Henry Banyenzaki
Henry Banyenzaki munnabyabufuzi Omunnayuganda eyawerezaako nga Omubaka wa Paalamenti omulonde owa Rubanda County West, mu Disitulikiti y'e Kabale. [1] Okuva mu 2011 okutuuka mu 2016, yaweereza nga Minisita Omubeezi Ow’okulondoola Eby'enfuna mu Ofiisi ya Pulezidenti mu Kabineti ya Uganda .
Obuvo bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kabale nga 27 Ogwokusatu mu 1967. Yasomera mu masomero ga pulayimale ne siniya mu bitundu bye. Mu 1988, yafuna Dipulooma mu By'emisomo Gy’obutonde bw’ensi okuva ku Makerere University . Mu 1991, yaweebwa Diguli mu By'emisomo Egy'enjawulo mu By’obulamu. Mu 2005, yafuna diguli Ey'okusatu mu By'emisomo Egy'enjawulo mu kukola entegeka n'okuzidukanya, nga nayo yagigya ku Makerere University. Banyenzaki era yafuna Dipulooma mu Kubala Ebitabo okuva Association of Professional Accountancy Studies mu 1988. Satifikeeti ye mu by'amaterekero g'ensimbi amatono etali y'abakugu yagifuna mu 2003 okuva mu World Bank Group. [1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1995 okutuuka mu 1997, yakola ng'omumyuuka wa maneja eyali avunaanyizibwa ku bya kituunzi n'okunoonya akatale mu Uganda Aluminum Limited, ekitongole ky’obwannannyini mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Mu 1998, yakuzibwa n’afuulibwa maneja eyali akulira bakituunzi mu kampuni y’emu. Okuva mu 2000 okutuuka mu 2001, yakola nga maneja w’okutumbuula bizineensi mu kampuni ya Tororo Cement Limited. Mu 2001, yawangula ekifo kya paalamenti ekya Rubanda County West, mu Disitulikiti y’e Kabale, n’addamu n'alondebwa mu 2006, 2011 ne 2016.
Yalondebwa okubeera Minisita Omubeezi alondoola Eby'enfuna mu Ofiisi ya Pulezidenti nga 27 Ogwokutaano mu 2011. [2] Mu kukola enkyukakyuka ya kabineti nga 1 Ogwokusatu mu 2015, [3] yasigaza ekifo kye mu kabineeti nga tanasikizibwa muntu mulala mu Gwomukaaga 2016. [4]
Ono memba w’ekibiina ky’eby'obufuzi ekya National Resistance Movement . [1]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mufumbo nga 3 Ogwomunaana mu 1996 era alina abaana 3 ne mukyala we. [1]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 POU (2011). "Profile of Henry Banyenzaki, Member of Parliament for Rubanda County West, Kabale District". Parliament of Uganda (POU). Retrieved 25 March 2015. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Profile" defined multiple times with different content - ↑ Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. Retrieved 25 March 2015.
- ↑ Uganda State House (1 March 2015). "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 25 March 2015.
- ↑ "Minister celebrates fall of Cabinet colleagues". Daily Monitor. 26 June 2016. Retrieved 27 May 2017.