archived from the original on 1 March 2011.
  5. Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Retrieved 4 March 2015 via Facebook.com.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]