Jump to content

Henry Kajura

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Henry Muganwa Kajura nga yazaalibwa 7 Ogwomusanvu 1934 [1] [2] ), amanyiddwa ennyo nga Henry Kajura, muddukanya wa emirimu era munnabyabufuzi mu Uganda. Okutuuka mu 2016 yaliko Omumyuka wa Saabaminisita Asooka era Minisita w'Abakozi ba Gavumenti mu Kabineti ya Uganda . [3]

Obuvo bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Kajura yazaalibwa nga 7 Ogwomusanvu 1934 e Masindi, Bunyoro-Kitara, era yasomera ku St Mary's College Kisubi. [1] Alina diguli mu By'emisomo egy'enjawulo ( BA ), okuva mu Makerere University, eyamuweebwa nga yunivasite esinga obukadde mu Uganda ekyalina akakwate ku Yunivasite y'e London. Alina diguli ey'okubiri mu Kudukanya Eby'emirimu, okuva mu Oxford University mu Bungereza ne mu Kulabirira Emirimu okuva mu University of Wisconsin–Madison mu Amerika . [2]

Okuva lwe yatandika mu 1967 okutuuka mu 1973, Kajura yali awereza ng'Omuwandiisi wa East African Development Bank . [2] [4] Okuva mu 1973 okutuuka mu 1978, ku mulembe gwa Idi Amin ng'akyafuga, yaweereza nga ssentebe era akulira ba maneja wa Uganda Commercial Bank, Yeeyasooka mu Stanbic Bank Uganda . [2] Oluvannyuma yaweerezaako akaseera katono nga Gavana wa Bbanka ya Uganda Enkulu okuva mu Gwomwenda 1978 okutuuka mu Gwokubiri 1979, bweyali adira Onegi Obel mu bigere wabula nga ate ye Charles Kikonyogo yeeyamusikira ng'avuddewo. [1]

Okuva mu 1978 okutuuka mu 1989, Kajura yaweereza nga ssentebe w’Olukiiko lw’Ebitundu V (LC V), [2] ku Disitulikiti y’e Hoima . Yalondebwa okubeera Minisita w’Eby'obusuubuzi n’Amakolero, Eby’obugagga By’omuttaka, Amazzi n’Enkulakulanya y'Eby’obugagga by’omuttaka mu 1989, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1998. Wakati wa 1998 ne 2001, yaweereza nga Minisita w’Amazzi, Ettaka n’Obutonde bw’ensi, oluvannyuma lw’Eby'obusuubuzi n’Amakolero okwawulwaamu okukola minisitule ey’enjawulo. Yalondebwaokubeera Omumyuka wa Saabaminisita Ow'okusatu mu 2002, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2005 lwe yalondebwa okubeera Omumyuka wa Saabaminisita Ow'okubiri era Minisita w’Abakozi ba Gavumenti . [5] Mu nkyukakyuka mu kabineti ey'Ogwokutaano 2009, [6] n'eya 27 Ogwokutaano 2011, [7] yasigaza ebifo bye byombi mu kabineti, n'akuzibwa okubeera Omumyuuka wa Saabaminisita Asooka mu 2013. [8] Kajura yali memba wa Kabineti ya Uganda, emirundi egidiringana okuva mu 1989 [2] [9] okutuuka mu 2016.

Kajura yaweereza ng'Omubaka wa Paalamenti owa Bugahya County ku lw'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) okuva mu 1989 [10] okutuuka mu 2006 , bweyawangulwa William Rwembera mu kalulu k'okusunsula anaakiikirira NRM mu ku londa kwa bonna [11] ne kulwa Munisipaali y'e Hoima okuva mu 2011 okutuuka mu 2016, bwe yawangulwa mu kamyuufu oba akalulu ka NRM ak'okulaba ani anaakwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa bonna, bweyawangulwa Lawrence Bategeka. [12] Mu Paalamenti ey’omunaana okuva mu 2011 okutuuka mu 2016 yaweereza ng’Omubaka wa Paalamenti eyali amannyikiddwa mu ofiisi, olw’okulondebwa kwe mu kabineti. Mu Gwokubiri 2017 Kajura yalondebwa Solomon Gafabusa Iguru nga omuwabuzi wa Bunyoro Omukama ku nsonga z’olubiri . [13]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 Mukasa., Mutibwa, Phares (2006). The Bank of Uganda (1966–2006) : a historical perspective. Kampala: Bank of Uganda. pp. 367–368. ISBN 997007038X. OCLC 162119370.
  2. 1 2 3 4 5 6 POU. "Profile of Kajura Henry Muganwa, Member of Parliament, Hoima Municipality, Hoima District". Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 23 October 2015.
  3. "Minister Kajura, more MPs lose". Daily Monitor. 20 November 2017. Archived from the original on 2 March 2019. Retrieved 27 May 2017.
  4. Bank, East African Development (1969). Annual Report (in Lungereza). The Bank. p. 9.
  5. Mukasa, Henry (2 June 2006). "Cabinet Ministries Allocated". Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 20 February 2015.
  6. Newvision Archive. "Full Cabinet List As At 18 February 2009". Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 20 February 2015.
  7. Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook. Retrieved 20 February 2015.
  8. Cline, John (24 May 2013). "Museveni reshuffles Cabinet, Army and Permanent Secretaries". ndagireliliana.blogspot.co.uk. Retrieved 27 May 2017.
  9. Fred Kayizzi, and Amlan Tumusiime (28 March 2005). "I Have No Use for FDC – Museveni". Archived from the original on 21 February 2015. Retrieved 20 February 2015.
  10. "Kajura loses". New Vision. 16 December 2005. Retrieved 27 May 2017.
  11. "Kajura, rivals reconcile at congratulatory party". New Vision. 12 June 2006. Retrieved 27 May 2015.
  12. Kivabulaya, Fredrick (19 November 2015). "Kajura Suffers Overwhelming Defeat in Primaries". Uganda Radio Network. Retrieved 22 May 2017.
  13. Bigirwenkya, Augustus (20 February 2017). "Omukama Iguru of Bunyoro Drops Eight Ministers, Appoints Kajura Advisor". GMEPA. Archived from the original on 28 June 2017. Retrieved 27 May 2017.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]